\id MIC - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h Mikka \toc1 Mikka \toc2 Mikka \toc3 Mi \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Mikka \c 1 \p \v 1 Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri \nd Mukama\nd*, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi. \q1 \v 2 Muwulire mmwe abantu mwenna, \q2 muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, \q1 \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, \q2 ng’alina by’abalumiriza. \q1 \v 3 Mulabe, \nd Mukama\nd* ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye \q2 ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu. \q1 \v 4 N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye \q2 era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka \q1 ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, \q2 ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga. \q1 \v 5 Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, \q2 olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. \q1 Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? \q2 Si ye Samaliya? \q1 Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? \q2 Si Yerusaalemi? \b \q1 \v 6 “Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu, \q2 kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu. \q1 Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu \q2 N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye. \q1 \v 7 Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; \q2 ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; \q2 ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. \q1 Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, \q2 bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.” \s1 Okukaaba n’Okukungubaga \q1 \v 8 Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, \q2 ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. \q1 Ndikaaba ng’ekibe, \q2 ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu. \q1 \v 9 Ekiwundu kye tekiwonyezeka, \q2 ne Yuda ky’alwadde. \q1 Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange, \q2 ne ku Yerusaalemi yennyini. \s1 Omulabe Asemberera Yerusaalemi \q1 \v 10 Temukibuulira mu Gaasi, \q2 temukaaba maziga n’akatono. \q1 Mwevulungulire mu nfuufu \q2 mu Besuleyafula. \q1 \v 11 Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, \q2 mmwe ababeera mu Safiri. \q1 Ababeera mu Zanani \q2 tebalifuluma. \q1 Beswezeeri ekuba ebiwoobe, \q2 kubanga tokyalinayo buddukiro. \q1 \v 12 Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi \q2 nga balindirira okubeerwa, \q1 kubanga ekibonoobono kivudde eri \nd Mukama\nd*, \q2 ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi. \q1 \v 13 Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi \q2 mmwe ababeera mu Lakisi. \q1 Mmwe nsibuko y’ekibi \q2 mu Bawala ba Sayuuni, \q1 kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe. \q1 \v 14 Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi \q2 ebirabo ebimusiibula. \q1 Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba \q2 eri bakabaka ba Isirayiri. \q1 \v 15 Mmwe abantu b’omu Malesa, \q2 ndibasindikira alibawangula n’abafuga. \q1 Oyo ekitiibwa kya Isirayiri \q2 alijja mu Adulamu. \q1 \v 16 Mukungubage, n’emitwe mugimwe \q2 olw’abaana bammwe be mwesiimisa; \q1 mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega, \q2 kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. \c 2 \q1 \v 1 Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu \q2 era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; \q1 Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, \q2 kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe. \q1 \v 2 Beegomba ebyalo ne babitwala, \q2 ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. \q1 Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi, \q2 ne bamubbako ebyobusika bwe. \p \v 3 \nd Mukama\nd* kyava agamba nti, \q1 “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, \q2 ke mutagenda kweggyamu. \q1 Temuliddayo kubeera n’amalala nate \q2 kubanga kiriba kiseera kya mitawaana. \q1 \v 4 Olwo abantu balikusekerera; \q2 Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: \q1 ‘Tugwereddewo ddala; \q2 ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. \q1 \nd Mukama\nd* anziggirako ddala ettaka lyange, \q2 n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ” \b \q1 \v 5 Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya \nd Mukama\nd*, \q2 aligabanyaamu ettaka ku bululu. \q1 \v 6 Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, \q2 Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; \q2 tewali kabi kagenda kututuukako.” \q1 \v 7 Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? \q2 Olowooza Omwoyo wa \nd Mukama\nd* asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? \q2 Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi? \q1 \v 8 Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko \q2 ng’omulabe. \q1 Basika ne bambula eminagiro emirungi \q2 ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, \q2 ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo. \q1 \v 9 Bakazi b’abantu bange mubagoba \q2 mu mayumba gaabwe amalungi, \q1 abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa \q2 oguva eri Katonda. \q1 \v 10 Muyimuke mugende, \q2 kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; \q1 olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, \q2 kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika. \q1 \v 11 Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, \q2 “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” \q2 oyo y’aba nnabbi w’abantu abo. \b \q1 \v 12 “Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; \q2 ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. \q1 Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, \q2 ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, \q2 ekifo kirijjula abantu. \q1 \v 13 Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, \q2 abayise mu mulyango abafulumye. \q1 Era kabaka waabwe alibakulembera, \q2 \nd Mukama\nd* alibakulembera.” \c 3 \s1 Ekibi kya Isirayiri \p \v 1 Ne ndyoka ŋŋamba nti, \q1 “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, \q2 mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. \q1 Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya, \q2 \v 2 mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; \q1 mmwe ababaagako abantu bange eddiba \q2 ne mubaggyako ennyama ku magumba? \q1 \v 3 Mulya ennyama yaabwe, \q2 ne mubabaagako eddiba, \q2 amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, \q1 era ne mubasalaasala ng’ennyama \q2 eneefumbibwa mu nsaka.” \b \q1 \v 4 Balikoowoola \nd Mukama\nd*, \q2 naye talibaanukula. \q1 Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge \q2 olw’ebibi bye bakoze. \p \v 5 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Bannabbi ababuzaabuza abantu \q2 balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, \q1 naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo. \q1 \v 6 Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, \q2 n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. \q1 Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, \q2 n’obudde bubazibirire. \q1 \v 7 Abalabi baliswazibwa \q2 n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi. \q1 Bonna balibikka amaaso gaabwe \q2 kubanga Katonda tabaanukula.” \b \q1 \v 8 Naye nze, nzijjudde amaanyi \q2 n’Omwoyo wa \nd Mukama\nd*, \q2 okwekaliriza ensonga n’obuvumu, \q1 njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, \q2 olw’ekibi kya Isirayiri. \b \q1 \v 9 Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo, \q2 Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri, \q1 Mmwe abanyooma obwenkanya \q2 Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu; \q1 \v 10 mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, \q2 Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu. \q1 \v 11 Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, \q2 bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, \q2 ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. \q1 Kyokka bajuliza \nd Mukama\nd* nga boogera nti, \q2 “\nd Mukama\nd* tali naffe? \q2 Tewali kinaatutuukako.” \q1 \v 12 Noolwekyo ku lwammwe, \q2 Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro, \q1 ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu, \q2 n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte. \c 4 \s1 Obufuzi bwa \nd Mukama\nd* eri Amawanga Gonna \q1 \v 1 Mu nnaku ez’oluvannyuma \q2 olusozi lw’ennyumba ya \nd Mukama\nd* luligulumizibwa \q2 okusinga ensozi zonna; \q1 lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, \q2 era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli. \p \v 2 Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, \q1 “Mujje twambuke ku lusozi lwa \nd Mukama\nd*, \q2 mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. \q1 Alituyigiriza by’ayagala \q2 tulyoke tutambulire mu makubo ge.” \q1 Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, \q2 n’ekigambo kya \nd Mukama\nd* kiriva mu Yerusaalemi. \q1 \v 3 Aliramula amawanga \q2 atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala. \q1 Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, \q2 n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. \q1 Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, \q2 so tebalyetegeka kulwana ntalo nate. \q1 \v 4 Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe \q2 ne mu mutiini gwe. \q1 Tewalibaawo abatiisa \q2 kubanga akamwa ka \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna ke kakyogedde. \q1 \v 5 Newaakubadde nga amawanga gonna \q2 galigoberera bakatonda baago, \q1 naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya \nd Mukama\nd* \q2 Katonda waffe emirembe n’emirembe. \s1 Isirayiri Ewona Obusibe \p \v 6 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q1 “Ndikuŋŋaanya abalema, \q2 n’abo abaawaŋŋangusibwa \q2 n’abo abali mu nnaku. \q1 \v 7 Abalema ndibafuula abalonde, \q2 n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi. \q1 \nd Mukama\nd* alibafugira mu Lusozi Sayuuni \q2 okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna. \q1 \v 8 Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga, \q2 ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni, \q1 ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira, \q2 n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.” \b \q1 \v 9 Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo? \q2 Temulina kabaka abakulembera? \q1 Omuwi w’amagezi wammwe yafa, \q2 ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala? \q1 \v 10 Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni \q2 ng’omukazi alumwa okuzaala. \q1 Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga \q2 ogende obeere ku ttale. \q1 Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, \q2 era eyo gye ndibalokolera. \q1 Ndibanunulira eyo \q2 okuva mu mukono gw’omulabe. \b \q1 \v 11 Kyokka kaakano amawanga mangi \q2 gakuŋŋaanye okubalwanyisa. \q1 Boogera nti, Ayonoonebwe, \q2 n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni. \q1 \v 12 Naye tebamanyi \q2 birowoozo bya \nd Mukama\nd*; \q1 tebategeera kuteesa kwe; \q2 oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro. \b \q1 \v 13 “Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni, \q2 kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma; \q1 ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo \q2 era olibetenta amawanga mangi.” \b \q1 Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri \nd Mukama\nd*, \q2 n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna. \c 5 \s1 Omufuzi Ava mu Besirekemu \q1 \v 1 Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, \q2 kubanga tulumbiddwa. \q1 Omukulembeze wa Isirayiri \q2 balimukuba omuggo ku luba. \b \q1 \v 2 “Naye ggwe Besirekemu Efulasa, \q2 newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, \q1 mu ggwe mwe muliva alibeera \q2 omufuzi wange mu Isirayiri. \q1 Oyo yaliwo okuva edda n’edda, \q2 ng’ensi tennabaawo.” \b \q1 \v 3 \nd Mukama\nd* kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo \q2 okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, \q1 era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo \q2 eri bannaabwe mu Isirayiri. \b \q1 \v 4 Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye \q2 mu maanyi ga \nd Mukama\nd*, \q2 mu kitiibwa ky’erinnya lya \nd Mukama\nd* Katonda we. \q1 Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu \q2 okutuusa ku nkomerero y’ensi. \q2 \v 5 Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe. \q1 Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe \q2 n’abuna ebigo byaffe, \q1 tulimuyimbulira abasumba musanvu, \q2 n’abakulembeze munaana. \q1 \v 6 Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala \q2 era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. \q1 Naye alitulokola eri Omwasuli \q2 bw’alitulumba mu nsi yaffe \q2 era bw’aliyingira mu nsalo zaffe. \b \q1 \v 7 Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera \q2 wakati mu mawanga agabeetoolodde, \q1 babe ng’omusulo oguva eri \nd Mukama\nd*, \q2 ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo \q1 obutalindirira muntu \q2 oba abaana b’abantu. \q1 \v 8 Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko, \q2 abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde; \q1 ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga, \q2 bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula \q2 ne wataba n’omu aziwonya. \q1 \v 9 Omukono gwo guliwangula abalabe bo, \q2 ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa. \p \v 10 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q1 “Ndizikiriza embalaasi zo \q2 ne nsanyaawo n’amagaali go. \q1 \v 11 Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo \q2 era mmenyemenye n’ebigo byo byonna. \q1 \v 12 Obulogo bwo ndibumalawo \q2 era toliddayo kukolima nate. \q1 \v 13 N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza. \q2 Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga; \q1 temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda \q2 be mwekoledde n’emikono gyammwe. \q1 \v 14 Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, \q2 ebibuga byammwe n’embizikiriza. \q1 \v 15 Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde \q2 n’obusungu n’ekiruyi.” \c 6 \p \v 1 Muwulire \nd Mukama\nd* by’ayogera ng’agamba nti, \q1 “Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi, \q2 n’obusozi buwulire bye mugamba. \b \q1 \v 2 “Kaakano mmwe ensozi muwulire \nd Mukama\nd* ky’abavunaana; \q2 nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire. \q1 \nd Mukama\nd* alina ensonga ku bantu be \q2 era agenda kuwawabira Isirayiri. \b \q1 \v 3 “Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze? \q2 Nnali mbazitooweredde? Munziremu. \q1 \v 4 Nabaggya mu nsi ye Misiri \q2 ne mbanunula mu nsi ey’obuddu, \q1 ne mbawa Musa, \q2 ne Alooni ne Miryamu okubakulembera. \q1 \v 5 Mmwe abantu bange mujjukire \q2 ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu \q2 n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. \q1 Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali \q2 mulyoke mumanye ebikolwa bya \nd Mukama\nd* eby’obutuukirivu.” \b \q1 \v 6 Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga \nd Mukama\nd* \q2 nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa? \q1 Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa, \q2 n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu? \q1 \v 7 \nd Mukama\nd* alisiima endiga eza sseddume olukumi, \q2 oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta? \q1 Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange, \q2 nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange? \q1 \v 8 \nd Mukama\nd* akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. \q2 Kaakano, \nd Mukama\nd* kiki ky’akwetaaza, \q1 okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa \q2 era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo. \b \q1 \v 9 Wuliriza, \nd Mukama\nd* akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka. \q2 “Kya magezi ddala okutya erinnya lye, \q2 n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula. \q1 \v 10 Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira, \q2 mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu, \q2 erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo? \q1 \v 11 Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, \q2 alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba? \q1 \v 12 Abagagga baakyo bakambwe \q2 n’abatuuze baamu balimba \q2 n’ennimi zaabwe tezoogera mazima. \q1 \v 13 Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza, \q2 nkumalewo olw’ebibi byo. \q1 \v 14 Onoolyanga, naye n’otokutta, \q2 era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. \q1 Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka \q2 kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala. \q1 \v 15 Olisiga naye tolikungula, \q2 oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako, \q2 olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa. \q1 \v 16 Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli \q2 n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu \q2 n’ogoberera n’emizizo gyabwe, \q1 kyendiva nkufuula ekifulukwa, \q2 n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa \q2 era olibaako ekivume ky’amawanga.” \c 7 \q1 \v 1 Ddala zinsanze nze. \q2 Ndi ng’omuntu akungula ebibala \q2 okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu; \q1 tewali kirimba kya mizabbibu kulyako, \q2 wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo. \q1 \v 2 Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; \q2 tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. \q1 Bonna banoonya okuyiwa omusaayi, \q2 buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba. \q1 \v 3 Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi; \q2 omufuzi asaba ebirabo, \q1 n’omulamuzi alya enguzi, \q2 n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala \q2 nga basala enkwe. \q1 \v 4 Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo; \q2 asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi. \q1 Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse, \q2 era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka. \q1 \v 5 Tewesiga muntu n’omu, \q2 wadde mukwano gwo, \q1 newaakubadde mukazi wo, \q2 Weegendereze by’oyogera. \q1 \v 6 Kubanga omulenzi agaya kitaawe, \q2 n’omwana alwanyisa nnyina, \q1 muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we. \q2 Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini. \b \q1 \v 7 Naye nze nnindirira \nd Mukama\nd* nga nnina essuubi, \q2 nnindirira Katonda Omulokozi wange; \q1 Katonda wange anampulira. \b \q1 \v 8 Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, \q2 kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. \q1 Ne bwe naatuula mu kizikiza, \q2 \nd Mukama\nd* anaabeera ekitangaala kyange. \q1 \v 9 Nnaagumikirizanga \nd Mukama\nd* bw’anaabanga ambonereza, \q2 kubanga nnyonoonye mu maaso ge, \q1 okutuusa lw’alimpolereza, \q2 n’anziza buggya. \q1 Alindeeta mu kitangaala, \q2 era ndiraba obutuukirivu bwe. \q1 \v 10 Olwo omulabe wange alikiraba, \q2 n’aswala, \q1 oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti, \q2 “Ali ludda wa \nd Mukama\nd* Katonda wo?” \q1 Ndisanyuka ng’agudde, \q2 era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo. \b \q1 \v 11 Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka, \q2 olunaku olw’okugaziya ensalo yo. \q1 \v 12 Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli \q2 nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri, \q1 n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati, \q2 n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala, \q1 n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala. \q1 \v 13 Ensi erifuuka matongo, \q2 olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu. \s1 Okusaba n’Okutendereza \q1 \v 14 Lunda abantu bo n’omuggo gwo, \q2 ekisibo kye weeroboza, \q1 ababeera bokka mu kibira \q2 mu malundiro amagimu. \q1 Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda. \b \q1 \v 15 Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri, \q2 nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo. \b \q1 \v 16 Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi, \q2 ne gamalibwamu amaanyi. \q1 Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe \q2 n’amatu gaabwe ne gaziba. \q1 \v 17 Balirya enfuufu ng’omusota, \q2 ng’ebisolo ebyewalula. \q1 Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana \q2 ne bakyuka okudda eri \nd Mukama\nd* Katonda waffe, ne babatya. \q1 \v 18 Katonda ki omulala ali nga ggwe, \q2 asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo \q2 abaasigalawo ku bantu be? \q1 Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, \q2 naye asanyukira okusaasira. \q1 \v 19 Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, \q2 n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja. \q1 \v 20 Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, \q2 n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu, \q1 nga bwe weeyama eri bajjajjaffe \q2 okuva mu nnaku ez’edda.