\id LAM - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h Okukungubaga \toc1 Okukungubaga \toc2 Okukungubaga \toc3 Kgb \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Okukungubaga \c 1 \s1 Yerusaalemi Kifuuse Matongo \p \v 1 Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa! \q1 Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga, \q2 nga kifuuse nga nnamwandu! \q1 Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza, \q2 afuuse omuddu omukazi. \b \q1 \v 2 Ekiro akaaba nnyo nnyini, \q2 n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge. \q1 Mu baganzi be bonna, \q2 talina n’omu amubeesabeesa. \q1 Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, \q2 bafuuse balabe be. \b \q1 \v 3 Yuda agenze mu buwaŋŋanguse \q2 oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu. \q1 Kati abeera mu bannamawanga, \q2 talaba kifo kya kuwummuliramu. \q1 Bonna abamunoonya bamusanga \q2 mu nnaku ye. \b \q1 \v 4 Enguudo za Sayuuni zikungubaga, \q2 kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. \q1 Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, \q2 bakabona be, basinda; \q1 bawala be abaweereza bali mu buyinike, \q2 naye yennyini ali mu nnaku. \b \q1 \v 5 Abamuyigganya bafuuse bakama be; \q2 abalabe be beeyagala, \q1 kubanga \nd Mukama\nd* amuleeseeko ennaku, \q2 olw’ebibi bye ebingi. \q1 Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, \q2 bawambiddwa omulabe. \b \q1 \v 6 Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni \q2 kimuweddeko, \q1 abalangira be bafuuse ng’ennangaazi \q2 ezibuliddwa omuddo; \q1 mu bunafu, \q2 badduse ababagoba. \b \q1 \v 7 Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana, \q2 Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna \q2 bye yalinanga mu nnaku ez’edda. \q1 Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe, \q2 tewaali n’omu amubeera; \q1 abalabe be ne bamutunuulira \q2 ne bamusekerera olw’okugwa kwe. \b \q1 \v 8 Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, \q2 bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu. \q1 Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, \q2 kubanga balabye bw’asigalidde awo; \q1 ye yennyini asinda, \q2 era akwatibwa ensonyi. \b \q1 \v 9 Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; \q2 teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja. \q1 Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; \q2 tewaali n’omu amubeesabeesa. \q1 “Ayi \nd Mukama\nd*, tunuulira okubonaabona kwange, \q2 kubanga omulabe awangudde.” \b \q1 \v 10 Omulabe yagololera omukono \q2 ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo; \q1 yalaba amawanga amakaafiiri \q2 nga gayingira awatukuvu we, \q1 beebo be wali ogaanye \q2 okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo. \b \q1 \v 11 Abantu be bonna basinda \q2 nga bwe banoonya ekyokulya; \q1 eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, \q2 okusobola okuba abalamu. \q1 “Laba, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, onziseeko omwoyo \q2 kubanga nnyoomebwa.” \b \q1 \v 12 “Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? \q2 mwetegereze mulabe \q1 obanga waliwo obuyinike obwenkana, \q2 obwantukako, \q1 \nd Mukama\nd* bwe yanteekako \q2 ku lunaku olw’obusungu bwe obungi. \b \q1 \v 13 “Yaweereza omuliro okuva waggulu, \q2 ne gukka mu magumba gange. \q1 Yatega ebigere byange akatimba, \q2 n’anzizaayo emabega. \q1 Yandeka mpuubadde, \q2 nga nzirise olunaku lwonna. \b \q1 \v 14 “Ebibi byange binfuukidde ekikoligo; \q2 bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe. \q1 Binzitoowerera mu bulago, \q2 era bimmazeemu amaanyi. \q1 Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo \q2 be siyinza kugumiikiriza. \b \q1 \v 15 “Mukama anyoomye \q2 abalwanyi abazira bonna abaali nange; \q1 akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, \q2 okuzikiriza abavubuka bange. \q1 Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, \q2 ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola. \b \q1 \v 16 “Kyenva nkaaba, \q2 amaaso gange ne gajjula amaziga, \q1 kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa, \q2 ayinza okunzizaamu amaanyi. \q1 Abaana bange banakuwavu \q2 kubanga omulabe awangudde.” \b \q1 \v 17 Sayuuni agolola emikono gye, \q2 naye tewali n’omu amudduukirira. \q1 \nd Mukama\nd* awadde ekiragiro ku Yakobo \q2 baliraanwa be babeere balabe be; \q1 Yerusaalemi afuuse \q2 ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo. \b \q1 \v 18 “\nd Mukama\nd* mutuukirivu, \q2 newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. \q1 Muwulirize mmwe amawanga gonna, \q2 mutunuulire okubonaabona kwange; \q1 Abavubuka bange ne bawala bange \q2 batwalibbwa mu busibe. \b \q1 \v 19 “Nakoowoola bannange bannyambe, \q2 naye tebanfaako; \q1 bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange \q2 bazikiririra mu kibuga \q1 nga banoonya ekyokulya \q2 baddemu amaanyi. \b \q1 \v 20 “Laba, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda bwe ndi omunakuwavu! \q2 Ndi mu kubonaabona, \q1 n’omutima gwange teguteredde \q2 kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. \q1 Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, \q2 ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere. \b \q1 \v 21 “Abantu bawulidde okusinda kwange, \q2 naye tewali n’omu ananyamba. \q1 Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; \q2 basanyukidde ekyo ky’okoze. \q1 Olunaku lwe walangirira, \q2 lubatuukeko, babeere nga nze. \b \q1 \v 22 “Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, \q2 nga nze bwe wambonereza. \q1 Okusinda kwange kungi \q2 n’omutima gwange guzirika.” \c 2 \q1 \v 1 Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni \q2 ne bumussa wansi w’ekire! \q1 Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi \q2 okuva mu ggulu okutuuka ku nsi; \q1 ne yeerabira entebe ey’ebigere bye \q2 ku lunaku lwe yasunguwalirako. \b \q1 \v 2 Mukama azikirizza \q2 abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira; \q1 mu busungu bwe amenye \q2 ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda; \q1 assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be \q2 n’abamalamu ekitiibwa. \b \q1 \v 3 Mu busungu obungi \q2 amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza; \q1 bw’alabye omulabe ng’asembera, \q2 n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo; \q1 anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro \q2 bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye. \b \q1 \v 4 Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe, \q2 era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu. \q1 Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso \q2 mu weema ey’omuwala wa Sayuuni, \q1 okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze; \q2 obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro. \b \q1 \v 5 Mukama afuuse ng’omulabe; \q2 azikirizza Isirayiri, \q1 n’azikiriza embiri ze, \q2 n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi. \q1 Aleetedde muwala wa Yuda \q2 okweyongera okukaaba n’okukungubaga. \b \q1 \v 6 Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro, \q2 era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu. \q1 \nd Mukama\nd* yeerabizza Sayuuni \q2 embaga ze entukuvu ne ssabbiiti, \q1 era mu busungu bwe obungi \q2 anyoomye kabaka ne kabona. \b \q1 \v 7 Mukama atamiddwa ekyoto kye, \q2 n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu. \q1 Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe; \q2 era baleekaanidde mu nnyumba ya \nd Mukama\nd*, \q1 ne baleetamu oluyoogaano \q2 nga ku lunaku olw’embaga entukuvu. \b \q1 \v 8 \nd Mukama\nd* yamalirira okumenya \q2 bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni, \q1 n’agolola omuguwa ogupima, \q2 Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza. \q1 Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga, \q2 byonna ne biggweerera. \b \q1 \v 9 Emiryango gye gisse mu ttaka, \q2 n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona. \q1 Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa, \q2 eteri mateeka gaabwe agabafuga, \q1 era ne bannabbi be tebakyafuna \q2 kwolesebwa kuva eri \nd Mukama\nd*. \b \q1 \v 10 Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni \q2 batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde; \q1 bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe \q2 era beesibye ebibukutu; \q1 n’abawala ba Yerusaalemi \q2 bakotese emitwe gyabwe. \b \q1 \v 11 Amaaso gange gakooye olw’okukaaba \q2 n’emmeeme yange enyiikadde \q1 n’omutima gwange gulumwa \q2 olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange, \q1 n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira \q2 wakati mu nguudo ez’omu kibuga. \b \q1 \v 12 Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti, \q2 “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?” \q1 nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu \q2 mu nguudo ez’ekibuga, \q1 nga bwe bakaabira \q2 mu bifuba bya bannyaabwe. \b \q1 \v 13 Nnyinza kugamba ki, \q2 era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako \q2 ggwe Omuwala wa Yerusaalemi? \q1 Kiki kye nnyinza okukufaananya, \q2 okukusanyusa ggwe \q2 Omuwala Embeerera owa Sayuuni? \q1 Ekiwundu kyo kinene nnyo, \q2 kale ani ayinza okukiwonya? \b \q1 \v 14 Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna, \q2 kwali kwa bulimba era kwa butaliimu; \q1 tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo \q2 okukuwonya obusibe. \q1 Engero ze baabanyumizanga \q2 zaali za bulimba era eziwabya. \b \q1 \v 15 Bonna abayitawo \q2 babakubira mu ngalo \q1 ne bafuuwa empa ne banyeenyeza \q2 omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti, \q1 “Kino kye kibuga ekyayitibwanga \q2 ekituukiridde, \q2 era essanyu ly’ensi zonna?” \b \q1 \v 16 Abalabe bo bonna \q2 baasaamiridde nga beewuunya; \q1 nga bafuuwa empa, era baluma amannyo \q2 nga boogera nti, “Tumuzikirizza. \q1 Luno lwe lunaku lwe twalindirira, \q2 kaakano lutuukiridde, era tululabye.” \b \q1 \v 17 \nd Mukama\nd* akoze kye yateekateeka, \q2 era atuukirizza ekigambo kye \q2 kye yalagira mu nnaku ez’edda. \q1 Akuzikirizza awatali kukusaasira, \q2 aleetedde omulabe wo okukusekerera, \q2 n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza. \b \q1 \v 18 Kaabirira Mukama \q2 n’eddoboozi ery’omwanguka \q1 ggwe Omuwala wa Sayuuni. \q2 Leka amaziga go gakulukute ng’omugga \q2 emisana n’ekiro. \q1 Teweewummuza so toganya \q2 maaso go kuwummula. \b \q1 \v 19 Golokoka, okaabe ekiro \q2 obudde nga bwa kaziba; \q1 Fuka emmeeme yo ng’amazzi \q2 mu maaso ga Mukama. \q1 Yimusa emikono gyo gy’ali, \q2 olw’obulamu bw’abaana bo abato \q1 abazirise olw’enjala \q2 mu buli luguudo. \b \q1 \v 20 “Tunula, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda osaasire! \q2 Ani gwe wali obonerezza bw’otyo? \q1 Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe, \q2 abaana be bakuzizza? \q1 Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe \q2 mu watukuvu wa Mukama? \b \q1 \v 21 “Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu \q2 mu nfuufu ey’enguudo; \q1 abavubuka bange ne bawala bange \q2 battiddwa n’ekitala; \q1 obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo, \q2 era obasse awatali kusaasira. \b \q1 \v 22 “Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga, \q2 bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna; \q1 era ku lunaku olw’obusungu bwa \nd Mukama\nd*, \q2 tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo; \q1 abo be nalabirira ne nkuza, \q2 omulabe wange be yazikiriza.” \c 3 \q1 \v 1 Nze muntu eyakangavvulwa \q2 n’omuggo ogw’obusungu bwe. \q1 \v 2 Angobye mu maaso ge n’antambuliza \q2 mu kizikiza, awatali kitangaala; \q1 \v 3 ddala, omukono gwe gunnwanyisizza \q2 emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna. \b \q1 \v 4 Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange \q2 era amenye n’amagumba gange. \q1 \v 5 Antaayizza n’anzijuza \q2 obulumi n’okubonaabona. \q1 \v 6 Antadde mu kizikiza \q2 ng’abafu abaafa edda. \b \q1 \v 7 Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka, \q2 ansibye enjegere ezizitowa. \q1 \v 8 Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, \q2 okusaba kwange akuggalira bweru. \q1 \v 9 Anteeredde amayinja mu kkubo lyange \q2 era akyamizza amakubo gange. \b \q1 \v 10 Ng’eddubu bwe liteega, \q2 n’empologoma bwe yeekweka \q1 \v 11 yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula \q2 n’andeka awo nga sirina anyamba. \q1 \v 12 Yanaanuula omutego gwe, \q2 n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe. \b \q1 \v 13 Yafumita omutima gwange \q2 n’obusaale okuva mu mufuko gwe. \q1 \v 14 Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, \q2 era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde. \q1 \v 15 Anzijuzza ebikaawa \q2 era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe. \b \q1 \v 16 Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; \q2 anninnyiridde mu nfuufu. \q1 \v 17 Emmeeme yange terina mirembe, \q2 n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana. \q1 \v 18 Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, \q2 n’essuubi lyonna lye nalina mu \nd Mukama\nd* limpeddeko.” \b \q1 \v 19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange, \q2 n’obulumi n’obubalagaze. \q1 \v 20 Mbijjukira bulungi \q2 era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa. \q1 \v 21 Ebyo byonna mbijjukira, \q2 kyenvudde mbeera n’essuubi. \b \q1 \v 22 Olw’okwagala kwa \nd Mukama\nd* okutaggwaawo, \q2 tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. \q1 \v 23 Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; \q2 n’obwesigwa bwo bwa lubeerera. \q1 \v 24 Njogera mu mutima gwange nti, “\nd Mukama\nd* gwe mugabo gwange, \q2 kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.” \b \q1 \v 25 \nd Mukama\nd* mulungi eri abo abamulinamu essuubi, \q2 eri oyo amunoonya. \q1 \v 26 Kirungi omuntu okulindirira \q2 obulokozi bwa \nd Mukama\nd* n’obukkakkamu. \q1 \v 27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye \q2 mu buvubuka bwe. \b \q1 \v 28 Atuulenga yekka mu kasirise \q2 kubanga \nd Mukama\nd* y’akimwambiseemu. \q1 \v 29 Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi. \q1 \v 30 Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, \q2 era amalibwe n’okuvumibwa. \b \q1 \v 31 Kubanga Mukama taligobera bantu bweru \q2 ebbanga lyonna. \q1 \v 32 Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa \q2 kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo. \q1 \v 33 Tagenderera kuleeta bulumi \q2 newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu. \b \q1 \v 34 \nd Mukama\nd* akkiriziganya \q2 n’okulinnyirira abasibe, \q1 \v 35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe \q2 mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo, \q1 \v 36 oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu? \b \q1 \v 37 Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, \q2 Mukama nga takiragidde? \q1 \v 38 Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo, \q2 si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza? \q1 \v 39 Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, \q2 bw’abonerezebwa olw’ebibi bye? \b \q1 \v 40 Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, \q2 tudde eri \nd Mukama\nd*. \q1 \v 41 Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe \q2 eri Katonda mu ggulu, twogere nti, \q1 \v 42 “Twayonoona ne tujeema, \q2 tokyerabiranga era tonatusonyiwa. \b \q1 \v 43 “Ojjudde obusungu n’otugobaganya, \q2 n’otutta awatali kutusaasira. \q1 \v 44 Weebisseeko ekire, \q2 waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli. \q1 \v 45 Otufudde obusa n’ebisasiro \q2 mu mawanga. \b \q1 \v 46 “Abalabe baffe bonna batwogerako \q2 ebigambo ebibi. \q1 \v 47 Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego \q2 n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.” \q1 \v 48 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga \q2 olw’okuzikirira kw’abantu bange. \b \q1 \v 49 Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga \q2 awatali kusirika, \q1 \v 50 okutuusa \nd Mukama\nd* lw’alisinzira \q2 mu ggulu n’alaba. \q1 \v 51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, \q2 olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange. \b \q1 \v 52 Abalabe bange banjigganya olutata \q2 ne baba ng’abayigga ennyonyi. \q1 \v 53 Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, \q2 ne bankasuukirira amayinja; \q1 \v 54 amazzi gaabikka omutwe gwange, \q2 ne ndowooza nti, nsanyeewo. \b \q1 \v 55 “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi \nd Mukama\nd*, \q2 nga ndi mu bunnya wansi ennyo; \q1 \v 56 wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go \q2 eri okukaaba kwange.” \q1 \v 57 Bwe nakukoowoola wansemberera \q2 n’oyogera nti, “Totya!” \b \q1 \v 58 Mukama watunula mu nsonga yange, \q2 era n’onunula obulamu bwange. \q1 \v 59 Ayi \nd Mukama\nd*, walaba ebibi bye bankola, \q2 obasalire omusango nga bwe kibagwanira. \q1 \v 60 Walaba bwe bampalana, \q2 n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira. \b \q1 \v 61 Wawulira bye banvuma, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira, \q1 \v 62 obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange \q2 bye bantesaako obudde okuziba. \q1 \v 63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; \q2 bannyooma nga bwe bannyimbirira. \b \q1 \v 64 Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe. \q1 \v 65 Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, \q2 n’ekikolimo kyo kibabeereko. \q1 \v 66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize \q2 ng’osinziira mu ggulu lya \nd Mukama\nd* Katonda. \c 4 \q1 \v 1 Zaabu ng’ettalazze! \q2 Zaabu ennungi ng’efuuse! \q1 Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye \q2 buli luguudo we lutandikira. \b \q1 \v 2 Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo \q2 abaali beenkana nga zaabu ennungi, \q1 kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba, \q2 omulimu gw’emikono gy’omubumbi. \b \q1 \v 3 Ebibe biyonsa \q2 abaana baabyo, \q1 naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa, \q2 bafaanana nga bammaaya mu ddungu. \b \q1 \v 4 Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina, \q2 olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke; \q1 abaana basaba emmere \q2 naye tewali n’omu agibawa. \b \q1 \v 5 Abaalyanga ebiwoomerera \q2 basabiriza ku nguudo; \q1 n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka \q2 bali ku ntuumu ez’ebisasiro. \b \q1 \v 6 Ekibonerezo ky’abantu bange \q2 kisinga ekya Sodomu, \q1 ekyawambibwa mu kaseera akatono, \q2 nga tewali n’omu azze kukibeera. \b \q1 \v 7 Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira, \q2 nga beeru okusinga amata; \q1 n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu, \q2 era banyirivu nga safiro. \b \q1 \v 8 Naye kaakano badduggala okusinga enziro, \q2 era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. \q1 Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; \q2 lukaze ng’ekiti ekikalu. \b \q1 \v 9 Abafa ekitala bafa bulungi \q2 okusinga abafa enjala, \q1 kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo \q2 olw’obutaba na mmere mu nnimiro. \b \q1 \v 10 Abakazi ab’ekisa abaagala abaana \q2 bafumbye abaana baabwe; \q1 abaana abaafuuka emmere \q2 abantu bange bwe baazikirizibwa. \b \q1 \v 11 \nd Mukama\nd* akituukirizza mu busungu bwe obungi, \q2 era abayiyeeko obusungu bwe obungi. \q1 Yakoleeza omuliro mu Sayuuni \q2 ogwayokya emisingi gyakyo. \b \q1 \v 12 Bakabaka b’ensi \q2 n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza, \q1 nti abalabe n’ababakyawa baliyingira \q2 mu wankaaki wa Yerusaalemi. \b \q1 \v 13 Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be, \q2 n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be, \q1 abaayiwa omusaayi \q2 gw’abatuukirivu abaababeerangamu. \b \q1 \v 14 Badoobera mu nguudo \q2 nga bamuzibe; \q1 bajjudde omusaayi \q2 so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe. \b \q1 \v 15 Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! \q2 Muviireewo ddala, so temutukwatako!” \q1 Bwe baafuuka emmombooze, \q2 amawanga gabagobaganya nga boogera nti, \q2 “Tebakyasaana kubeera wano.” \b \q1 \v 16 \nd Mukama\nd* yennyini abasaasaanyizza, \q2 takyabafaako. \q1 Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, \q2 newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo. \b \q1 \v 17 Amaaso gaffe gakooye \q2 olw’okulindirira okubeerwa okutajja; \q1 nga tulindirira \q2 eggwanga eriyinza okutulokola. \b \q1 \v 18 Baatucocca \q2 ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; \q1 enkomerero yaffe n’eba kumpi, \q2 n’ennaku zaffe ne ziggwaayo. \b \q1 \v 19 Abaatuyiganyanga baatusinga embiro \q2 okusinga n’empungu ez’omu bbanga. \q1 Baatugobera mu nsozi \q2 ne batuteegera mu ddungu. \b \q1 \v 20 Oyo \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta \q2 yagwa mu mitego gyabwe. \q1 Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye \q2 ne tubeeranga mu mawanga. \b \q1 \v 21 Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, \q2 abeera mu nsi ya Uzi; \q1 naye lumu olinywa ku kikompe \q2 n’otamiira ne weeyambula. \b \q1 \v 22 Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo, \q2 talikwongerayo mu busibe. \q1 Naye ggwe omuwala wa Edomu, \nd Mukama\nd* alikubonereza, \q2 n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde. \c 5 \q1 \v 1 Jjukira Ayi \nd Mukama\nd* ekitutuuseeko. \q2 Tunula olabe ennaku yaffe. \q1 \v 2 Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, \q2 n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba. \q1 \v 3 Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe, \q2 ne bannyaffe bafuuse bannamwandu. \q1 \v 4 Tusasulira amazzi ge tunywa; \q2 n’enku tuteekwa okuzigula. \q1 \v 5 Abatucocca batugobaganya; \q2 tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira. \q1 \v 6 Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli \q2 okutufuniranga ku mmere. \q1 \v 7 Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa, \q2 naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu. \q1 \v 8 Abaddu be batufuga, \q2 tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe. \q1 \v 9 Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere, \q2 olw’ekitala ekiri mu ddungu. \q1 \v 10 Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro \q2 olw’enjala ennyingi. \q1 \v 11 Abakyala ba Sayuuni, \q2 n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi. \q1 \v 12 Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe \q2 n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa. \q1 \v 13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo, \q2 n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku. \q1 \v 14 Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga, \q2 n’abavubuka tebakyayimba. \q1 \v 15 Emitima gyaffe tegikyasanyuka, \q2 n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga. \q1 \v 16 Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. \q2 Zitusanze kubanga twonoonye! \q1 \v 17 Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, \q2 era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala. \q1 \v 18 Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere, \q2 ebibe kyebivudde bitambulirako. \b \q1 \v 19 Ggwe, Ayi \nd Mukama\nd* obeerera ennaku zonna; \q2 entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe. \q1 \v 20 Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna? \q2 Tuddiremu, Ayi \nd Mukama\nd*, tudde gy’oli. \q1 \v 21 Tukomyewo gy’oli Ayi \nd Mukama\nd*, \q2 otuzze buggya ng’edda; \q1 \v 22 wabula ng’otusuulidde ddala, \q2 era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.