\id MAL - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h Malaki \toc1 Malaki \toc2 Malaki \toc3 Mal \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Malaki \c 1 \p \v 1 Buno bwe bubaka \nd Mukama\nd* bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri. \s1 Okwagala kwa \nd Mukama\nd* eri Isirayiri \p \v 2 “Nabaagala,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \p “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ \p “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera \nd Mukama\nd*: “naye nze Yakobo gwe nayagala. \v 3 Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.” \p \v 4 Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.” \p \nd Mukama\nd* ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu \nd Mukama\nd* be yanyiigira ennaku zonna. \v 5 Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘\nd Mukama\nd* agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’ \s1 Ekibi kya Bakabona \p \v 6 “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \nd Mukama\nd* ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. \p “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ \p \v 7 “Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese. \p “Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ \p “Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. \v 8 Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 9 “Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 10 “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. \v 11 Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 12 “Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange. \v 13 Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \v 14 “Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.” \c 2 \s1 Okulabula Bakabona \p \v 1 “Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. \v 2 Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo. \p \v 3 “Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange. \v 4 Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \v 5 “Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange. \v 6 Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi. \p \v 7 “Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \v 8 Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \v 9 “Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.” \s1 Okulabula eri Abatali Beesigwa mu Maka \p \v 10 Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe? \p \v 11 Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya \nd Mukama\nd* ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. \v 12 Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, \nd Mukama\nd* alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri \nd Mukama\nd* ow’Eggye! \p \v 13 Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya \nd Mukama\nd* mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako. \v 14 Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga \nd Mukama\nd* yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano. \p \v 15 Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe. \p \v 16 “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa. \s1 Olunaku olw’Okusala Omusango \p \v 17 \nd Mukama\nd* mumukooyezza n’ebigambo byammwe. \p Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?” \p Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga \nd Mukama\nd*, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?” \c 3 \p \v 1 “Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 2 “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. \v 3 Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. \v 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse \nd Mukama\nd*, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita. \p \v 5 “Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya \nd Mukama\nd*,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 6 “Kubanga nze \nd Mukama\nd* sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. \v 7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p “Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’ \p \v 8 “Omuntu alinyaga Katonda? \p “Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ \p “Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. \v 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. \v 10 Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. \v 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \v 12 “Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 13 “Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \p “Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ \p \v 14 “Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga \nd Mukama\nd* ow’Eggye ng’abakungubaga? \v 15 Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ” \p \v 16 Abo abatya \nd Mukama\nd* bayogeragana bokka ne bokka, \nd Mukama\nd* n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya \nd Mukama\nd* ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba. \p \v 17 “Kale baliba bange,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza. \v 18 Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” \c 4 \s1 Olunaku lwa \nd Mukama\nd* \p \v 1 “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. \v 2 Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. \v 3 Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* ow’Eggye. \p \v 4 “Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna. \p \v 5 “Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa \nd Mukama\nd* olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, \v 6 era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”