\id ISA - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h Isaaya \toc1 Isaaya \toc2 Isaaya \toc3 Is \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Isaaya \c 1 \p \v 1 Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda. \s1 Eggwanga Ejjeemu \q1 \v 2 Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, \q2 kubanga bw’ati \nd Mukama\nd* bw’ayogera nti, \q1 “Nayonsa ne ndera abaana \q2 naye ne banjeemera. \q1 \v 3 Ente emanya nannyini yo \q2 n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, \q1 naye Isirayiri tammanyi, \q2 abantu bange tebantegeera.” \b \q1 \v 4 Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi, \q2 abantu abajjudde obutali butuukirivu, \q1 ezzadde eryabakola ebibi, \q2 abaana aboonoonyi! \q1 Balese \nd Mukama\nd* \q2 banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri, \q2 basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega. \b \q1 \v 5 Lwaki mweyongera okujeema? \q2 Mwagala mwongere okubonerezebwa? \q1 Omutwe gwonna mulwadde, \q2 n’omutima gwonna gunafuye. \q1 \v 6 Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe \q2 temuli bulamu \q1 wabula ebiwundu, n’okuzimba, \q2 n’amabwa agatiiriika amasira \q1 agatanyigibwanga, okusibibwa, \q2 wadde okuteekebwako eddagala. \b \q1 \v 7 Ensi yammwe esigadde matongo, \q2 ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, \q1 nga nammwe bennyini mulaba. \q2 Bannamawanga\f + \fr 1:7 \fr*\ft Kino kyogera ku kulumbibwa kw’abantu b’omu Bwasuli mu biro bya Sennakeribu (\+xt 2Bk 18:13\+xt*).\ft*\f* balidde ensi yammwe, \q2 era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde. \q1 \v 8 Omuwala wa Sayuuni alekeddwa \q2 ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu, \q1 ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu\f + \fr 1:8 \fr*\fq emyungu \fq*\ft ziba bika bya nsujju; emu eyitibwa omungu\ft*\f*, \q2 ng’ekibuga ekizingiziddwa. \q1 \v 9 Singa \nd Mukama\nd* ow’Eggye \q2 teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo \q1 twandibadde nga Sodomu, \q2 twandifuuse nga Ggomola. \b \q1 \v 10 Muwulirize ekigambo kya Katonda \q2 mmwe abafuzi ba Sodomu! \q1 Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe \q2 mmwe abantu b’e Ggomola! \q1 \v 11 “Ssaddaaka enkumu ze munsalira \q2 zingasa ki? \q1 Nkooye endiga ennume \q2 enjokye eziweebwayo, \q1 so sisanyukira musaayi gwa nte, \q2 newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 12 Bwe mujja mu maaso gange, \q2 ani aba abayise \q2 ne mujja okulinnyirira empya zange? \q1 \v 13 Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; \q2 obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. \q1 Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe \q2 zijjudde obutali butuukirivu. \q1 \v 14 Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu, \q2 emmeeme yange ebikyaye, \q1 binfuukidde omugugu, \q2 nkooye okubigumiikiriza. \q1 \v 15 Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe \q2 nnaabakwekanga amaaso gange, \q1 era ne bwe munaasabanga ennyo \q2 siiwulirenga \q1 kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi. \b \q1 \v 16 Munaabe, mwetukuze \q2 muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, \q2 mulekeraawo okukola ebibi. \q1 \v 17 Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, \q2 mudduukirirenga abajoogebwa, \q1 musalenga omusango gw’atalina kitaawe, \q2 muwolerezenga bannamwandu. \b \q1 \v 18 “Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*; \q1 “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu \q2 binaafuuka byeru ng’omuzira, \q1 ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, \q2 binaatukula ng’ebyoya by’endiga. \q1 \v 19 Bwe munaagondanga ne muwulira, \q2 munaalyanga ebirungi eby’ensi; \q1 \v 20 naye bwe munaagaananga ne mujeemanga \q2 ekitala kinaabalyanga,” \q1 kubanga akamwa ka \nd Mukama\nd* ke kakyogedde. \b \q1 \v 21 Laba ekibuga ekyesigwa \q2 bwe kifuuse ng’omwenzi! \q1 Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! \q2 Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, \q2 naye kaakano batemu bennyini nnyini! \q1 \v 22 Effeeza yo efuuse masengere, \q2 wayini wo afuuse wa lujjulungu. \q1 \v 23 Abafuzi bo bajeemu, \q2 mikwano gya babbi, \q1 bonna bawoomerwa enguzi, \q2 era banoonya kuweebwa birabo; \q1 tebayamba batalina ba kitaabwe, \q2 so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako. \q1 \v 24 Noolwekyo kyava ayogera Mukama, \nd Mukama\nd* ow’Eggye, \q2 ow’amaanyi owa Isirayiri nti, \q1 “Ndifuka obusungu ku balabe bange, \q2 era ne nesasuza abo abankyawa. \q1 \v 25 Era ndikukwatamu n’omukono gwange, \q2 ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna \q2 ne nkuggyamu ebitali birungi byonna. \q1 \v 26 Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye \q2 n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka. \q1 Olwo olyoke oyitibwe \q2 ekibuga eky’obutuukirivu, \q2 ekibuga ekyesigwa.” \b \q1 \v 27 Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya, \q2 n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu. \q1 \v 28 Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu, \q2 n’abo abava ku \nd Mukama\nd* Katonda, balimalibwawo. \b \q1 \v 29 “Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti \q2 mwe mwenyumiririzanga, \q1 n’olw’ennimiro \q2 ze mweroboza. \q1 \v 30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka \q2 era ng’ennimiro etaliimu mazzi. \q1 \v 31 N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi, \q2 n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda, \q1 era byombi biriggiira wamu \q2 so tewaliba azikiza omuliro ogwo.” \c 2 \s1 Olusozi lwa \nd Mukama\nd* \p \v 1 Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi. \b \p \v 2 Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma \q1 olusozi okuli ennyumba ya \nd Mukama\nd* Katonda \q2 lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira, \q1 luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna, \q2 era amawanga gonna galilwolekera. \p \v 3 Abantu bangi balijja bagambe nti, \q1 Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa \nd Mukama\nd*, \q2 mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, \q1 alyoke atuyigirize amakubo ge, \q2 tulyoke tutambulire mu mateeka ge. \q1 Kubanga \nd Mukama\nd* aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni, \q2 era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye. \q1 \v 4 Alisala enkaayana z’amawanga, \q2 aliramula emisango gy’abantu bangi, \q1 era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, \q2 n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. \q1 Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, \q2 so tebalyetegeka kulwana ntalo nate. \s1 \nd Mukama\nd* Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya \q1 \v 5 Ggwe ennyumba ya Yakobo, \q2 mujje tutambulire mu kitangaala kya \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 6 Wayabulira abantu bo \q2 ab’ennyumba ya Yakobo, \q1 kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, \q2 n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti, \q2 era basizza kimu ne bannamawanga. \q1 \v 7 Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu, \q2 n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo: \q1 ensi yaabwe ejjudde embalaasi, \q2 era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo. \q1 \v 8 Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, \q2 basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, \q2 engalo zaabwe gwe zeekolera. \q1 \v 9 Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa, \q2 omuntu wa kussibwa wansi. \q2 \nd Mukama\nd*, tobasonyiwa! \b \q1 \v 10 Mugende mwekweke mu njazi, \q2 mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, \q1 nga mudduka entiisa ya \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe. \q1 \v 11 Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu \q2 n’amalala ge lwe birizikirizibwa, \q1 era \nd Mukama\nd* Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo. \b \q1 \v 12 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese \q2 eri abo bonna ab’amalala era abeewanise, \q2 eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde \q2 okwemanya n’okwewulira. \q1 \v 13 Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,\f + \fr 2:13 \fr*\ft Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi\ft*\f* emiwanvu emigulumivu, \q2 n’emivule gyonna egya Basani. \q1 \v 14 Era n’ensozi zonna empanvu, \q2 n’obusozi bwonna obugulumivu. \q1 \v 15 Na buli mulongooti gwonna omuwanvu, \q2 na buli bbugwe gwe bakomese. \q1 \v 16 Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi, \q2 n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi. \q1 \v 17 Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka, \q2 n’amalala g’abantu galissibwa; \q1 era \nd Mukama\nd* Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo. \q2 \v 18 N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo. \b \q1 \v 19 Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, \q2 ne mu binnya mu ttaka, \q1 nga badduka entiisa \q2 n’ekitiibwa ky’obukulu bwa \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi. \q1 \v 20 Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala \q2 bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu, \q1 be beekolera nga ba kusinzanga, \q2 ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira. \q1 \v 21 Balidduka ne beekukuma mu mpuku \q2 ez’amayinja amaatifu \q1 nga badduka entiisa \q2 n’ekitiibwa ky’obukulu bwa \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 bwaliyimuka okukankanya ensi. \b \q1 \v 22 Mulekeraawo okwesiga omuntu \q2 alina omukka obukka mu nnyindo ze. \q1 Kiki ennyo kyali? \c 3 \s1 Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango \q1 \v 1 Laba kaakano, Mukama, \q2 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q1 aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda \q2 ekibeesiguza ne kwe banyweredde, \q1 ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi. \q2 \v 2 Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira, \q1 omulamuzi, ne nnabbi, \q2 n’omulaguzi, n’omukadde. \q1 \v 3 Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano, \q2 n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi. \b \q1 \v 4 “Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, \q2 n’abaana obwana balibafuga.” \b \q1 \v 5 Era abantu balijooga bannaabwe, \q2 buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. \q1 Abato baliyisa mu bakulu amaaso \q2 n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa. \b \q1 \v 6 Ekiseera kirituuka \q2 omusajja agambe muganda we nti, \q1 “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, \q2 n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!” \q1 \v 7 Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, \q2 “Si nze n’aba ow’okubawonya, \q1 mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. \q2 Temumpa kukulembera bantu!” \b \q1 \v 8 Kubanga Yerusaalemi kizikiridde \q2 ne Yuda agudde! \q1 Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 bityoboola ekitiibwa kye. \q1 \v 9 Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, \q2 era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu\f + \fr 3:9 \fr*\ft Sodomu ky’ekibuga ekiriraanye ekifo Lutti gye yassa eweema ye, bwe yali ayawukanye ne Ibulaamu, oluvannyuma eyayitibwa Ibulayimu. \+nd Mukama\+nd* yasaanyaawo Sodomu ne Gomora n’omuliro ogwa salufa ogwava mu ggulu kubanga abatuuze baayo baayonoona nnyo eri \+nd Mukama\+nd* (\+xt Lub 13:12\+xt*)\ft*\f* \q2 awatali kukweka n’akatono. \q1 Zibasanze! \q2 Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira. \b \q1 \v 10 Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, \q2 kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe. \q1 \v 11 Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! \q1 Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze. \b \q1 \v 12 Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, \q2 abakazi kaakano be babafuga. \q1 Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe \q2 era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu. \b \q1 \v 13 \nd Mukama\nd* Katonda ali mu kifo kye mu mbuga, \q2 ayimiridde okusalira abantu be omusango. \q1 \v 14 \nd Mukama\nd* Katonda asala omusango \q2 gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. \q1 “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. \q2 Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe. \q1 \v 15 Lwaki mulinnyirira abantu bange, \q2 lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda Ayinzabyonna. \b \q1 \v 16 \nd Mukama\nd* Katonda agamba nti, \q2 “Abakazi b’omu Sayuuni\f + \fr 3:16 \fr*\fq Sayuuni \fq*\ft lusozi olusangibwa mu Yerusaalemi\ft*\f* beemanyi, \q1 era batambula balalambazza ensingo \q2 nga batunuza bukaba. \q1 Batambula basiira \q2 nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe. \q1 \v 17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni, \q2 ne gifuuka gya biwalaata.” \p \v 18 Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, \v 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, \v 20 ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, \v 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, \v 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, \v 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka. \q1 \v 24 Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu, \q2 awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, \q1 n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, \q2 mu kifo ky’engoye babeere mu nziina, \q2 n’awaali obulungi waddewo obulambe. \q1 \v 25 Abasajja bo balittibwa kitala, \q2 abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo. \q1 \v 26 N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga \q2 era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka. \c 4 \q1 \v 1 Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, \q2 Tuyitibwenga erinnya lyo, \q1 otuggyeko ekivume. \q2 Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala. \s1 Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya \p \v 2 Ku lunaku luli ettabi lya \nd Mukama\nd* Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. \v 3 Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. \v 4 Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. \v 5 Olwo \nd Mukama\nd* Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. \v 6 Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba. \c 5 \s1 Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu \q1 \v 1 Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba \q2 olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. \q1 Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu \q2 ku lusozi olugimu. \q1 \v 2 Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna, \q2 n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. \q1 Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa. \q2 N’agisimamu n’essogolero \q1 n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi \q2 naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono. \b \q1 \v 3 “Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda, \q2 munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.” \q1 \v 4 Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno, \q2 kye ssaagikolera? \q1 Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi, \q2 lwaki saalabamu mirungi? \q1 \v 5 Kaakano muleke mbabuulire \q2 kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu. \q1 Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke. \q2 Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe. \q1 \v 6 Era ndigireka n’ezika, \q2 sirigirima wadde okugisalira. \q2 Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa. \q1 Ndiragira n’ebire \q2 obutatonnyesaamu nkuba. \b \q1 \v 7 Ennyumba ya Isirayiri \q2 y’ennimiro ya \nd Mukama\nd* Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu. \q1 Abantu ba Yuda \q2 y’ennimiro gye yasiima. \q1 Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi. \q2 Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana. \b \q1 \v 8 Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina, \q2 n’ennimiro ne muzongerako endala \q1 ne wataba kafo konna kasigadde, \q2 ne mubeera mwekka wakati mu nsi! \p \v 9 \nd Mukama\nd* Katonda alayidde nga mpulira nti, \q1 “Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, \q2 n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu. \q1 \v 10 Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu, \q2 n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.” \b \q1 \v 11 Zibasanze abo abakeera enkya ku makya \q2 banoonye ekitamiiza, \q1 abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde, \q2 okutuusa omwenge lwe gubalalusa! \q1 \v 12 Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere, \q2 n’omwenge ku mbaga zaabwe; \q1 naye ne batalowooza ku mulimu gwa \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda. \q1 \v 13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse \q2 kubanga tebalina kutegeera. \q1 Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala, \q2 n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta. \q1 \v 14 Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, \q2 era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. \q1 Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe \q2 n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu. \q1 \v 15 Buli muntu alitoowazibwa, \q2 abantu bonna balikkakkanyizibwa \q2 era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe. \q1 \v 16 Naye \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya, \q2 era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe. \q1 \v 17 Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo, \q2 n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava. \b \q1 \v 18 Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe \q2 ng’embalaasi bw’esika ekigaali. \q1 \v 19 Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola. \q2 Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje, \q2 zituuke nazo tuzimanye.” \b \q1 \v 20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi \q2 n’ekirungi ekibi, \q1 abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, \q2 n’ekitangaala okuba ekizikiza, \q1 abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera \q2 n’ekiwoomerera okuba ekikaawa. \b \q1 \v 21 Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi, \q2 era abagezigezi bo nga bwe balaba. \b \q1 \v 22 Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge \q2 era mu kutabula ekitamiiza, \q1 \v 23 abejjeereza abatemu olw’enguzi \q2 era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde. \q1 \v 24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, \q2 era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, \q1 bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda, \q2 era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu; \q1 kubanga baajeemera etteeka lya \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q2 era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri. \q1 \v 25 Noolwekyo obusungu bwa \nd Mukama\nd* Katonda bubuubuukira ku bantu be, \q2 n’agolola omukono gwe n’abasanjaga, \q1 ensozi ne zikankana \q2 era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo. \b \q1 Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa \nd Mukama\nd* Katonda tebunnakakkana \q2 era omukono gwe gukyagoloddwa. \b \q1 \v 26 Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera, \q2 alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi, \q1 era laba, \q2 balyanguwako okujja.\f + \fr 5:26 \fr*\ft Abalirumba baliba Basuuli.\ft*\f* \q1 \v 27 Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala. \q2 Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka. \q1 Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye, \q2 wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka. \q1 \v 28 Obusaale bwabwe bwogi, \q2 n’emitego gyabwe gyonna mireege. \q1 Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale, \q2 Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu. \q1 \v 29 Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma, \q2 balikaaba ng’empologoma ento: \q1 weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe \q2 bagutwalire ddala awatali adduukirira. \q1 \v 30 Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe \q2 ng’ennyanja eyira. \q1 Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi, \q2 aliraba ekizikiza n’ennaku; \q2 n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte. \c 6 \s1 Katonda Atuma Isaaya \p \v 1 Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. \v 2 Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. \v 3 Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, \q1 “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, \nd Mukama\nd* Katonda Ayinzabyonna: \q2 ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” \m \v 4 N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka. \p \v 5 Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye!” \p \v 6 Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto\f + \fr 6:6 \fr*\ft Ekyoto ekyo ky’ekyoto eky’obuwoowo ekiri wakati w’Awatukuvu.\ft*\f* ne nnamagalo. \v 7 Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.” \p \v 8 Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” \p Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!” \p \v 9 Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, \q1 “ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, \q2 n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’ \q1 \v 10 Okakanyaze omutima gw’abantu bano, \q2 oggale amatu gaabwe, \q2 n’amaaso gazibe \q1 si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe \q2 oba okuwulira n’amatu gaabwe \q2 oba okutegeera n’emitima gyabwe \q1 ne bakyuka bawonyezebwe.” \p \v 11 Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?” \p Nanziramu nti, \q1 “Okutuusa ebibuga lwe birizika \q2 nga tewali abibeeramu, \q1 ne mu mayumba nga temuli muntu, \q2 ensi ng’esigalidde awo, \q1 \v 12 okutuusa nga \nd Mukama\nd* Katonda agobedde wala buli muntu, \q2 era ng’ensi esigadde matongo. \q1 \v 13 N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo, \q2 nakyo kirizikirizibwa. \q1 Naye ng’omumyuliru n’omuvule \q2 bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa, \q2 bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.” \c 7 \s1 Akabonero Akategeeza Okujja kwa Emmanweri \p \v 1 Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.\f + \fr 7:1 \fr*\ft Mu mwaka 735 \+sc bc\+sc*, Isirayiri ne Busuuli batta omukago balwanyise Bwasuli, ne bagezaako okusendasenda Akazi kabaka wa Yuda abeegatteko\ft*\f* \p \v 2 Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga. \p \v 3 \nd Mukama\nd* Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye, \v 4 omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’ \v 5 Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti, \v 6 ‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’ \v 7 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ekyo tekiibeewo \q2 era tekirituukirira. \q1 \v 8 Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli \q2 era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko. \q1 Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano \q2 Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga. \q1 \v 9 Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu, \q2 era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya. \q1 Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, \q2 ddala temuliyimirira n’akatono.’ ” \p \v 10 \nd Mukama\nd* Katonda n’addamu n’agamba Akazi nti, \v 11 “Saba \nd Mukama\nd* Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.” \p \v 12 Naye Akazi n’agamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa \nd Mukama\nd* Katonda.” \p \v 13 Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa? \v 14 Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri. \v 15 Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki. \v 16 Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo. \v 17 \nd Mukama\nd* Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.” \p \v 18 Olunaku olwo nga lutuuse, \nd Mukama\nd* Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli. \v 19 Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna. \v 20 Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu. \v 21 Newaakubadde mu nnaku ezo, ng’omuntu alisigaza ente emu yokka n’endiga bbiri, \v 22 naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki. \v 23 Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa. \v 24 Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa. \v 25 N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira. \c 8 \s1 \nd Mukama\nd* Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri \p \v 1 Awo \nd Mukama\nd* Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” \v 2 Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya. \p \v 3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. \nd Mukama\nd* Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. \v 4 Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.” \p \v 5 \nd Mukama\nd* Katonda n’addamu n’ayogera nange nti, \q1 \v 6 “Kubanga abantu bano bagaanye \q2 amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,\f + \fr 8:6 \fr*\ft Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (\+xt 2By 32:4-30\+xt*) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi\ft*\f* \q1 ne bajaguza olwa Lezini \q2 ne mutabani wa Lemaliya, \q1 \v 7 kale nno Mukama anaatera okubaleetako \q2 amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu, \q2 ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna; \q1 galisukka ensalosalo zonna, \q2 ne ganjaala ku ttale lyonna. \q1 \v 8 Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda, \q2 galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago, \q1 n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo, \q2 ggwe Emmanweri.” \b \q1 \v 9 Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire. \q2 Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala; \q1 mwenyweze naye mwekaabire; \q2 mwenyweze naye mwekaabire. \q1 \v 10 Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka, \q2 mwogere ekigambo naye tekirituukirira. \p \v 11 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti, \q1 \v 12 “Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe, \q2 temubiyita nkwe, \q1 era temutya bye batya, \q2 wadde okutekemuka\f + \fr 8:12 \fr*\ft Abantu bwe baawulira nti waliwo omukago wakati wa Isirayiri ne Bwasuli, ne batya nnyo.\ft*\f* omutima. \q1 \v 13 Naye mujjukire nti nze \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu, \q2 nze gwe muba mutya, \q2 era gwe muba mwekengera. \q1 \v 14 Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri \q2 aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, \q1 era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi. \q1 \v 15 Era bangi abaliryesittalako, \q2 bagwe, bamenyeke, \q2 bategebwe bakwatibwe.” \b \q1 \v 16 Nyweza obujulirwa \q2 okakase amateeka mu bayigirizwa bange. \q1 \v 17 Nange nnaalindirira \nd Mukama\nd* Katonda \q2 akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo, \q1 mmunoonye n’essuubi. \p \v 18 Laba, nze n’abaana \nd Mukama\nd* Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni. \p \v 19 Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? \v 20 Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. \v 21 Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. \v 22 Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi. \c 9 \s1 Omulokozi Atuzaaliddwa \p \v 1 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja. \q1 \v 2 Abantu abaatambuliranga mu kizikiza \q2 balabye ekitangaala eky’amaanyi, \q1 abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, \q2 omusana gubaakidde. \q1 \v 3 Oyazizza eggwanga, \q2 obongedde essanyu, \q1 basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, \q2 ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.\f + \fr 9:3 \fr*\ft Kino kyogera ku Gidyoni bwe yawanguka Abamidiyaani\ft*\f* \q1 \v 4 Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, \q2 omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, \q1 n’ekiti eky’oku kibegabega kye, \q2 n’oluga lw’oyo amunyigiriza. \q1 \v 5 Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo \q2 na buli kyambalo ekibunye omusaayi, \q1 biriba bya kwokebwa, \q2 bye birikozesebwa okukoleeza omuliro. \q1 \v 6 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, \q2 omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, \q2 n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. \q1 N’erinnya lye aliyitibwa nti, \q2 Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, \q2 Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe. \q1 \v 7 Okufuga kwe n’emirembe \q2 biryeyongeranga obutakoma. \q1 Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, \q2 n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu \q2 okuva leero okutuusa emirembe gyonna. \q1 Obumalirivu bwa \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 bulikituukiriza ekyo. \s1 Obusungu bwa \nd Mukama\nd* Ku Isirayiri \q1 \v 8 Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,\f + \fr 9:8 \fr*\ft Yakobo, ne Isirayiri, ne Efulayimu ne Samaliya, byonna byogera ku Bwakabaka bw’omu Bukiikakkono, era ekibuga kyayo ekikulu ye Samaliya.\ft*\f* \q2 ku birituuka ku Isirayiri. \q1 \v 9 Era abantu bonna balibumanya, \q2 Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya \q1 aboogera n’amalala \q2 n’omutima omukakanyavu, \q1 \v 10 nti, “Amatoffaali gagudde wansi \q2 naye tulizimbya amayinja amateme, \q1 emisukamooli gitemeddwawo \q2 naye tulizzaawo emivule.” \q1 \v 11 \nd Mukama\nd* Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; \q2 alibakumaakuma bamulumbe. \q1 \v 12 Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba, \q2 balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. \b \q1 Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa \nd Mukama\nd* buliba tebunnavaawo \q2 era omukono gwe guliba gukyagoloddwa. \b \q1 \v 13 Kubanga abantu tebakyuse kudda \q2 wadde okunoonya \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye eyabakuba. \q1 \v 14 Bw’atyo \nd Mukama\nd* Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira, \q2 ettabi n’olukindu mu lunaku lumu. \q1 \v 15 Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa, \q2 n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba. \q1 \v 16 Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, \q2 n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa. \q1 \v 17 Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, \q2 wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; \q1 kubanga buli omu mukozi wa bibi, \q2 era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. \b \q1 Olwa bino byonna, obusungu bwa \nd Mukama\nd* tebunakyusibwa kubavaako, \q2 era omukono gwe gukyagoloddwa. \b \q1 \v 18 Ddala ekibi kyokya ng’omuliro; \q2 gumalawo emyeramannyo n’obusaana. \q1 Era gukoleeza eby’omu kibira, \q2 omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu. \q1 \v 19 Olw’obusungu bwa \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 ensi eggiiridde ddala, \q1 era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro, \q2 tewali muntu alekawo muganda we. \q1 \v 20 Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo, \q2 naye balisigala bayala; \q1 balirya n’eby’oku kkono, \q2 naye tebalikkuta. \q1 Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye. \q2 \v 21 Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase \q2 ate bombi ne balya Yuda. \b \q1 Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa \nd Mukama\nd* buliba tebunnavaawo, \q2 era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa. \c 10 \q1 \v 1 Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, \q2 n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza, \q1 \v 2 okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; \q2 era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, \q1 ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, \q2 n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe! \q1 \v 3 Mulikola mutya ku lunaku \nd Mukama\nd* lwalisalirako omusango \q2 ne mu kuzikirira okuliva ewala? \q1 Muliddukira w’ani alibayamba? \q2 Obugagga bwammwe mulibuleka wa? \q1 \v 4 Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe \q2 oba okuba mu abo abattiddwa. \b \q1 Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo, \q2 era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa. \s1 Omusango Katonda Gwalisalira Bwasuli \q1 \v 5 “Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange, \q2 era omuggo gw’ekiruyi kyange. \q1 \v 6 Mmutuma okulumba eggwanga eritatya \nd Mukama\nd*, \q2 era mmusindika eri abantu abansunguwazizza, \q1 abanyage, ababbire ddala, \q2 n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo. \q1 \v 7 Naye kino si kye kigendererwa kye, \q2 kino si ky’alowooza. \q1 Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza, \q2 okumalirawo ddala amawanga mangi. \q1 \v 8 ‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera. \q2 \v 9 ‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi, \q1 ne Kamasi nga Alupaadi, \q2 ne Samaliya nga Ddamasiko? \q1 \v 10 Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje, \q2 abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya, \q1 \v 11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala \q2 si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ” \p \v 12 Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. \v 13 Kubanga yayogera nti, \q1 “ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, \q2 era n’olw’amagezi gange, \q1 kubanga ndi mukalabakalaba: \q2 Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe, \q2 ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe. \q1 \v 14 Ng’omuntu bw’akwata mu kisu, \q2 omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga; \q1 ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo, \q2 bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna, \q1 tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro, \q2 newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ” \b \q1 \v 15 Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? \q2 Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? \q1 Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa, \q2 oba omuggo okusitula oyo atali muti. \q1 \v 16 Noolwekyo Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda Ayinzabyonna, \q2 kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja, \q1 era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro \q2 ogwokya ng’oluyiira. \q1 \v 17 Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro, \q2 n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro, \q1 mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala \q2 amaggwa ge n’emyeramannyo gye. \q1 \v 18 Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye, \q2 n’ennimiro ze, engimu, \q2 ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala. \q1 \v 19 N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo \q2 nga n’omwana ayinza okugibala. \s1 Abalisigalawo ku Isirayiri \q1 \v 20 Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri, \q2 n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo \q1 nga tebakyeyinulira ku oyo\f + \fr 10:20 \fr*\ft Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli\ft*\f* \q2 eyabakuba \q1 naye nga beesigama ku \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 omutukuvu wa Isirayiri mu mazima. \q1 \v 21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo \q2 kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi. \q1 \v 22 Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja, \q2 abalikomawo nga balamu baliba batono. \q1 Okuzikirira kwo kwa kubaawo \q2 kubanga kusaanidde. \q1 \v 23 Kubanga Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alireeta \q2 enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna. \p \v 24 Noolwekyo Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti, \q1 “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, \q2 temutyanga Abasuli, \q1 newaakubadde nga babakuba n’oluga \q2 era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola. \q1 \v 25 Kubanga mu kaseera katono nnyo \q2 obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.” \b \q1 \v 26 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu \q2 nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu. \q1 Era aligololera oluga lwe ku nnyanja \q2 nga bwe yakola e Misiri. \q1 \v 27 Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo, \q2 n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo; \q1 ekikoligo kirimenyebwa \q2 olw’obugevvu bwo. \b \q1 \v 28 Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi, \q2 liyise mu Migulooni, \q2 era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe. \q1 \v 29 Bayise awavvuunukirwa, e Geba \q2 ne basulayo ekiro kimu, \q1 Laama akankana, \q2 Gibea wa Sawulo adduse. \q1 \v 30 Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu! \q2 Ggwe Layisa wuliriza! \q2 Ng’olabye Anasosi! \q1 \v 31 Madumena adduse, \q2 abantu b’e Gebimu beekukumye. \q1 \v 32 Olwa leero bajja kusibira Nobu, \q2 balyolekeza ekikonde kyabwe \q1 eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni, \q2 akasozi ka Yerusaalemi. \b \q1 \v 33 Laba, Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q2 alitema amatabi n’entiisa \q1 n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala, \q2 n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa. \q1 \v 34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira; \q2 Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna. \c 11 \s1 Ettabi Eririva ku Yese \q1 \v 1 Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese, \q2 ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala. \q1 \v 2 Mwoyo wa \nd Mukama\nd* alibeera ku ye, \q2 Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera \q2 ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi \q2 ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 3 Era n’essanyu lye liribeera mu kutya \nd Mukama\nd* Katonda. \b \q1 Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba, \q2 oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka, \q1 \v 4 naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, \q2 era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; \q1 era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, \q2 era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke. \q1 \v 5 Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya, \q2 n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye. \b \q1 \v 6 Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga, \q2 n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi; \q1 era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu; \q2 era omwana omuto yalizirabirira. \q1 \v 7 Ente n’eddubu biririira wamu, \q2 abaana baazo banaagalamiranga wamu. \q2 Empologoma erirya omuddo ng’ente. \q1 \v 8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera, \q2 n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa. \q1 \v 9 Tewalibeera kukolaganako bulabe \q2 wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. \q1 Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja. \p \v 10 Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. \v 11 Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri\f + \fr 11:11 \fr*\ft Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka.\ft*\f* okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja. \q1 \v 12 Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri; \q2 aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi. \q1 \v 13 Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo, \q2 n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa. \q1 Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya \q2 wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu. \q1 \v 14 Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba; \q2 era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba. \q1 Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; \q2 n’abaana ba Amoni balibagondera. \q1 \v 15 Era \nd Mukama\nd* Katonda alikaliza \q2 omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri; \q1 era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati \q2 ne guleetawo omuyaga ogukaza, \q1 agwawulemu ebitundu musanvu \q2 abantu bye banaasomokanga ku bigere. \q1 \v 16 Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga \q2 eryasigala ku Bwasuli \q1 nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku \q2 lwe baaviirako mu Misiri. \c 12 \s1 Okwebaza \nd Mukama\nd* olw’Obulokozi bwe \q1 \v 1 Ku lunaku olwo oligamba nti, \q2 “Nnaakwebazanga ayi \nd Mukama\nd* Katonda; \q1 newaakubadde nga wansunguwalira, \q2 obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi. \q1 \v 2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange; \q2 nzija kumwesiga era siritya; \q1 kubanga \nd Mukama\nd* Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, \q2 era afuuse obulokozi bwange.” \q1 \v 3 Munaasenanga n’essanyu amazzi \q2 okuva mu nzizi ez’obulokozi. \p \v 4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti, \q1 “Mwebaze \nd Mukama\nd* Katonda, mukoowoole erinnya lye, \q2 mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, \q2 mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. \q1 \v 5 Mumuyimbire \nd Mukama\nd* Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; \q2 muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. \q1 \v 6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, \q2 kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.” \c 13 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni \p \v 1 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba. \q1 \v 2 Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu, \q2 mubakaabirire \q2 mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu. \q1 \v 3 Nze \nd Mukama\nd* ndagidde abatukuvu bange \q2 mpise abalwanyi bange ab’amaanyi, \q2 babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi. \b \q1 \v 4 Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi, \q2 nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene! \q1 Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka, \q2 olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu! \q1 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye ateekateeka \q2 eggye lye okulwana. \q1 \v 5 Bava wala mu nsi ezeewala ennya \q2 okuva ku nkomerero y’eggulu. \q1 Mu busungu bwe \nd Mukama\nd* Katonda aleese ebyokulwanyisa \q2 eby’okuzikiriza ensi yonna. \b \q1 \v 6 Mukungubage, kubanga olunaku lwa \nd Mukama\nd* luli kumpi, \q2 lulijja ng’okuzikirira okuva eri \nd Mukama\nd* Katonda bwe kuba! \q1 \v 7 Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, \q2 na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka; \q1 \v 8 era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala. \q2 Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira. \b \q1 \v 9 Laba olunaku lwa \nd Mukama\nd* lujja, \q2 olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka \q1 okufuula ensi amatongo, \q2 n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu. \q1 \v 10 Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo \q2 tebiryaka; \q1 enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo, \q2 n’omwezi nagwo tegulyaka. \q1 \v 11 Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo, \q2 n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe. \q1 Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala \q2 era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe. \q1 \v 12 Abantu ndibafuula abebbula \q2 okusinga zaabu ennongoose eya ofiri. \q1 \v 13 Noolwekyo ndikankanya eggulu, \q2 era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, \q1 olw’obusungu bwa \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q2 ku lunaku lw’obusungu bwe obungi. \b \q1 \v 14 Era ng’empeewo eyiggibwa, \q2 ng’endiga eteriiko agirunda, \q1 buli muntu aliddukira eri abantu be \q2 buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe. \q1 \v 15 Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu, \q2 buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala. \q1 \v 16 N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba; \q2 ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka. \b \q1 \v 17 Laba, ndibayimbulira Abameedi, \q2 abatafa ku ffeeza \q2 era abateeguya zaabu. \q1 \v 18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka \q2 era tebaliba na kisa eri abawere. \q2 Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato. \q1 \v 19 Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka, \q2 obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya, \q1 kiriba nga Sodomu ne Ggomola \q2 Katonda bye yawamba. \q1 \v 20 Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, \q2 so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe, \q1 so teri Muwalabu alisimbayo weema ye, \q2 teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo. \q1 \v 21 Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo; \q2 ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola; \q1 bammaaya banaabeeranga eyo, \q2 n’ebikulekule bibuukire eyo. \q1 \v 22 N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe, \q2 ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana. \q1 Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, \q2 ennaku ze teziryongerwako. \b \b \c 14 \q1 \v 1 \nd Mukama\nd* Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, \q2 addemu alonde Isirayiri \q2 abazze ku ttaka lyabwe. \q1 Ne bannamawanga balibeegattako \q2 era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala. \q1 \v 2 N’amawanga mangi galibayamba \q2 okudda mu nsi yaabwe, \q1 n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu \q2 abamawanga amangi mu nsi ya \nd Mukama\nd* Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi. \q1 Baliwamba abaali babawambye, \q2 bafuge abo abaabakijjanyanga. \p \v 3 Awo olunaku \nd Mukama\nd* Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, \v 4 oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: \q1 Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! \q2 Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo! \q1 \v 5 \nd Mukama\nd* Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi, \q2 omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga. \q1 \v 6 Ogwakubanga olutata \q2 amawanga n’obusungu, \q1 ogwafugisanga amawanga ekiruyi, \q2 ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza. \q1 \v 7 Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, \q2 era batandise okuyimba. \q1 \v 8 Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni, \q2 nagyo gikuyeeyeereza nti, \q1 “Kasookanga ogwa \q2 tebangayo ajja kututema.” \b \q1 \v 9 Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo \q2 okukusisinkana ng’ojja, \q1 gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, \q2 bonna abaali abakulembeze b’ensi; \q1 gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, \q2 bonna abaali bakabaka baamawanga. \q1 \v 10 Abo bonna balyogera \q2 ne bakugamba nti, \q1 “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! \q2 Naawe ofuuse nga ffe!” \q1 \v 11 Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, \q2 awamu n’amaloboozi g’ennanga zo; \q1 bakwalidde envunyu, \q2 n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko. \b \q1 \v 12 Ng’ogudde okuva mu ggulu, \q2 ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! \q1 Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, \q2 ggwe eyamegganga amawanga! \q1 \v 13 Wayogera mu mutima gwo nti, \q2 “Ndirinnya mu ggulu, \q1 ndigulumiza entebe yange \q2 okusinga emunyeenye za Katonda; \q1 era nditeeka entebe yange waggulu ntuule \q2 ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono; \q1 \v 14 ndyambuka okusinga ebire we bikoma, \q2 ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.” \q1 \v 15 Naye ossibbwa wansi emagombe, \q2 ku ntobo y’obunnya. \b \q1 \v 16 Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga \q2 bakwewuunye nga bagamba nti, \q1 “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, \q2 ng’anyeenyanyeenya obwakabaka! \q1 \v 17 Eyafuula ensi okuba eddungu \q2 n’asuula ebibuga byayo, \q2 atakkirizanga bawambe kudda waabwe!” \b \q1 \v 18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa, \q2 buli omu mu ntaana ye, \q1 \v 19 naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go \q2 ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa, \q1 ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala, \q2 abakka eri amayinja g’obunnya; \q2 ng’omulambo ogulinyiriddwa. \q1 \v 20 Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa \q2 kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo; \q1 ezzadde ly’abo abaakola ebibi \q2 teriryongerwako n’akatono. \q1 \v 21 Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa \q2 olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe, \q1 baleme okugolokoka ne balya ensi, \q2 ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe. \b \q1 \v 22 “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q2 “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, \q1 n’omwana n’omuzzukulu,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 23 “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu, \q2 n’entobazzi \q1 era mwere n’olweyo oluzikiriza,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. \s1 Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli \p \v 24 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, \q1 “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo \q1 era nga bwe nateesa, \q2 bwe kirinywera bwe kityo. \q1 \v 25 Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, \q2 era ndimulinnyirira ku nsozi zange. \q1 Ekikoligo kye kiribavaako, \q2 n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.” \b \q1 \v 26 Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna: \q2 era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. \q1 \v 27 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? \q2 Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo? \s1 Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti \p \v 28 Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno. \q1 \v 29 Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, \q2 kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, \q1 ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera, \q2 n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka. \q1 \v 30 Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, \q2 n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo \q1 naye ekikolo kyo ndikittisa enjala \q2 ate abo abalisigalawo mbattise ekitala. \b \q1 \v 31 Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, \q2 osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna! \q1 Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, \q2 eggye ery’abalwanyi omutali munafu. \q1 \v 32 Kale kiki kye banaddamu \q2 ababaka b’eggwanga eryo? \q1 “\nd Mukama\nd* yassaawo Sayuuni, \q2 ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.” \c 15 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu \q1 \v 1 Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa \q2 ne kimalibwawo. \q1 Kiiri\f + \fr 15:1 \fr*\ft Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu.\ft*\f* ekya Mowaabu nakyo \q2 ne kizikirizibwa mu kiro! \q1 \v 2 Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi \q2 okukaabira mu ssabo lyabwe. \q2 Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. \q1 Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri \q2 na buli kirevu kyonna kimwereddwa. \q1 \v 3 Beesibye ebibukutu mu nguudo; \q2 ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba. \q1 Buli muntu atema emiranga \q2 n’abikaabira amaziga amayitirivu. \q1 \v 4 Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, \q2 n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. \q1 Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, \q2 emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu. \b \q1 \v 5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu; \q2 abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali \q2 ne Yegulasuserisiya. \q1 Bambuka e Lakisi \q2 nga bwe bakaaba; \q1 bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu \q2 nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe. \q1 \v 6 Amazzi g’e Nimulimu gakalidde, \q2 omuddo guwotose, \q1 omuddo omugonvu, guggwaawo, \q2 tewali kintu kimera. \q1 \v 7 Abantu basomoka akagga ak’enzingu \q2 nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka. \q1 \v 8 Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu; \q2 amaloboozi gatuuse e Yegalayimu, \q2 n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu. \q1 \v 9 Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi, \q2 naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; \q1 empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, \q2 ne ku abo abalisigalawo ku nsi. \c 16 \q1 \v 1 “Muweereze abaana b’endiga \q2 eri oyo afuga ensi, \q1 okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, \q2 okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni. \q1 \v 2 Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu \q2 n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, \q1 bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu \q2 awasomokerwa Alunooni.\f + \fr 16:2 \fr*\fq Alunooni \fq*\ft mugga mukulu mu Mowaabu; guli nsalo ey’obukiikakkono\ft*\f* \b \q1 \v 3 “Tuwe ku magezi, \q2 tubuulire, tukole tutya? \q1 Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze \q2 wakati mu ttuntu, \q1 Abajja bagobebwa mubakweke, \q2 abajja badaaga temubalyamu lukwe. \q1 \v 4 Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. \q2 Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” \b \q1 Omujoozi bw’aweddewo, \q2 n’okubetentebwa ne kuggwaawo; \q2 omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi. \q1 \v 5 Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, \q2 era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi \q2 alamula mu bwesigwa \q1 era anoonya obwenkanya \q2 era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu. \b \q1 \v 6 Tuwulidde amalala ga Mowaabu, \q2 nga bw’ajjudde okwemanya, \q1 n’amalala ge n’okuvuma; \q2 naye okwemanya kwe tekugasa. \q1 \v 7 Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, \q2 leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. \q1 Mukungubage, \q2 musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi. \q1 \v 8 Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, \q2 n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. \q1 Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala \q2 emiti gyabwe egyasinganga obulungi, \q1 egyabunanga ne gituuka e Yazeri \q2 nga giggukira mu ddungu \q1 n’emitunsi nga gibuna \q2 nga gituukira ddala mu nnyanja. \q1 \v 9 Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba \q2 olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma. \q1 Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange, \q2 ggwe Kesuboni ne Ereyale: \q1 kubanga essanyu ery’ebibala byo \q2 n’ebyokukungula byo lizikiziddwa. \q1 \v 10 Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala; \q2 ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana; \q1 mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo; \q2 okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye. \q1 \v 11 Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, \q2 emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi. \q1 \v 12 Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu, \q2 alyekooya yekka; \q1 bw’aligenda okusamira, \q2 tekirimuyamba. \p \v 13 Ekyo kye kigambo \nd Mukama\nd* kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. \v 14 Naye kaakano \nd Mukama\nd* Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.” \c 17 \s1 Obubaka Obukwata ku Ddamasiko \q1 \v 1 “Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, \q2 kifuuse matongo. \q1 \v 2 Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: \q2 birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga \q2 nga tewali azikanga. \q1 \v 3 Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, \q2 n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; \q1 naye abalisigalawo mu Busuuli, \q2 baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. \b \q1 \v 4 “Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; \q2 era akoggere ddala. \q1 \v 5 Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, \q2 n’omukono gwe ne gukungula empeke; \q1 weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano \q2 mu Kiwonvu kya Lefayimu. \q1 \v 6 Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa \q2 ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, \q1 ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, \q2 bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*, Katonda wa Isirayiri. \b \q1 \v 7 Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, \q2 n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri. \q1 \v 8 So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, \q2 emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera, \q1 oba empagi za katonda wa Baasera \q2 oba ebyoto kwe bootereza obubaane. \p \v 9 Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo. \q1 \v 10 Weerabidde Katonda Omulokozi wo, \q2 so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; \q1 kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa \q2 n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru. \q1 \v 11 Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, \q2 era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, \q1 tolibaako ky’okungula \q2 wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo. \b \q1 \v 12 Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi, \q2 bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse! \q1 Okuwuluguma kw’abantu, \q2 bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi! \q1 \v 13 Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, \q2 \nd Mukama\nd* bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. \q1 Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; \q2 era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya. \q1 \v 14 Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. \q2 Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. \q1 Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, \q2 era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe. \c 18 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Kuusi \q1 \v 1 Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya, \q2 eri emitala w’emigga gya Kuusi,\f + \fr 18:1 \fr*\ft Mu biro bya Isaaya, waaliwo bafalaawo aba Esiyopya abaafuganga Misiri. Abo be baanoonya okubeerwa okuva eri Abapalesitayini, balwanyise Bwasuli\ft*\f* \q1 \v 2 etuma ababaka ne bagendera mu maato \q2 ag’ebitoogo ku nnyanja. \b \q1 Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, \q2 eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, \q1 eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, \q2 ensi eyawulwamu emigga. \b \q1 \v 3 Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, \q2 mmwe ababeera ku nsi, \q1 bendera lweriwanikibwa ku nsozi, \q2 muligiraba, \q1 era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, \q2 muliriwulira. \q1 \v 4 Kubanga bw’atyo \nd Mukama\nd* bw’aŋŋambye nti, \q2 “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, \q1 ng’olubugumu olutemagana mu musana, \q2 ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.” \q1 \v 5 Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, \q2 okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, \q1 aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, \q2 n’amatabi agalanda aligasalira. \q1 \v 6 Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu \q2 n’ensolo ez’ensi. \q1 Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya, \q2 n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu. \p \v 7 Mu kiseera ekyo \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, \q1 ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, \q2 abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, \q1 ensi ey’eryanyi, \q2 eyawulwamu emigga, \m ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna. \c 19 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Misiri \p \v 1 Obunnabbi obukwata ku Misiri: \q1 Laba, \nd Mukama\nd* yeebagadde ku kire ekidduka ennyo \q2 ajja mu Misiri. \q1 Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge, \q2 n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo. \b \q1 \v 2 Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri, \q2 balwane buli muntu ne muganda we, \q2 na buli muntu ne muliraanwa we; \q2 ekibuga n’ekibuga, \q2 obwakabaka n’obwakabaka. \q1 \v 3 Abamisiri baliggwaamu omwoyo \q2 era entegeka zaabwe zonna ndizitta; \q1 era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize, \q2 n’abaliko emizimu n’abalogo. \q1 \v 4 Era ndigabula Abamisiri \q2 mu mukono gw’omufuzi omukambwe, \q1 era kabaka ow’entiisa alibafuga,\f + \fr 19:4 \fr*\ft Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri\ft*\f* \q2 bw’ayogera Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. \b \q1 \v 5 Omugga gulikalira \q2 n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika. \q1 \v 6 N’emikutu giriwunya ekivundu, \q2 n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale; \q1 ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke. \q1 \v 7 Ebimera ebiri ku Kiyira, \q2 ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, \q1 ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira, \q2 birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala. \q1 \v 8 Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga, \q2 n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira \q1 balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi. \q1 \v 9 Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa, \q2 n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe. \q1 \v 10 Abakozi balikwatibwa ennaku, \q2 bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo. \q1 \v 11 Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala, \q2 n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. \q1 Mugamba mutya Falaawo nti, \q2 “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”? \q1 \v 12 Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa? \q2 Leka bakubuulire bakutegeeze \q1 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 ky’ategese okutuusa ku Misiri. \q1 \v 13 Abakungu ab’e Zowani basiriwadde, \q2 abakungu ab’e Noofu balimbiddwa, \q1 abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga \q2 bakyamizza Misiri. \q1 \v 14 \nd Mukama\nd* abataddemu \q2 omwoyo omubambaavu \q1 era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola, \q2 ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye. \q1 \v 15 Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa, \q2 agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola. \p \v 16 Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. \v 17 N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo. \p \v 18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. \v 19 Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya \nd Mukama\nd* wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya \nd Mukama\nd* Katonda kiteekebwe ku nsalo. \v 20 Kaliba kabonero era bujulizi eri \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola \nd Mukama\nd* nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. \v 21 Noolwekyo \nd Mukama\nd* alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya \nd Mukama\nd* era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri \nd Mukama\nd* ne babutuukiriza. \v 22 Era \nd Mukama\nd* alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya. \p \v 23 Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. \v 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. \v 25 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.” \c 20 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi \p \v 1 Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; \v 2 mu kiseera ekyo \nd Mukama\nd* Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu. \p \v 3 \nd Mukama\nd* Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; \v 4 bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. \v 5 Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. \v 6 Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ” \c 21 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Babulooni \p \v 1 Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja: \q1 Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo, \q2 bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu \q2 eririraanye ensi etiisa. \b \q1 \v 2 Nfunye okwolesebwa okw’entiisa: \q2 alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga. \q1 Eramu, lumba! Obumeedi zingiza! \q2 Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta. \b \q1 \v 3 Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa, \q2 n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala; \q1 nnyiize olw’ebyo bye mpulira, \q2 bye ndaba bimazeemu amaanyi. \q1 \v 4 Omutima gwange gutya, \q2 Entiisa endetera okukankana; \q1 Akasendabazaana ke nnali njayaanira, \q2 kanfukidde ekikankano. \b \q1 \v 5 Bateekateeka olujjuliro, \q2 bayalirira ebiwempe, \q2 ne balya, ne banywa! \q1 Mugolokoke mmwe abakulembeze, \q2 musiige engabo amafuta. \p \v 6 Kino Mukama ky’aŋŋamba nti, \q1 “Genda ofune omukuumi \q2 akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba. \q1 \v 7 Bw’alaba amagaali \q2 n’ebibinja by’embalaasi, \q1 n’abeebagazi ku ndogoyi \q2 oba abeebagazi ku ŋŋamira \q1 yeekuume, \q2 era yeegendereze.” \p \v 8 Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, \q1 “Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala, \q2 buli kiro mbeera ku mulimu gwange. \q1 \v 9 Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali, \q2 ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi. \q1 Era ayanukula bw’ati nti, \q2 ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde. \q1 Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna \q2 bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ” \b \q1 \v 10 Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro, \q2 mbategeeza kyempulidde okuva eri \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri. \s1 Obunnabbi Obukwata ku Edomu \p \v 11 Obunnabbi obukwata ku Duuma: \q1 Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti, \q2 “Omukuumi, bunaakya ddi? \q2 Omukuumi, bunaakya ddi?” \q1 \v 12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti, \q2 “Bulikya, era buliziba. \q1 Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze \q2 okomewo nate.” \s1 Obunnabbi Obukwata ku Buwalabu \p \v 13 Obunnabbi obukwata ku Buwalabu: \q1 Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja, \q2 abasiisira mu bisaka bya Buwalabu, \q2 \v 14 muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere. \q1 \v 15 Badduka ekitala, \q2 badduka ekitala ekisowole, \q1 badduka omutego ogunaanuddwa, \q2 badduka n’akabi k’entalo. \p \v 16 Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. \v 17 Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri ayogedde. \c 22 \s1 Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi \p \v 1 Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa: \q1 Kiki ekikutawanya kaakano, \q2 n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya, \q1 \v 2 ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, \q2 ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu? \q1 Abantu bo abattibwa, \q2 tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo. \q1 \v 3 Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; \q2 bawambiddwa awatali kulwana. \q1 Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, \q2 kubanga badduka. \q1 \v 4 Kyenava njogera nti, “Munveeko, \q2 mundeke nkaabire ddala nnyo. \q1 Temugezaako kunsaasira \q2 olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.” \b \q1 \v 5 Mukama, \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alina olunaku \q2 olw’akatabanguko, \q2 olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa; \q1 olunaku olw’okumenya bbugwe, \q2 n’okukaabirira ensozi. \q1 \v 6 Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale, \q2 n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi, \q2 Kiri\f + \fr 22:6 \fr*\fq Kiri \fq*\ft Kifo ekisangibwa mu Bwasuli\ft*\f* asabuukulula engabo. \q1 \v 7 Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, \q2 n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki. \b \q1 \v 8 Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo. \q2 Ku lunaku olwo watunuulira \q2 ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira. \q1 \v 9 Walaba amabanga agaali mu kwerinda \q2 kw’Ekibuga kya Dawudi, \q1 wakuŋŋaanya amazzi \q2 mu Kidiba eky’Emmanga. \q1 \v 10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi \q2 n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe. \q1 \v 11 Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri, \q2 n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde, \q1 naye tewatunuulira Oyo eyakisima, \q2 wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda. \b \q1 \v 12 Ku lunaku olwo \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe, \q1 n’okwemwako enviiri \q2 n’okwambala ebibukutu. \q1 \v 13 Naye laba, ssanyu na kujaguza, \q2 okubaaga ente n’okutta endiga, \q2 okulya ennyama n’okunywa envinnyo. \q1 Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe \q2 kubanga enkya tunaafa.” \p \v 14 \nd Mukama\nd* ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. \p \v 15 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye nti, \q1 “Genda eri omuwanika oyo, \q2 eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti, \q1 \v 16 Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa \q2 okwetemera entaana wano, \q1 n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, \q2 ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu? \b \q1 \v 17 “Weegendereze \nd Mukama\nd* Katonda anaatera okukuvumbagira, \q2 akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi. \q1 \v 18 Alikuzingazingako, \q2 n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. \q1 Eyo gy’olifiira, \q2 era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala, \q2 ggwe ensonyi ez’ennyumba ya \nd Mukama\nd* wo. \q1 \v 19 Ndikuggya ku ntebe yo, \q2 era oliggyibwa mu kifo kyo. \p \v 20 “Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. \v 21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. \v 22 Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. \v 23 Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. \v 24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.” \p \v 25 Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” \nd Mukama\nd* ayogedde. \c 23 \s1 Obunnabbi Obukwata ku Tuulo \p \v 1 Obunnabbi obukwata ku Tuulo: \q1 Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi, \q2 kubanga Tuulo kizikirizibbwa \q2 ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. \q1 Ekigambo kyababikulirwa \q2 okuva mu nsi ya Kittimu. \b \q1 \v 2 Musirike mmwe ab’oku kizinga \q2 nammwe abasuubuzi b’e Sidoni \q2 abagaggawalidde ku nnyanja. \q1 \v 3 Ku nnyanja ennene \q2 kwajjirako ensigo za Sikoli, \q1 n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo, \q2 era yafuuka akatale k’amawanga. \b \q1 \v 4 Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja, \q2 kubanga ennyanja eyogedde nti: \q1 “Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. \q2 Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.” \q1 \v 5 Ekigambo bwe kirijja eri Misiri, \q2 balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo. \b \q1 \v 6 Muwunguke mugende e Talusiisi, \q2 mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga. \q1 \v 7 Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu, \q2 ekibuga ekikadde, \q1 ekyagenda okusenga \q2 mu nsi eyeewala? \q1 \v 8 Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, \q2 Tuulo ekitikkira engule, \q1 ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, \q2 ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi? \q1 \v 9 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye yakiteekateeka, \q2 amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna, \q2 akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi. \b \q1 \v 10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira, \q2 tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi. \q1 \v 11 \nd Mukama\nd* Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, \q2 n’akankanya obwakabaka bwayo. \q1 Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani \q2 nti ebigo byakyo birizikirizibwa. \q1 \v 12 Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, \q2 ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. \q1 Yambuka osomoke ogende e Kittimu, \q2 naye nayo tolifunirayo kuwummula.” \b \q1 \v 13 Laba ensi ey’Abakaludaaya \q2 abantu abo abatakyaliwo. \q1 Omwasuli agifudde \q2 ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu. \q1 Baayimusa eminaala gyabwe, \q2 ne bamenya ebigo byabwe, \q2 era n’abazikiriza. \b \q1 \v 14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi, \q2 ekigo kyo kizikiriziddwa. \p \v 15 Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi. \q1 \v 16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga, \q2 ggwe omwenzi eyeerabiddwa. \q1 Ennanga gikube bulungi, \q2 oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.” \p \v 17 Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, \nd Mukama\nd* alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. \v 18 Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya \nd Mukama\nd*, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga \nd Mukama\nd*, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi. \c 24 \s1 \nd Mukama\nd* Ayogera ku Kuzikiriza Ensi \q1 \v 1 Laba \nd Mukama\nd* alifuula ensi amatongo, \q2 agimalirewo ddala, \q1 era azikirize n’obwenyi bwayo \q2 era asaasaanye n’abagibeeramu. \q1 \v 2 Bwe kityo bwe kiriba, \q2 ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, \q2 ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, \q2 ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, \q2 ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, \q2 ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, \q2 ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa. \q1 \v 3 Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa, \q2 n’okunyagibwa, erinyagibwa. \q1 \nd Mukama\nd* Katonda y’akyogedde. \b \q1 \v 4 Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, \q2 ensi ekala n’ewuubaala, \q2 abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi. \q1 \v 5 Ensi eyonooneddwa abantu baayo, \q2 bajeemedde amateeka, \q1 bamenye ebiragiro, \q2 ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe. \q1 \v 6 Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; \q2 n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. \q1 Abatuuze b’ensi bayidde, \q2 Era abatono be basigaddewo. \q1 \v 7 Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, \q2 ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi. \q1 \v 8 Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, \q2 n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, \q2 entongooli esanyusa esirise. \q1 \v 9 Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba, \q2 n’omwenge gukaayira abagunywa. \q1 \v 10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, \q2 na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa. \q1 \v 11 Bakaabira envinnyo mu nguudo, \q2 n’essanyu lyonna liweddewo, \q2 n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi. \q1 \v 12 Ekibuga kizikiridde \q2 wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa. \q1 \v 13 Bwe kityo bwe kiriba ku nsi \q2 ne mu mawanga \q1 ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa \q2 oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu. \b \q1 \v 14 Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, \q2 batendereza ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* Katonda okuva mu bugwanjuba. \q1 \v 15 Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize \nd Mukama\nd*, \q2 mutendereze erinnya lya \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri, \q2 mu bizinga eby’ennyanja. \q1 \v 16 Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, \q2 “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” \b \q1 Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. \q2 Zinsaze. \q1 Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, \q2 Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.” \q1 \v 17 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, \q2 mmwe abantu b’ensi. \q1 \v 18 Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, \q2 aligwa mu kinnya, \q1 na buli alirinnya n’ava mu kinnya \q2 alikwatibwa mu mutego. \b \q1 Enzigi z’eggulu ziguddwawo, \q2 N’emisingi gy’ensi gikankana. \q1 \v 19 Ensi emenyeddwamenyeddwa, \q2 ensi eyawuliddwamu, \q2 ensi ekankanira ddala. \q1 \v 20 Ensi etagala ng’omutamiivu, \q2 eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, \q1 omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, \q2 era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka. \b \q1 \v 21 Ku lunaku olwo \nd Mukama\nd* Katonda alibonereza \q2 ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, \q2 ne bakabaka abali wansi ku nsi. \q1 \v 22 Balikuŋŋaanyirizibwa wamu \q2 ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, \q1 era baliweebwa ekibonerezo \q2 eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi. \q1 \v 23 Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; \q2 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa \q1 ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, \q2 ne mu maaso g’abakadde. \c 25 \q1 \v 1 Ggwe, Ayi \nd Mukama\nd*, gwe Katonda wange; \q2 ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, \q1 kubanga okoze ebintu eby’ettendo, \q2 ebintu bye wateekateeka edda, \q2 mu bwesigwa bwo. \q1 \v 2 Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, \q2 ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, \q1 ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, \q2 tekirizimbibwa nate. \q1 \v 3 Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa \q2 n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya. \q1 \v 4 Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, \q2 ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, \q1 ekiddukiro ng’eriyo embuyaga \q2 n’ekisiikirize awali ebbugumu. \q1 Omukka gw’ab’entiisa \q2 guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge \q2 \v 5 era ng’ebbugumu ery’omu ddungu. \q1 Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga, \q2 era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu, \q2 n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa. \b \q1 \v 6 Ku lusozi luno \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako \q2 abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi, \q1 n’embaga eya wayini omuka \q2 n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi. \q1 \v 7 Ku lusozi luno alizikiriza \q2 ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, \q1 n’eggigi eribikka amawanga gonna, \q2 \v 8 era alimalirawo ddala okufa. \q1 \nd Mukama\nd* Katonda alisangula amaziga \q2 mu maaso gonna, \q1 era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be \q2 mu nsi yonna. \q1 \nd Mukama\nd* ayogedde. \p \v 9 Mu biro ebyo balyogera nti, \q1 “Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; \q2 twamwesiga n’atulokola. \q1 Ono ye \nd Mukama\nd* Katonda twamwesiga; \q2 tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.” \b \q1 \v 10 Ddala omukono gwa \nd Mukama\nd* Katonda guliwummulira ku lusozi luno, \q2 naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, \q2 ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa. \q1 \v 11 Aligolola emikono gye, \q2 ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga. \q1 Katonda alikkakkanya amalala ge \q2 newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi. \q1 \v 12 Alimenya bbugwe omuwanvu, \q2 n’amusuula, \q1 alimusuula ku ttaka, \q2 mu nfuufu. \c 26 \s1 Oluyimba olw’Okutendereza \p \v 1 Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. \q1 Tulina ekibuga eky’amaanyi; \q2 Katonda assaawo obulokozi \q2 okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo. \q1 \v 2 Ggulawo wankaaki, \q2 eggwanga ettukuvu liyingire, \q2 eggwanga erikuuma okukkiriza. \q1 \v 3 \nd Mukama\nd* alikuuma mirembe \q2 oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe. \q1 \v 4 Weesigenga \nd Mukama\nd* ennaku zonna, \q2 kubanga emirembe giri waggulu mu \nd Mukama\nd*, \nd Mukama\nd* Katonda oyo atoowaza. \q1 \v 5 \nd Mukama\nd* lwe lwazi olutaggwaawo, \q2 akkakkanya ekibuga eky’amalala, \q1 akissa wansi ku ttaka, \q2 n’akisuula mu nfuufu. \q1 \v 6 Kirinnyirirwa \q2 ebigere by’abanyigirizibwa, \q2 n’ebisinde by’abaavu. \b \q1 \v 7 Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu; \q2 Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu. \q1 \v 8 Weewaawo \nd Mukama\nd* Katonda tukulindirira \q2 nga tutambulira mu mateeka go, \q1 era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo \q2 kwe kwegomba kw’emitima gyaffe. \q1 \v 9 Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, \q2 omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. \q1 Bw’osalira ensi omusango, \q2 abantu b’ensi bayiga obutuukirivu. \q1 \v 10 Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, \q2 tayiga butuukirivu. \q1 Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, \q2 yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 11 \nd Mukama\nd* Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, \q2 naye tebagulaba. \q1 Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, \q2 omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo. \q1 \v 12 \nd Mukama\nd* Katonda, otuteekerateekera emirembe, \q2 n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde. \q1 \v 13 Ayi \nd Mukama\nd* Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa. \q1 \v 14 Baafa, tebakyali balamu; \q2 egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. \q1 Wababonereza n’obazikiriza, \q2 wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira. \q1 \v 15 Ogaziyizza eggwanga, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda \q2 ogaziyizza eggwanga. \q1 Weefunidde ekitiibwa, \q2 era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi. \b \q1 \v 16 \nd Mukama\nd* Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe, \q2 bwe wabakangavvula, \q2 tebaasobola na kukusaba mu kaama. \q1 \v 17 Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala, \q2 bw’alumwa n’akaaba mu bulumi, \q2 bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 18 Twali lubuto, twalumwa, \q2 naye twazaala mpewo \q1 Tetwaleeta bulokozi ku nsi, \q2 tetwazaala bantu ba nsi. \b \q1 \v 19 Naye abafiira mu ggwe balirama, \q2 emibiri gyabwe girizuukira. \q1 Mugolokoke, \q2 muleekaane olw’essanyu. \q1 Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya, \q2 ensi erizaala abafudde. \b \q1 \v 20 Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe \q2 muggalewo enzigi zammwe. \q1 Mwekweke okumala akabanga katono, \q2 okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako. \q1 \v 21 Weewaawo laba \nd Mukama\nd* Katonda ava mu kifo kye gy’abeera \q2 okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe. \q1 Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, \q2 era teriddayo nate kukweka abattibwa. \c 27 \s1 Okununulibwa kwa Isirayiri \p \v 1 Mu biro ebyo, \q1 \nd Mukama\nd* Katonda alibonereza n’ekitala kye, \q2 ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene, \q1 alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, \q2 Lukwata omusota ogwezinga, \q1 atte n’ogusota gw’ennyanja. \p \v 2 Mu biro ebyo \q1 “Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala. \q2 \v 3 Nze \nd Mukama\nd* Katonda, ennimiro nze ngirabirira \q2 era nze ngifukirira buli kiseera. \q1 Ngikuuma emisana n’ekiro \q2 Waleme kubaawo n’omu agikola akabi. \q2 \v 4 Siri munyiivu. \q1 Singa katazamiti n’amaggwa binnumba, \q2 nandibitabadde mu lutalo? \q2 Byonna nandibyokezza omuliro. \q1 \v 5 Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane, \q2 weewaawo tutabagane.” \q1 \v 6 Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, \q2 Isirayiri aliroka n’amulisa \q2 n’ajjuza ensi yonna ebibala. \b \q1 \v 7 \nd Mukama\nd* amukubye omuggo \q2 ng’akuba abo abaamukuba? \q1 Attiddwa \q2 nga be yatta, bwe battibwa? \q1 \v 8 Olwanagana naye n’omusobola, \q2 n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi, \q2 ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo. \q1 \v 9 Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo, \q2 era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye. \q1 Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni \q2 agayasiddwayasiddwa, \q1 tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane \q2 ebirisigala biyimiridde. \q1 \v 10 Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo, \q2 ekirekeddwa awo ng’eddungu. \q1 Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira, \q2 n’erya amalagala gonna ku matabi gaago. \q1 \v 11 Amatabi gaakyo bwe gakala, \q2 gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro. \q1 Bano bantu abatategeera, \q2 eyamukola tamusaasira, \q2 n’eyamutonda tamukwatirwa kisa. \p \v 12 Mu biro ebyo \nd Mukama\nd* alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. \v 13 Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza \nd Mukama\nd* ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi. \c 28 \s1 Zikusanze Efulayimu \q1 \v 1 Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu, \q2 zikusanze ekimuli ekiwotoka\f + \fr 28:1 \fr*\ft Ekimuli ekiwotoka, ye Samaliya.\ft*\f* eky’obulungi bw’ekitiibwa kye, \q1 ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu, \q2 Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu. \q1 \v 2 Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala, \q2 ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza, \q1 ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba, \q2 bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi. \q1 \v 3 Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu \q2 aligibetenta n’ebigere bye. \q1 \v 4 Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye \q2 ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu, \q1 kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka, \q2 era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya. \b \q1 \v 5 Mu biro ebyo \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 aliba ngule ya kitiibwa, \q1 engule ennungi \q2 ey’abantu be abaasigalawo. \q1 \v 6 Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya \q2 oyo atuula n’asala emisango, \q1 Aliba nsibuko ya maanyi \q2 eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki. \b \q1 \v 7 Ne bano nabo batagala olw’omwenge, \q2 era bawabye olw’ekitamiiza; \q1 Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza, \q2 era bawabye olw’omwenge; \q1 bawabye olw’ekitamiiza, \q2 batagala ne bava mu kwolesebwa, \q2 era tebasalawo nsonga. \q1 \v 8 Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye, \q2 tewakyali kifo kiyonjo. \b \q1 \v 9 “Ani gw’agezaako okuyigiriza? \q2 Ani gw’annyonnyola obubaka bwe? \q1 Abaana abaakalekayo okuyonka \q2 oba abo abaakaggibwa ku mabeere? \q1 \v 10 Kubanga kola okole, kola okole \q2 Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, \q2 Wano katono na wali katono.” \q1 \v 11 Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo \q2 n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira, \q1 \v 12 abo be yagamba nti, \q2 Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye, \q1 era kye kifo eky’okuwerera \q2 naye ne bagaana okuwuliriza. \q1 \v 13 Noolwekyo ekigambo kya \nd Mukama\nd* kyekiriva kibeera gye bali \q2 kola okole, kola okole, \q2 ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, \q2 wano katono na wali katono, \q1 balyoke bagende bagwe kya bugazi, \q2 era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa. \b \q1 \v 14 Noolwekyo muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda mmwe abantu abanyoomi, \q2 mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma. \q1 \v 15 Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.” \p \v 16 \nd Mukama\nd* Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti, \q1 “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja, \q2 ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda, \q1 ery’omuwendo, okuba omusingi; \q2 oyo alyesiga taliterebuka. \q1 \v 17 Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, \q2 n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, \q1 era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, \q2 n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu. \q1 \v 18 N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka, \q2 n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera. \q1 Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja, \q2 kiribagwira. \q1 \v 19 Weewaawo buli lwe kinaayitanga, \q2 kinaabagwiranga \q2 buli lukya emisana n’ekiro.” \b \q1 Era okutegeera obubaka buno \q2 kirireeta ntiisa njereere. \q1 \v 20 Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako, \q2 ne bulangiti nnyimpi okwebikka. \q1 \v 21 Weewaawo \nd Mukama\nd* aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu, \q2 era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni, \q1 alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa, \q2 atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa. \q1 \v 22 Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera. \q1 Nawulira okuva eri \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye \q2 ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna. \b \q1 \v 23 Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange; \q2 Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba. \q1 \v 24 Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata? \q2 Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka? \q1 \v 25 Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino? \q2 Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo, \q1 ne sayiri mu kibanja kyayo, \q2 n’omukyere mu nnimiro yaagwo? \q1 \v 26 Katonda we amuwa ebiragiro, \q2 n’amuyigiriza ekkubo etuufu. \b \q1 \v 27 Empinnamuti teziwuulibwa na luso, \q2 newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali. \q1 Empinnamuti zikubibwa na muggo \q2 ne kumino n’ekubibwa n’oluga. \q1 \v 28 Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati, \q2 So n’omuntu tagiwuula butamala. \q1 Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula, \q2 Embalaasi ze si zeezigisa. \q1 \v 29 Bino byonna nabyo biva eri \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye, \q2 ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo, \q2 asinga amagezi. \c 29 \s1 Zikusanze Ekibuga kya Dawudi \q1 \v 1 Zikusanze ggwe Alyeri\f + \fr 29:1 \fr*\fq Alyeri \fq*\ft lye linnya eryaweebwa Yerusaalemi.\ft*\f*, \q2 Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu, \q1 yongera omwaka ku mwaka, \q2 n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso. \q1 \v 2 Wabula ndizingiza Alyeri, \q2 alikuba ebiwoobe era alikungubaga, \q2 era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri. \q1 \v 3 Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna, \q2 era ndikwetoolooza eminaala, \q2 ne nkusaako ebifunvu. \q1 \v 4 Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka, \q2 n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu. \q1 Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka, \q2 n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu. \b \q1 \v 5 Naye abalabe bo abangi \q2 baliba ng’enfuufu eweweddwa, \q1 n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi \q2 bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka. \q1 \v 6 Amangwago mu kaseera katono \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye alikukyalira \q2 mu kubwatuuka ne mu musisi, \q1 ne mu ddoboozi ery’omwanguka, \q2 ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza. \q1 \v 7 Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba, \q2 birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza; \q1 kiriba ng’ekirooto, \q2 ng’okwolesebwa mu kiro \q1 \v 8 ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya \q2 naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala; \q1 oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa \q2 naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta. \q1 Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna \q2 agalwana n’Olusozi Sayuuni. \b \q1 \v 9 Muwuniikirire era mwewuunye \q2 Muzibirire era muzibe amaaso; \q1 Batamiire, naye si na nvinnyo, \q2 batagala, naye si lwa mwenge. \q1 \v 10 \nd Mukama\nd* akuwadde otulo tungi, \q2 azibye amaaso gammwe bannabbi, \q2 era abisse emitwe gyammwe abalabi. \p \v 11 Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” \v 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.” \p \v 13 Mukama agamba nti, \q1 “Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe, \q2 ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe, \q2 naye ng’emitima gyabwe gindi wala. \q1 Okunsinza kwe bansinza, \q2 biragiro abantu bye baayigiriza. \q1 \v 14 Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano. \q2 Amagezi g’abagezi galizikirira, \q1 n’okutegeera kw’abategeevu \q2 kuliggwaawo.” \q1 \v 15 Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola \q2 okukweka \nd Mukama\nd* enteekateeka zaabwe, \q1 abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti, \q2 “Ani atulaba? Ani alimanya?” \q1 \v 16 Mufuula ebintu \q2 ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba. \q1 Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, \q2 “Teyankola”? \q1 Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, \q2 “Talina ky’amanyi”? \b \q1 \v 17 Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu, \q2 n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira? \q1 \v 18 Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo, \q2 n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza. \q1 \v 19 Abawombeefu balisanyukira mu \nd Mukama\nd* nate, \q2 n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri. \q1 \v 20 Weewaawo asinga obubi aliggwaawo, \q2 n’omunyoomi alibula, \q2 n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu, \q1 \v 21 abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, \q2 abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba, \q2 ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako. \p \v 22 Noolwekyo \nd Mukama\nd* eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti, \q1 Yakobo taliddayo kuswazibwa, \q2 n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka. \q1 \v 23 Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe, \q2 balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu. \q1 Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo \q2 era baliyimirira \q2 ne beewuunya Katonda wa Isirayiri. \q1 \v 24 Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, \q2 n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa. \c 30 \s1 Zirisanze Eggwanga Ejjeemu \q1 \v 1 “Zibasanze abaana abajeemu, \q2 Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza \q1 ne batta omukago\f + \fr 30:1 \fr*\ft Kino kyogera ku kutta omukago ne Misiri\ft*\f* awatali Mwoyo wange \q2 ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 2 “Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako, \q2 ne banoonya obuyambi ewa Falaawo, \q1 n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri \q2 okuba obuddukiro. \q1 \v 3 Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa, \q2 n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza. \q1 \v 4 Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani \q2 n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi, \q1 \v 5 buli muntu aliswazibwa \q2 olw’eggwanga eritabagasa, \q1 abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso, \q2 okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \p \v 6 Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: \q1 Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku \q2 ne batawaanyizibwa \q1 mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi, \q2 erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa \q1 nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi, \q2 n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira \q1 nga boolekedde ensi etaliimu magoba. \q2 \v 7 Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono. \q1 Kyenva muyita Lakabu \q2 ataliiko kyayinza kukola. \b \q1 \v 8 Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande, \q2 okiwandiike ku mizingo, \q1 kibabeererenga obujulizi \q2 obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja. \q1 \v 9 Weewaawo bano bantu bajeemu, \q2 baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya \nd Mukama\nd*. \q1 \v 10 Bagamba abalabi nti, \q2 “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” \q1 N’eri bannabbi boogera nti, \q2 “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. \q1 Mututegeeze ebitusanyusa, \q2 mulagule ebituwabya. \q1 \v 11 Muve mu kkubo lino, \q2 mukyame muve ku luguudo luno, \q1 mulekeraawo okututegeeza \q2 ku Mutukuvu wa Isirayiri.” \p \v 12 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, \q1 “Olw’okugaana obubaka buno, \q2 ne mwesiga okunyigirizibwa, \q2 ne mwesiga omulimba, \q1 \v 13 ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, \q2 alimu enjatika era azimbye, \q2 okutemya n’okuzibula ng’agudde. \q1 \v 14 Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba, \q2 n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira, \q1 era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika \q2 okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto, \q2 oba okusenyesa amazzi mu kinnya.” \p \v 15 Weewaawo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti, \q1 “Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, \q2 mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe, \q2 naye temufuddeeyo. \q1 \v 16 Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’ \q2 Kyoliva odduka. \q1 Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’ \q2 Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde. \q1 \v 17 Abantu olukumi balidduka \q2 olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu; \q1 Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano, \q2 olidduka, \q1 Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi, \q2 ng’ebendera eri ku kasozi.” \b \q1 \v 18 Songa \nd Mukama\nd* ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli; \q2 era agolokoka okukulaga okusaasira. \q1 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda wa bwenkanya, \q2 balina omukisa bonna abamulindirira. \p \v 19 Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. \v 20 Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,\f + \fr 30:20 \fr*\ft keberako mu bitabo ebirala okwongera okunnyonnyolwa ebigambo ebyo\ft*\f* abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. \v 21 Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” \v 22 Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.” \p \v 23 Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. \v 24 Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. \v 25 Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. \v 26 Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, \nd Mukama\nd* bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa. \q1 \v 27 Laba, erinnya lya \nd Mukama\nd* liva wala \q2 n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire; \q1 emimwa gye gijjudde ekiruyi, \q2 n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo. \q1 \v 28 Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi \q2 agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago. \q1 Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa \q2 era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya. \q1 \v 29 Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu; \q1 omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere \q1 ku lusozi lwa \nd Mukama\nd*, ku lwazi lwa Isirayiri. \q1 \v 30 \nd Mukama\nd* aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa, \q2 alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira. \q1 \v 31 Weewaawo eddoboozi lya \nd Mukama\nd* lirisesebbula Bwasuli, \q2 alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka. \q1 \v 32 Buli muggo \nd Mukama\nd* gw’anakukubanga \q2 n’oluga lwe olubonereza, \q1 guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli, \q2 ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo. \q1 \v 33 Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka; \q2 ky’ateekebwateekebwa kabaka. \q1 Ekinnya kyakyo eky’omuliro \q2 kiwanvu era kigazi, \q1 kijjudde omuliro n’enku; \q2 omukka gwa \nd Mukama\nd* \q2 gugukoleeza ng’omugga gwa salufa. \c 31 \s1 Zibasanze abo Abeesiga Misiri \q1 \v 1 Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, \q2 abeesiga embalaasi, \q1 abeesiga amagaali gaabwe amangi, \q2 abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi \q1 ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri \q2 wadde okunoonya obuyambi bwa \nd Mukama\nd*. \q1 \v 2 Kyokka \nd Mukama\nd* mugezi era asobola okuleeta akabi; \q2 tajjulula bigambo bye. \q1 Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu, \q2 ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi. \q1 \v 3 Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda \q2 n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri. \q1 Katonda bw’agolola omukono gwe \q2 oyo ayamba, alyesittala, \q2 n’oyo ayambibwa aligwa \q2 era bombi balizikiririra wamu. \q1 \v 4 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* gye ndi nti, \q1 “Ng’empologoma bwe wuluguma, \q2 empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo \q1 era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba \q2 kiyitibwa awamu okugirumba, \q1 tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, \q2 newaakubadde oluyoogaano lwabwe. \q1 Bw’atyo ne \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta, \q2 okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo. \q1 \v 5 Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu, \q2 bw’atyo \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi; \q1 alikikuuma, n’akiwonya, \q2 alikiyitamu n’akirokola.” \p \v 6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. \v 7 Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola. \q1 \v 8 “Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu; \q2 ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo. \q1 Alidduka ekitala, \q2 n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze. \q1 \v 9 Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, \q2 n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” \q1 bw’ayogera \nd Mukama\nd* \q2 nannyini muliro oguli mu Sayuuni, \q2 era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi. \c 32 \s1 Obwakabaka obw’Obutuukirivu \q1 \v 1 Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu, \q2 n’abafuzi balifuga mu bwenkanya. \q1 \v 2 Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo, \q2 ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga, \q1 ng’emigga gy’amazzi mu ddungu, \q2 ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta. \b \q1 \v 3 Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba, \q2 n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza. \q1 \v 4 Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera, \q2 n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi. \q1 \v 5 Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, \q2 newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa. \q1 \v 6 Omusirusiru ayogera bya busirusiru, \q2 n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. \q1 Akola eby’obutatya Katonda, \q2 era ayogera bya bulimba ku \nd Mukama\nd*, \q1 n’abayala abaleka tebalina kintu, \q2 n’abalumwa ennyonta abamma amazzi. \q1 \v 7 Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu. \q1 \v 8 Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa, \q2 era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera. \q1 \v 9 Mmwe abakazi abateefiirayo, \q2 mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange; \q1 mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu, \q2 muwulire bye ŋŋamba. \q1 \v 10 Mu mwaka gumu oba n’okusingawo, \q2 mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya, \q1 amakungula g’emizabbibu galifa, \q2 n’amakungula g’ebibala tegalijja. \q1 \v 11 Mutye mmwe abakazi abateefiirayo, \q2 mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu. \q1 Muggyeko engoye zammwe, \q2 mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe. \q1 \v 12 Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa, \q2 olw’emizabbibu egyabalanga, \q1 \v 13 n’olw’ensi ey’abantu bange, \q2 ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti. \q1 Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu, \q2 na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu. \q1 \v 14 Weewaawo ekigo kirirekebwawo, \q2 ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa. \q1 Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna, \q2 ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo, \q1 \v 15 okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu, \q2 n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu, \q2 n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira. \q1 \v 16 Obwenkanya bulituula mu ddungu, \q2 n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu. \q1 \v 17 Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe, \q2 n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna. \q1 \v 18 Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe, \q2 mu maka amateefu \q2 mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa. \q1 \v 19 Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo, \q2 n’ekibuga ne kiggirwawo ddala, \q1 \v 20 ggwe oliraba omukisa, \q2 ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna, \q2 n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala. \c 33 \q1 \v 1 Zikusanze ggwe omuzikiriza \q2 ggwe atazikirizibwanga. \q1 Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala, \q2 ggwe, gwe batalyangamu lukwe, \q1 bw’olirekaraawo okuzikiriza, \q2 olizikirizibwa. \q1 Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe, \q2 balikulyamu olukwe. \b \q1 \v 2 Ayi \nd Mukama\nd* tusaasire, \q2 tukuyaayaanira. \q1 Obeere amaanyi gaffe buli makya, \q2 obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku. \q1 \v 3 Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka, \q2 bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana. \q1 \v 4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento, \q2 era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige. \b \q1 \v 5 \nd Mukama\nd* agulumizibwe, kubanga atuula waggulu, \q2 alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu. \q1 \v 6 Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo, \q2 nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya. \q2 Okutya \nd Mukama\nd* kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo. \b \q1 \v 7 Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka, \q2 n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo. \q1 \v 8 Enguudo ennene tezitambulirwako, \q2 tewali azitambulirako. \q1 Endagaano yamenyebwa, \q2 n’abajulizi baayo banyoomebwa, \q2 tewali assibwamu kitiibwa. \q1 \v 9 Ensi ekungubaga era eyongobera, \q2 Lebanooni aswadde era awotose; \q1 Saloni ali ng’eddungu, \q2 ng’asuula Basani ne Kalumeeri. \b \q1 \v 10 \nd Mukama\nd* agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka, \q2 kaakano nnaagulumizibwa, \q2 kaakano nnaayimusibwa waggulu. \q1 \v 11 Ofuna olubuto olw’ebisusunku, \q2 ozaala ssubi, \q2 omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo. \q1 \v 12 Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa, \q2 balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.” \q1 \v 13 Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze. \q2 Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange. \q1 \v 14 Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde, \q2 okutya kujjidde abatalina Katonda. \q1 “Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo? \q2 Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?” \q1 \v 15 Atambulira mu butuukirivu, \q2 n’ayogera ebituufu, \q1 oyo atatwala magoba agava mu bubbi, \q2 n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi, \q1 aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta, \q2 n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu, \q1 \v 16 ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, \q2 n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi. \q1 Aliweebwa emmere, \q2 n’amazzi tegalimuggwaako. \b \q1 \v 17 Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe, \q2 ne galaba ensi eyeewala. \q1 \v 18 Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti, \q2 “Omukungu omukulu ali ludda wa? \q2 Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo? \q2 Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?” \q1 \v 19 Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala, \q2 abantu ab’olulimi olutamanyiddwa, \q2 olulimi olutategeerekeka. \b \q1 \v 20 Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe, \q2 amaaso go galiraba Yerusaalemi, \q2 ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa \q1 enkondo zaayo tezirisimbulwa, \q2 newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa. \q1 \v 21 Weewaawo \nd Mukama\nd* aliba Amaanyi gaffe \q2 era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi. \q1 Temuliyitamu lyato \q2 newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu. \q1 \v 22 Kubanga \nd Mukama\nd* ye mulamuzi waffe, \q2 \nd Mukama\nd* y’atuwa amateeka, \q1 \nd Mukama\nd* ye Kabaka waffe, \q2 y’alitulokola. \b \q1 \v 23 Emiguwa gyo gisumulukuse \q2 n’omulongooti si munywevu, \q2 n’ettanga si lyanjuluze. \q1 Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu, \q2 n’abalala balitwala eby’omunyago. \q1 \v 24 Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,” \q2 n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe. \c 34 \s1 Amawanga Gasalirwa Omusango \q1 \v 1 Musembere mmwe amawanga muwulirize. \q2 Musseeyo omwoyo mmwe abantu. \q1 Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu, \q2 ensi ne byonna ebigivaamu. \q1 \v 2 \nd Mukama\nd* anyiigidde amawanga gonna, \q2 ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna. \q1 Alibazikiririza ddala, \q2 alibawaayo okuttibwa. \q1 \v 3 Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, \q2 n’emirambo gyabwe giriwunya, \q2 n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe. \q1 \v 4 Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka, \q2 n’eggulu liryezingako ng’omuzingo; \q1 n’eggye ery’omu ggulu lirigwa, \q2 ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu, \q2 ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini. \b \q1 \v 5 Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, \q2 era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, \q2 abantu be mmaliddewo ddala. \q1 \v 6 Ekitala kya \nd Mukama\nd* kisaabye omusaayi, \q2 kiriko amasavu, \q1 omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi, \q2 amasavu agava mu nsingo za sseddume. \q1 \nd Mukama\nd* alina ekiweebwayo mu Bozula, \q2 era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu. \q1 \v 7 Embogo zirifiira wamu nazo, \q2 n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo. \q1 Ensi yaabwe erijjula omusaayi, \q2 n’enfuufu erinnyikira amasavu. \b \q1 \v 8 \nd Mukama\nd* alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, \q2 omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni. \q1 \v 9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,\f + \fr 34:9 \fr*\ft bulimbo kifaanana ng’ennoni\ft*\f* \q2 n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya. \q2 Ensi ye erifuuka ng’obulimbo\f + \fr 34:9 \fr*\ft bulimbo kifaanana ng’ennoni\ft*\f* obuggya omuliro. \q1 \v 10 Talizikizibwa emisana n’ekiro, \q2 n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna. \q1 Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe, \q2 era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo. \q1 \v 11 Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu. \q2 Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo. \q1 Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika, \q2 n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere. \q1 \v 12 Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka, \q2 n’abalangira be bonna baliggwaawo. \q1 \v 13 Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye, \q2 n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa. \q1 Aliyiggibwa ebibe, \q2 era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu. \q1 \v 14 Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi, \q2 n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza. \q1 Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula \q2 nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu. \q1 \v 15 Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi, \q2 ne kigaalula, \q1 ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo. \q2 Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera. \p \v 16 Tunula mu muzingo gwa \nd Mukama\nd* osome. \q1 Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo, \q2 era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume. \q1 Akamwa ka \nd Mukama\nd* ke kalagidde, \q2 era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya. \q1 \v 17 Agabira buli kimu omugabo gwakyo, \q2 era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera. \q1 Birikibeeramu ennaku zonna, \q2 bibeere omwo emirembe n’emirembe. \c 35 \s1 Essanyu ly’Abanunule \q1 \v 1 Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; \q2 Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. \q1 Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti \v 2 birimeruka, \q2 birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. \q1 Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, \q2 ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; \q1 baliraba ekitiibwa kya \nd Mukama\nd*, \q2 ekitiibwa kya Katonda waffe. \b \q1 \v 3 Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye. \q1 \v 4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti, \q2 Mubeere n’amaanyi temutya: \q1 laba Katonda wammwe alijja; \q2 alibalwanirira, \q1 alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, \q2 era alibalokola. \b \q1 \v 5 Olwo amaaso g’abazibe galiraba, \q2 era n’amatu ga bakiggala galigguka; \q1 \v 6 omulema alibuuka ng’ennangaazi, \q2 n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. \q1 Amazzi galifubutuka \q2 ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu. \q1 \v 7 N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, \q2 n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. \q1 Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, \q2 n’essaalu, n’ebitoogo. \b \q1 \v 8 Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, \q2 eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. \q1 Abatali balongoofu tebaliriyitamu, \q2 liriba ly’abali abalongoofu, \q2 kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu. \q1 \v 9 Teribaayo mpologoma, \q2 so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; \q2 tezirirabikayo, \q1 naye abanunule balitambulira eyo. \q2 \v 10 N’abantu ba \nd Mukama\nd* abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, \q2 n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. \q1 Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, \q2 okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala. \c 36 \s1 Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi \p \v 1 Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. \v 2 Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. \v 3 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana. \p \v 4 Labusake n’abagamba nti, \pm “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? \v 5 Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? \v 6 Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ \v 7 Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga \nd Mukama\nd* Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’? \pm \v 8 “ ‘Kale nno \nd Mukama\nd* wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. \v 9 Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? \v 10 Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga \nd Mukama\nd* si y’andagidde? \nd Mukama\nd* yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ” \p \v 11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya\f + \fr 36:11 \fr*\ft Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 \+sc bc\+sc*.\ft*\f* ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.” \p \v 12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo \nd Mukama\nd* wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?” \p \v 13 Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. \v 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. \v 15 Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘\nd Mukama\nd* ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’ \p \v 16 “Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, \v 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’ \p \v 18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘\nd Mukama\nd* alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? \v 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? \v 20 Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale \nd Mukama\nd* asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?” \p \v 21 Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.” \p \v 22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake. \c 37 \s1 Keezeekiya Akaabirira \nd Mukama\nd* \p \v 1 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya \nd Mukama\nd*. \v 2 N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. \v 3 Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. \v 4 Oboolyawo \nd Mukama\nd* Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, \nd Mukama\nd* Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.” \p \v 5 Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, \v 6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. \v 7 Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ” \p \v 8 Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi. \p \v 9 Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, \v 10 “Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ \v 11 Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? \v 12 Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? \v 13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?” \s1 Okusaba kwa Keezeekiya \p \v 14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya \nd Mukama\nd* n’agyanjuluza mu maaso ga \nd Mukama\nd*. \v 15 N’asaba ne yeegayirira \nd Mukama\nd* nga agamba nti, \v 16 “Ayi \nd Mukama\nd* ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. \v 17 Otege okutu kwo Ayi \nd Mukama\nd* owulire, ozibule amaaso go, Ayi \nd Mukama\nd*, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu. \p \v 18 “Mazima ddala \nd Mukama\nd*, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, \v 19 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. \v 20 Kale nno, ayi \nd Mukama\nd* Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe \nd Mukama\nd*.” \p \v 21 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, \v 22 kino kye kigambo kye mmwogeddeko: \q1 “ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera \q2 akunyooma era akusekerera. \q1 Omuwala wa Yerusaalemi \q2 akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka. \q1 \v 23 Ani gw’ovumye \q2 gw’ovodde? \q1 Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso? \q2 Omutukuvu wa Isirayiri! \q1 \v 24 Okozesezza abaddu bo \q2 okuvuma Mukama n’oyogera nti, \q1 Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi, \q2 ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni; \q1 era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu, \q2 n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi, \q1 era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo, \q2 ekibira kyayo ekisinga obunene. \q1 \v 25 Waduula nti wasima enzizi \q2 era n’onywa n’amazzi mu mawanga \q1 era nti ebigere by’abajaasi bo \q2 byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’ \b \q1 \v 26 “Tewawulira nga nakisalawo dda? \q2 Nakiteekateeka dda. \q1 Mu biro eby’edda nakiteekateeka; \q2 era kaakano nkituukirizza, \q1 olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe \q2 okuba ng’entuumo y’amayinja. \q1 \v 27 Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi, \q2 ne baterebuka \q1 ne bakeŋŋentererwa \q2 ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto, \q1 ng’omuddo ogumera ku nnyumba \q2 ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula. \b \q1 \v 28 “Naye mmanyi obutuuliro bwo \q2 era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo \q2 n’obuswandi bw’ondaga. \q1 \v 29 Kubanga oneereegeddeko, \q2 okwepanka kw’okoze nkutuuseeko. \q1 Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,\f + \fr 37:29 \fr*\ft Abasuli baateekanga amalobo mu nnyindo zaabo be baawambanga, ne baddira n’oluuma ne bafumita mu mimwa gy’abo be baawambanga\ft*\f* \q2 n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, \q1 nkuzzeeyo \q2 ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.” \s1 Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye \p \v 30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, \q1 “Kano ke kabonero akanaakuweebwa: \q2 Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka. \q1 Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri. \q2 Mu mwaka ogwokusatu \q1 mulirya ku birime byammwe bye musize \q2 era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu. \q1 \v 31 Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe \q2 emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala. \q1 \v 32 Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo \q2 ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona, \q1 kubanga \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe, \q2 yeewaddeyo okukikola. \p \v 33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti, \q1 “Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino \q2 wadde okulasayo akasaale. \q1 Talikisemberera n’engabo \q2 newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza. \q1 \v 34 Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. \q2 Tajja kuyingira mu kibuga kino,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 35 “Ndirwanirira ekibuga kino \q2 nkirokole.” \p \v 36 Awo malayika wa \nd Mukama\nd* n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. \v 37 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve. \p \v 38 Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira. \c 38 \s1 Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde \p \v 1 Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.” \p \v 2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira \nd Mukama\nd* \v 3 ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi \nd Mukama\nd*, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga. \p \v 4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, \v 5 nga \nd Mukama\nd* agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. \v 6 Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino. \p \v 7 “ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri \nd Mukama\nd* nti \nd Mukama\nd* alikola ekigambo ky’ayogedde. \v 8 Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi. \p \v 9 Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino; \q1 \v 10 nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange \q2 mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe, \q2 nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.” \q1 \v 11 Ne ndyoka njogera nti, \q2 “Sigenda kuddayo kulaba \nd Mukama\nd*, \q1 mu nsi y’abalamu. \q2 Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera. \q1 \v 12 Obulamu bwange buzingiddwako \q2 ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako. \q1 Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira, \q2 bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange \q2 obumalirawo ddala. \q1 \v 13 Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi \q2 nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba, \q2 ekiro n’emisana nga ndowooza nga \nd Mukama\nd* yali amalawo obulamu bwange. \q1 \v 14 Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi, \q2 n’empuubaala ng’enjiibwa, \q1 amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu. \q2 Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.” \b \q1 \v 15 Naye ate nga naagamba ki? \q2 Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze. \q1 N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno \q2 obw’obulamu bwange. \q1 \v 16 Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu, \q2 era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu. \q1 Omponye, \q2 mbeere mulamu. \q1 \v 17 Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, \q2 naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. \q1 Kubanga otadde ebibi byange byonna \q2 emabega wo. \q1 \v 18 Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza, \q2 abafu tebayinza kukusuuta; \q1 tebaba na ssuubi \q2 mu bwesigwa bwo. \q1 \v 19 Akyali omulamu, \q2 y’akutendereza nga nze bwe nkola leero; \q1 bakitaabwe b’abaana babategeeza \q2 nga bw’oli omwesigwa ennyo. \b \q1 \v 20 \nd Mukama\nd* alindokola, \q2 kyetunaavanga tuyimba \q1 ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe, \q2 mu nnyumba ya \nd Mukama\nd*. \p \v 21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.” \p \v 22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya \nd Mukama\nd*?” \c 39 \s1 Ababaka Okuva e Babulooni \p \v 1 Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. \v 2 Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga. \p \v 3 Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?” \p Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.” \p \v 4 N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” \p Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.” \p \v 5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye ky’agamba: \v 6 Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \v 7 N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.” \p \v 8 Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.” \c 40 \s1 Ebigambo eby’Essuubi \q1 \v 1 Mugumye, mugumye abantu bange, \q2 bw’ayogera Katonda wammwe. \q1 \v 2 Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, \q2 entalo ze ziweddewo, \q1 n’obutali butuukirivu bwe \q2 busasuliddwa. \q1 Era \nd Mukama\nd* amusasudde emirundi ebiri \q2 olw’ebibi bye byonna. \b \q1 \v 3 Eddoboozi ly’oyo ayogera \q2 liwulikika ng’agamba nti, \q1 “Muteeketeeke ekkubo lya \nd Mukama\nd* mu ddungu, \q2 mutereeze oluguudo lwe mu ddungu. \q1 \v 4 Buli kiwonvu kirigulumizibwa, \q2 na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa. \q1 N’obukyamu buligololwa, \q2 ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa. \q1 \v 5 Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* kiribikkulwa, \q2 ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, \q1 kubanga akamwa ka \nd Mukama\nd* ke kakyogedde.” \b \q1 \v 6 Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, \q2 “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.” \b \q1 Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, \q2 “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro. \q1 \v 7 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, \q2 omukka gwa \nd Mukama\nd* bwe gugufuuwako. \q2 Mazima abantu muddo. \q1 \v 8 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, \q2 naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.” \b \q1 \v 9 Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, \q2 werinnyire ku lusozi oluwanvu; \q1 ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, \q2 yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. \q2 Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!” \q1 \v 10 Laba, \nd Mukama\nd* Katonda ajja n’amaanyi mangi \q2 era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. \q1 Laba empeera ye eri mu mukono gwe, \q2 buli muntu afune nga bw’akoze. \q1 \v 11 Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, \q2 akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe \q1 n’abasitula mu kifuba kye, \q2 n’akulembera mpola mpola ezibayonsa. \q1 \v 12 Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye, \q2 n’apima eggulu n’oluta, \q1 n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo, \q2 oba n’apima ensozi ku minzaani, \q2 n’obusozi ku kipima? \q1 \v 13 Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa \nd Mukama\nd*? \q2 Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi? \q1 \v 14 Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, \q2 era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? \q1 Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga, \q2 n’okumanya n’okutegeera? \q1 \v 15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, \q2 era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, \q2 apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani. \q1 \v 16 N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe, \q2 n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala. \q1 \v 17 Amawanga gonna ag’omu nsi \q2 gabalibwa mu maaso ge, \q2 gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu. \b \q1 \v 18 Kale ani gwe mulifaananya Katonda? \q2 Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako? \q1 \v 19 Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, \q2 n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu, \q2 n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza. \q1 \v 20 Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza \q2 oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda \q1 ne yenoonyeza omukozi omugezigezi \q2 okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole. \q1 \v 21 Temunnamanya, \q2 temunnawulira, \q1 temubuulirwanga \q2 okuva ku kutondebwa kw’ensi? \q1 \v 22 Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, \q2 era gy’ali abantu bali ng’amayanzi. \q1 Atimba eggulu ng’olutimbe \q2 era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu. \q1 \v 23 Afuula abafuzi obutaba kintu, \q2 afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu. \q1 \v 24 Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, \q2 biba byakasigibwa, \q2 biba byakaleeta emirandira, \q1 nga abifuuwa nga biwotoka, \q2 ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro. \q1 \v 25 “Kale mulinfaananya ani, \q2 ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu. \q1 \v 26 Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. \q2 Ani eyatonda ebyo byonna? \q1 Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu, \q2 byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo. \q1 Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso, \q2 tewali na kimu kibulako. \b \q1 \v 27 Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, \q2 “\nd Mukama\nd* tamanyi mitawaana gye mpitamu, \q1 era tafaayo nga tuggyibwako \q2 eddembe lyaffe ery’obwebange”? \q1 \v 28 Tonnamanya? \q2 Tonnawulira? \q1 \nd Mukama\nd*, ye Katonda ataliggwaawo. \q2 Omutonzi w’enkomerero y’ensi. \q1 Tazirika so takoowa \q2 era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima. \q1 \v 29 Awa amaanyi abazirika, \q2 n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. \q1 \v 30 Abavubuka bazirika, bakoowa, \q2 n’abalenzi bagwira ddala. \q1 \v 31 Naye abo abalindirira \nd Mukama\nd* \q2 baliddamu buggya amaanyi gaabwe, \q1 balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; \q2 balidduka mbiro ne batakoowa, \q2 balitambula naye ne batazirika. \c 41 \s1 Katonda Agumya Isirayiri \q1 \v 1 “Musirike mumpulirize mmwe ebizinga, \q2 amawanga gaddemu amaanyi. \q1 Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero. \q2 Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu. \b \q1 \v 2 “Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, \q2 eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? \q1 Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, \q2 n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye, \q1 obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro \q2 ebitwalibwa empewo? \q1 \v 3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo \q2 ebigere bye gye by’ali bitayitanga. \q1 \v 4 Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu \q2 okuva ku lubereberye? \q1 Nze \nd Mukama\nd* ow’olubereberye \q2 era ow’enkomerero, nze wuuyo.” \b \q1 \v 5 Ebizinga by’alaba ne bitya; \q2 n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka. \q1 \v 6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti; \q2 “Guma omwoyo!” \q1 \v 7 Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, \q2 n’oyo ayooyoota n’akayondo \q2 n’agumya oyo akuba ku luyijja \q1 ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” \q2 era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana. \s1 Isirayiri Yalondebwa Katonda \q1 \v 8 “Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange, \q2 Yakobo gwe nalonda, \q2 ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange, \q1 \v 9 ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi \q2 ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala, \q1 ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ \q2 nze nakulonda so sikusuulanga: \q1 \v 10 Totya kubanga nze ndi wamu naawe; \q2 tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. \q1 Nnaakuwanga amaanyi. \q2 Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” \s1 Isirayiri Alinnya ku Balabe be \q1 \v 11 “Laba, abo bonna abakukambuwalidde \q2 balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. \q1 Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa \q2 ne baggwaawo. \q1 \v 12 Olibanoonya abo abaakukijjanyanga \q2 naye n’otobalaba. \q1 Abo abaakulwanyisanga \q2 baliggwaamu ensa. \q1 \v 13 Kubanga nze \nd Mukama\nd* Katonda wo \q2 akukwata ku mukono ogwa ddyo, \q1 nze nkugamba nti, \q2 Totya nze nzija kukuyamba. \q1 \v 14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi \q2 totya, ggwe Isirayiri, \q1 kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Omununuzi wo, \q2 Omutukuvu wa Isirayiri. \q1 \v 15 “Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, \q2 ekyogi eky’amannyo amangi. \q1 Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, \q2 obusozi ne mubufuula ebisusunku. \q1 \v 16 Oliziwewa empewo n’ezifuumula, \q2 embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. \q1 Era naawe olisanyukira mu \nd Mukama\nd*, \q2 era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.” \s1 \nd Mukama\nd* Ayimusa Isirayiri \q1 \v 17 “Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi \q2 ne baganoonya naye ne gababula, \q2 ate nga ennimi zaabwe zikaze, \q1 nze \nd Mukama\nd* ndibawulira, \q2 nze Katonda wa Isirayiri siribaleka. \q1 \v 18 Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, \q2 era n’ensulo wakati mu biwonvu. \q1 Olukoola ndirufuula ennyanja, \q2 n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi. \q1 \v 19 Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya, \q2 omumwanyi n’omuzeyituuni, \q1 ate nsimbe mu ddungu \q2 enfugo n’omuyovu awamu ne namukago. \q1 \v 20 Abantu balyoke balabe bamanye, \q2 balowooze \q1 era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa \nd Mukama\nd* gwe gukoze kino, \q2 nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.” \s1 \nd Mukama\nd* Asoomooza Bakatonda Abalala \q1 \v 21 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda gye muli mmwe nti, \q2 “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. \q1 Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo. \q1 \v 22 “Baleete bakatonda bwabwe \q2 batubuulire ebigenda okubaawo. \q1 Batubuulire n’ebyaliwo emabega, \q2 tusobole okubimanya, \q2 n’okubirowoozaako \q1 n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja. \q2 \v 23 Mutubuulire ebigenda okubaawo \q2 tulyoke tumanye nga muli bakatonda. \q1 Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi \q2 tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima. \q1 \v 24 Laba, temuliiko bwe muli \q2 ne bye mukola tebigasa. \q2 Abo ababasinza bennyamiza. \q1 \v 25 Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, \q2 abeera mu buvanjuba. \q1 Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka, \q2 abe ng’omubumbi asamba ebbumba. \q1 \v 26 Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, \q2 eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ \q1 Tewali n’omu yakyogerako, \q2 tewali n’omu yakimanya \q2 era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli. \q1 \v 27 Nasooka okubuulira Sayuuni \q2 era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi. \q1 \v 28 Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino. \q2 Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya, \q2 tewali n’omu addamu bwe mbuuza. \q1 \v 29 Laba, bonna temuli nsa! \q2 Bye bakola byonna tebigasa. \q2 Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.” \c 42 \s1 Omuweereza wa Katonda \q1 \v 1 Laba omuweereza wange gwe mpanirira, \q2 omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. \q1 Ndimuwa Omwoyo wange \q2 era alireeta obwenkanya eri amawanga. \q1 \v 2 Talireekaana \q2 wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo. \q1 \v 3 Talimenya lumuli lubetentefu \q2 oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo; \q1 mu bwesigwa alireeta obwenkanya. \q2 \v 4 Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi. \q1 N’ebizinga eby’ewala \q2 biririndirira amateeka ge. \b \q1 \v 5 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, \q1 eyatonda eggulu n’alibamba. \q2 Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; \q1 awa omukka abantu baakwo \q2 era n’obulamu eri bonna abagitambulirako. \q1 \v 6 “Nze \nd Mukama\nd*, \q2 nakuyita mu butuukirivu. \q1 Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. \q2 Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, \q2 era omusana eri bannamawanga. \q1 \v 7 Okuzibula amaaso g’abazibe, \q2 okuta abasibe okuva mu makomera \q2 n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza. \b \q1 \v 8 “Nze \nd Mukama\nd*, \q2 eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, \q2 newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala. \q1 \v 9 Laba, ebyo bye nagamba nti \q2 biribaawo bituuse, \q1 kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; \q2 mbibategeeza nga tebinnabaawo.” \s1 Oluyimba olw’Okutendereza \nd Mukama\nd* \q1 \v 10 Muyimbire \nd Mukama\nd* oluyimba oluggya, \q2 ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi! \q1 Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, \q2 mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu. \q1 \v 11 Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo, \q2 ebyalo Kedali mw’atuula. \q1 Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu. \q2 Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi. \q1 \v 12 Leka \nd Mukama\nd* bamuwe ekitiibwa \q2 era balangirire ettendo lye mu bizinga. \q1 \v 13 \nd Mukama\nd*, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi, \q2 era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta, \q1 n’okuleekaana ng’alangirira olutalo. \q2 Era aliwangula abalabe be. \s1 Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be \q1 \v 14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba, \q2 nga nsirise neekuumye. \q1 Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala, \q2 nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe. \q1 \v 15 Ndizikiriza ensozi n’obusozi, \q2 egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa. \q1 Era ndikaza ebinywa byabwe byonna \q2 n’emigga ndigifuula ebizinga. \q1 \v 16 Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi \q2 n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. \q1 Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe \q2 n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa. \q1 Ebyo by’ebintu bye ndikola, \q2 sirireka bantu bange. \q1 \v 17 Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, \q2 ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, \q2 era baligobebwa, mu buswavu obungi.” \s1 Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa \q1 \v 18 “Muwulire mmwe bakiggala, \q2 mutunule mmwe bamuzibe, mulabe. \q1 \v 19 Ani muzibe okuggyako omuweereza wange, \q2 oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma? \q1 Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi, \q2 oba omuzibe ng’omuweereza wa \nd Mukama\nd*? \q1 \v 20 Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko, \q2 amatu go maggule naye tolina ky’owulira.” \q1 \v 21 Kyasanyusa \nd Mukama\nd* olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe \q2 okukuza amateeka ge \q2 n’okugassaamu ekitiibwa. \q1 \v 22 Naye bano, bantu be, \q2 ababbibwa ne banyagibwa bonna \q2 ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera. \q1 Bafuuka munyago \q2 nga tewali n’omu abanunula, \q1 bafuuliddwa abanyage \q2 nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.” \b \q1 \v 23 Ani ku mmwe anaawuliriza kino, \q2 oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja? \q1 \v 24 Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago \q2 ne Isirayiri eri abanyazi? \q1 Teyali \nd Mukama\nd* gwe twayonoona? \q2 Ekyo yakikola \q1 kubanga tebaagoberera makubo ge. \q2 Tebaagondera mateeka ge. \q1 \v 25 Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka \q2 n’obulumi bw’entalo. \q1 Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera. \q2 Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo. \c 43 \s1 Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka \q1 \v 1 Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* oyo eyakutonda, \q2 ggwe Yakobo, \q2 eyakukola ggwe Isirayiri: \q1 “Totya kubanga nkununudde, \q2 nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange. \q1 \v 2 Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu \q2 nnaabeeranga naawe, \q1 ne bw’onooyitanga mu migga \q2 tegirikusaanyaawo; \q1 bw’onooyitanga mu muliro \q2 tegukwokyenga, \q2 ennimi z’omuliro tezirikwokya. \q1 \v 3 Kubanga nze \nd Mukama\nd* Katonda wo, \q2 Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo. \q1 Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa, \q2 era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo. \q1 \v 4 Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa, \q2 era kubanga nkwagala, \q1 ndiwaayo abasajja ku lulwo \q2 mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo. \q1 \v 5 Totya, kubanga nze ndi nawe, \q2 ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba \q2 era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba. \q1 \v 6 Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’ \q2 n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ \q1 Leeta batabani bange okuva ewala \q2 ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi. \q1 \v 7 Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, \q2 gwe natonda olw’ekitiibwa kyange, \q2 gwe nakola gwe natonda.” \s1 Eggwanga Erirondeddwa nga Omujulirwa \q1 \v 8 Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba, \q2 abalina amatu naye nga tebawulira. \q1 \v 9 Amawanga gonna ka gakuŋŋaane \q2 n’abantu bajje. \q1 Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? \q2 Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? \q1 Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu \q2 abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.” \q1 \v 10 “Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q2 “omuweereza wange gwe nalonda: \q1 mulyoke mummanye, munzikirize, \q2 mutegeere nga Nze wuuyo: \q1 Tewali Katonda eyansooka \q2 era teriba mulala alinzirira. \q1 \v 11 Nze, Nze mwene, nze \nd Mukama\nd*; \q2 okuggyako nze tewali Mulokozi. \q1 \v 12 Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; \q2 nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. \q1 Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q2 \v 13 “Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; \q1 tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. \q2 Kye nkola ani ayinza okukikyusa?” \q1 \v 14 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q2 Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, \q1 “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, \q2 ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe \q2 mu byombo ebyabeewanya. \q1 \v 15 Nze \nd Mukama\nd*, Omutukuvu wammwe, \q2 Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.” \b \q1 \v 16 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q2 oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, \q2 n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo, \q1 \v 17 eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba, \q2 byonna awamu okugwa omwo, \q1 ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde, \q2 nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka: \q1 \v 18 “Mwerabire eby’emabega, \q2 so temulowooza ku by’ayita. \q1 \v 19 Laba, nkola ekintu ekiggya! \q2 Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? \q1 Nkola oluguudo mu ddungu \q2 ne ndeeta emigga mu lukoola. \q1 \v 20 Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, \q2 ebibe n’ebiwuugulu; \q1 kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, \q2 n’emigga mu lukoola, \q1 okunywesa abantu bange, abalonde bange, \q2 \v 21 abantu be nnekolera \q2 balangirire ettendo lyange. \b \q1 \v 22 “So tonkowodde ggwe, Yakobo, \q2 era teweekooyeza ggwe Isirayiri. \q1 \v 23 Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa, \q2 wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. \q1 Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke \q2 wadde okukukooya n’obubaane. \q1 \v 24 Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo \q2 wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo, \q1 naye onkoyesezza n’ebibi byo, \q2 era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo. \b \q1 \v 25 “Nze, Nze mwene, \q2 nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, \q2 so sirijjukira bibi byo. \q1 \v 26 Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi, \q2 jjangu ensonga tuzoogereko fembi, \q2 yogera ebiraga nga toliiko musango. \q1 \v 27 Kitaawo eyasooka yasobya, \q2 abakulembeze bo baanjemera. \q1 \v 28 Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, \q2 era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe \q2 ne Isirayiri aswazibwe.” \c 44 \s1 Isirayiri Eyalondebwa \q1 \v 1 “Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza, \q2 ggwe Isirayiri gwe nalonda. \q1 \v 2 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* oyo, \q2 eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, \q2 ajja kukuyamba. \q1 Totya ggwe Yakobo,\f + \fr 44:2 \fr*\ft Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri\ft*\f* omuweereza wange, \q2 ggwe Yesuruni gwe nalonda. \q1 \v 3 Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka \q2 eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu. \q1 Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, \q2 era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo. \q1 \v 4 Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi, \q2 babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga. \q1 \v 5 Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa \nd Mukama\nd*,’ \q2 n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, \q1 n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa \nd Mukama\nd*,’ \q2 ne yeetuuma Isirayiri. \b \q1 \v 6 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, \q2 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye: \q1 Nze w’olubereberye era nze nkomererayo \q2 era tewali Katonda mulala we ndi. \q1 \v 7 Ani afaanana nga nze, \q2 akirangirire, \q1 eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo \q2 okuviira ddala ku ntandikwa? \q2 Leka batubuulire ebigenda okubaawo. \q1 \v 8 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi. \q2 Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja? \q1 Mmwe bajulirwa bange. \q2 Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. \q1 Tewali Lwazi lulala, \q2 sirina lwe mmanyi.” \b \q1 \v 9 Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa, \q2 era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. \q1 Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, \q2 balyoke bakwatibwe ensonyi. \q1 \v 10 Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba? \q1 \v 11 Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. \q2 N’ababazzi nabo bantu buntu. \q1 Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa. \q2 Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa. \b \q1 \v 12 Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma \q2 n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro. \q1 Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge. \q2 Enjala emuluma, \q1 n’aggwaamu amaanyi, \q2 tanywa mazzi era akoowa. \q1 \v 13 Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo \q2 era n’alamba n’ekkalaamu. \q1 Akinyiriza ne landa, \q2 n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera, \q1 n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana, \q2 kiryoke kiteekebwe mu nnyumba. \q1 \v 14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba \q2 oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira, \q1 oba n’asimba enkanaga, \q2 enkuba n’egikuza. \q1 \v 15 Abantu bagukozesa ng’enku, \q2 ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. \q2 Akuma omuliro n’afumba emigaati. \q1 Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza, \q2 akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira. \q1 \v 16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro, \q2 ekitundu ekirala akyokesa ennyama \q2 n’agirya n’akutta. \q1 Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti, \q2 “Mbugumye, omuliro ngutegedde!” \q1 \v 17 Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, \q2 ekifaananyi ekikole n’emikono, \q1 era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti, \q2 “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.” \q1 \v 18 Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, \q2 amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba, \q2 n’okutegeera ne batayinza kutegeera. \q1 \v 19 Tewali n’omu ayimirira n’alowooza, \q2 tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti, \q1 “Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro, \q2 era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo, \q2 njokezzaako n’ennyama n’engirya. \q1 Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo? \q2 Nvuunamire ekisiki ky’omuti?” \q1 \v 20 Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba, \q2 tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti, \q2 “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?” \s1 \nd Mukama\nd*, Omutonzi era Omulokozi \q1 \v 21 “Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo; \q2 oli muweereza wange ggwe Isirayiri. \q1 Nze nakubumba, oli muweereza wange, \q2 ggwe Isirayiri sirikwerabira. \q1 \v 22 Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.” \b \q1 \v 23 Yimba n’essanyu ggwe eggulu \q2 kubanga ekyo \nd Mukama\nd* yakikoze. \q1 Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi. \q2 Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. \q1 \nd Mukama\nd* anunudde Yakobo \q2 era yeegulumiriza mu Isirayiri. \s1 Yerusaalemi kya Kuzzibwawo \q1 \v 24 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Omulokozi wo, \q2 eyakutondera mu lubuto. \b \q1 “Nze \nd Mukama\nd*, \q2 eyatonda ebintu byonna, \q2 eyabamba eggulu nzekka, \q2 eyayanjuluza ensi obwomu, \q1 \v 25 asazaamu abalaguzi bye balagudde \q2 era abalogo abafuula abasirusiru. \q1 Asaabulula eby’abagezi \q2 n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru. \q1 \v 26 Anyweza ekigambo ky’omuweereza we \q2 n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. \b \q1 “Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ \q2 ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ \q2 ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’ \q1 \v 27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira, \q2 era ndikaliza emigga gyo.’ \q1 \v 28 Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange \q2 era alituukiriza bye njagala byonna.’ \q1 Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ \q2 ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ” \c 45 \q1 \v 1 “Bw’ati \nd Mukama\nd* bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta, \q2 oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo \q1 okujeemulula amawanga mu maaso ge \q2 era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, \q1 okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, \q2 emiryango eminene gireme kuggalwawo. \q1 \v 2 Ndikukulembera \q2 ne ntereeza ebifo ebigulumivu. \q1 Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo \q2 ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma. \q1 \v 3 Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu \q2 era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama \q1 olyoke omanye nga nze \nd Mukama\nd*, \q2 Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo. \q1 \v 4 Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange \q2 kyenvudde nkuyita erinnya, \q1 ne nkuwa ekitiibwa \q2 wadde nga tonzisaako mwoyo. \q1 \v 5 Nze \nd Mukama\nd*, tewali mulala. \q2 Tewali katonda mulala wabula nze. \q1 Ndikuwa amaanyi \q2 wadde nga tonzisaako mwoyo, \q1 \v 6 balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda \q2 tewali mulala wabula nze. \q1 Nze \nd Mukama\nd*, \q2 tewali mulala. \q1 \v 7 Nze nteekawo ekitangaala \q2 ne ntonda ekizikiza. \q2 Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. \q1 Nze \nd Mukama\nd* akola ebyo byonna. \b \q1 \v 8 “Mmwe eggulu eriri waggulu, \q2 mutonnyese obutuukirivu. \q1 Ebire bitonnyese obutuukirivu. \q2 Ensi egguke n’obulokozi bumeruke, \q1 ereete obutuukirivu. \q2 Nze \nd Mukama\nd* nze nagitonda. \b \q1 \v 9 “Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! \q2 Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. \q1 Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, \q2 ‘Obumba ki?’ \q1 Oba omulimu gwo okukubuuza nti, \q2 ‘Aliko emikono?’ \q1 \v 10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, \q2 ‘Wazaala ki?’ \q1 Oba nnyina nti, \q2 ‘Kiki ky’ozadde?’ \b \q1 \v 11 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Omutukuvu wa Isirayiri \q2 era Omutonzi we nti, \q1 ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, \q2 oba ebikwata ku baana bange, \q2 oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’ \q1 \v 12 Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo. \q1 \v 13 Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu \q2 era nditereeza amakubo ge gonna. \q1 Alizimba ekibuga kyange \q2 n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; \q1 naye si lwa mpeera oba ekirabo,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye. \p \v 14 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa, \q2 n’abo Abasabeya abawanvu \q1 balijja \q2 babeere abaddu bo, \q1 bajje nga bakugoberera \q2 nga basibiddwa mu njegere. \q1 Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti, \q2 ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ” \b \q1 \v 15 Ddala oli Katonda eyeekweka, \q2 ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we. \q1 \v 16 Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa, \q2 balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde. \q1 \v 17 Naye Isirayiri alirokolebwa \nd Mukama\nd* \q2 n’obulokozi obutaliggwaawo. \q1 Temuukwatibwenga nsonyi, \q2 temuuswalenga emirembe gyonna. \b \q1 \v 18 Kubanga bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* eyatonda eggulu, \q1 ye Katonda eyabumba ensi n’agikola. \q2 Ye yassaawo emisingi gyayo. \q1 Teyagitonda kubeera nkalu \q1 naye yagikola etuulwemu. \q2 Ye yagamba nti, “Nze \nd Mukama\nd* so tewali mulala. \q1 \v 19 Soogereranga mu kyama, \q2 oba mu nsi eyeekizikiza. \q1 Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, \q2 ‘Munoonyeze bwereere.’ \q1 Nze \nd Mukama\nd* njogera mazima, \q2 mbuulira ebigambo eby’ensonga. \b \q1 \v 20 “Mwekuŋŋaanye mujje, \q2 mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga. \q1 Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, \q2 abasaba eri katonda atasobola kubalokola. \q1 \v 21 Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. \q2 Muteese muyambagane. \q1 Ani eyayogera nti kino kiribaawo? \q2 Ani eyakyogerako edda? \q1 Si nze \nd Mukama\nd*? \q2 Tewali Katonda mulala wabula nze, \q1 Katonda omutuukirivu era Omulokozi, \q2 tewali mulala wabula nze. \b \q1 \v 22 “Mudde gye ndi, mulokoke, \q2 mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi, \q2 kubanga nze Katonda so tewali mulala. \q1 \v 23 Neerayiridde, \q2 ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima \q2 so tekiriggibwawo mu maaso gange. \q1 Buli vviivi lirifukamira, \q2 na buli lulimi lulirayira! \q1 \v 24 Balinjogerako nti, ‘Mu \nd Mukama\nd* mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ” \q1 Bonna abaamusunguwalira \q2 balijja gy’ali nga baswadde. \q1 \v 25 Naye mu \nd Mukama\nd* ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu \q2 era mwe liryenyumiririza. \c 46 \s1 Bakatonda b’e Babulooni \q1 \v 1 Beri avunnama, \q2 Nebo akutamye! \q1 Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. \q2 Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye. \q1 \v 2 Bikutamye byonna bivuunamye. \q2 Tebiyinza kuyamba ku mbeera, \q2 byo byennyini bitwaliddwa mu busibe. \b \q1 \v 3 “Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo \q2 n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. \q1 Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, \q2 be nasitula okuva lwe mwazaalibwa. \q1 \v 4 Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. \q2 Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. \q1 Nze nabakola era nze nnaabawekanga. \q2 Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga. \b \q1 \v 5 “Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya \q2 era gwe mulingerageranyaako tufaanane? \q1 \v 6 Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe \q2 ne bapima ne ffeeza ku minzaani. \q1 Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, \q2 ne bagwa wansi ne basinza. \q1 \v 7 Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. \q2 N’ayimirira awo, \q2 n’atava mu kifo kye. \q1 Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, \q2 tayinza kumuwonya mu mitawaana gye. \b \q1 \v 8 “Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. \q2 Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu. \q1 \v 9 Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo. \q2 Kubanga nze Katonda, teri mulala. \q2 Nze Katonda, teri ali nga nze; \q1 \v 10 alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. \q2 Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, \q1 nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo \q2 era ndituukiriza byonna bye nategeka.’ \q1 \v 11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. \q2 Omusajja\f + \fr 46:11 \fr*\ft Kino kyogera ku Kuulo\ft*\f* ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. \q1 Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. \q2 Nga bwe nategeka bwe nnaakola. \q1 \v 12 Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, \q2 abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu. \q1 \v 13 Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, \q2 tebuli wala. \q2 N’obulokozi bwange tebuulwewo. \q1 Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, \q2 ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.” \c 47 \s1 Babulooni Esalirwa Omusango \q1 \v 1 “Omuwala wa Babulooni embeerera, \q2 kakkana wansi otuule mu nfuufu, \q1 tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, \q2 ggwe omuwala w’Abakaludaaya. \q1 Ekibuga ekitawangulwangako. \q2 Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi. \q1 \v 2 Ddira olubengo ose obutta. \q2 Ggyako akatimba ku maaso, \q1 situla ku ngoye z’oku magulu \q2 oyite mu mazzi. \q1 \v 3 Obwereere bwo bulibikkulwa; \q2 obusungu bwo bulyeraga. \q1 Nzija kuwoolera eggwanga; \q2 tewali muntu yenna gwe ndirekawo.” \b \q1 \v 4 Omununuzi waffe \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye lye linnya lye, \q2 ye Mutukuvu wa Isirayiri. \b \q1 \v 5 “Tuula mu kasirise \q2 yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya, \q1 tebakyakuyita kabaka omukazi \q2 afuga obwakabaka obungi. \q1 \v 6 Nnali nsunguwalidde abantu bange, \q2 ne nyonoonesa omugabo gwange. \q1 Nabawaayo mu mikono gyo, \q2 n’otobasaasira n’akatono. \q1 N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo. \q1 \v 7 Wayogera nti, \q2 ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ \q1 naye n’otolowooza ku bintu bino \q2 wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo. \b \q1 \v 8 “Kale nno kaakano wuliriza kino, \q2 ggwe awoomerwa amasanyu \q1 ggwe ateredde mu mirembe gyo, \q2 ng’oyogera mu mutima gwo nti, \q1 ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. \q2 Siribeera nnamwandu \q2 wadde okufiirwa abaana.’ \q1 \v 9 Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, \q2 eky’okufiirwa abaana \q2 n’okufuuka nnamwandu. \q1 Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, \q2 newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, \q2 n’eby’obufumu byo nga bigenze wala. \q1 \v 10 Weesiga obutali butuukirivu bwo, \q2 n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ \q1 Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya, \q2 bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’ \q1 \v 11 Kyokka ensasagge erikujjira \q2 era tolimanya ngeri yakugyeggyako; \q1 n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; \q2 akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala. \b \q1 \v 12 “Weeyongere nno n’obulogo bwo \q2 n’obufumu bwo obwayinga obungi, \q2 bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. \q1 Oboolyawo olibaako kyoggyamu, \q2 oboolyawo olikolawo ekyobulabe. \q1 \v 13 Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya. \q2 Abalagulira ku munyeenye basembera, \q1 n’abo abakebera emmunyeenye, \q2 era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako. \q1 \v 14 Laba, bali ng’ebisusunku \q2 era omuliro gulibookya! \q1 Tebalyewonya \q2 maanyi ga muliro. \q1 Tewaliiwo manda ga kukubugumya \q2 wadde omuliro ogw’okwota! \q1 \v 15 Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; \q2 b’obonyeebonye nabo \q2 b’oteganidde okuva mu buto bwo. \q1 Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye \q2 era tewali n’omu ayinza okukulokola.” \c 48 \s1 Katonda bye Yayogera Bituukirira \q1 \v 1 “Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, \q2 abayitibwa erinnya lya Isirayiri, \q2 era abaava mu nda ya Yuda. \q1 Mmwe abalayirira mu linnya lya \nd Mukama\nd*, \q2 era abaatula Katonda wa Isirayiri, \q2 naye si mu mazima wadde mu butuukirivu. \q1 \v 2 Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu, \q2 abeesiga Katonda wa Isirayiri, \q2 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye lye linnya lye. \q1 \v 3 Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; \q2 byava mu kamwa kange ne mbyogera. \q2 Amangwago ne tubikola ne bituukirira.” \q1 \v 4 Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe; \q2 ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma; \q2 ekyenyi ng’ekikomo. \q1 \v 5 Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, \q2 muleme kugamba nti, \q1 “Bakatonda bange be baabikola: \q2 Ekifaananyi kyange ekyole \q2 n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.” \q1 \v 6 Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, \q2 era temubikkirize? \b \q1 “Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja, \q2 eby’ekyama bye mutawulirangako. \q1 \v 7 Mbikola kaakano, \q2 so si ekiseera ekyayita: \q1 mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega \q2 si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’ \q1 \v 8 Towulirangako wadde okutegeera. \q2 Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga. \q1 Kubanga namanya nti wali kyewaggula, \q2 okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu. \q1 \v 9 Olw’erinnya lyange \q2 ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange \q2 ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza. \q1 \v 10 Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. \q2 Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona. \q1 \v 11 Ku lwange nze, \q2 ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa. \q2 Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala. \s1 Isirayiri Enunulibwa \q1 \v 12 “Mpuliriza ggwe Yakobo. \q2 Isirayiri gwe nalonda. \q1 Nze Nzuuyo. \q2 Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero. \q1 \v 13 Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, \q2 era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. \q1 Bwe mbiyita \q2 byombi bijja. \b \q1 \v 14 “Mwekuŋŋaanye mwenna \q2 mujje muwulire! \q1 Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? \q2 \nd Mukama\nd* amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, \q2 era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.\f + \fr 48:14 \fr*\fq Abakaludaaya \fq*\ft be Bababulooni\ft*\f* \q1 \v 15 Nze; Nze nzennyini nze njogedde. \q2 Nze namuyita. \q1 Ndimuleeta \q2 era alituukiriza omulimu gwe. \p \v 16 “Munsemberere muwulirize bino. \q1 “Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. \q2 Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.” \b \q1 Era kaakano \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna \q2 n’Omwoyo we antumye. \b \q1 \v 17 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd*, Omununuzi wammwe, \q2 Omutukuvu wa Isirayiri nti, \q1 “Nze \nd Mukama\nd* Katonda wo \q2 akuyigiriza okukulaakulana, \q2 akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu. \q1 \v 18 Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! \q2 Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! \q2 Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja, \q1 \v 19 ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu \q2 abaana bo ng’obuweke bwagwo. \q1 Erinnya lyabwe teryandivuddewo \q2 wadde okuzikirira nga wendi.” \b \q1 \v 20 Muve mu Babulooni, \q2 mudduke Abakaludaaya. \q1 Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu. \q2 Mugalangirire wonna wonna \q2 n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. \q1 Mugambe nti, “\nd Mukama\nd* anunudde omuddu we Yakobo!” \q1 \v 21 So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. \q2 Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: \q1 yayasa olwazi \q2 amazzi ne gavaamu. \b \q1 \v 22 “Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \c 49 \s1 Omuweereza wa \nd Mukama\nd* \q1 \v 1 Mumpulirize mmwe ebizinga, \q2 mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. \q1 Nnali sinazaalibwa \nd Mukama\nd* n’ampita. \q2 Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange. \q1 \v 2 Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi, \q2 nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe. \q1 Yanfuula akasaale akazigule \q2 era nankweka mu mufuko gwe. \q1 \v 3 Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri, \q2 mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.” \q1 \v 4 Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, \q2 amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa. \q1 Kyokka ate \nd Mukama\nd* yannamula, \q2 n’empeera yange eri ne Katonda wange!” \b \q1 \v 5 Era kaakano \nd Mukama\nd* ayogera, \q2 oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, \q1 okukomyawo Yakobo gy’ali \q2 era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali. \q1 Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga \nd Mukama\nd* \q2 era Katonda wange afuuse amaanyi gange. \q1 \v 6 \nd Mukama\nd* agamba nti, \q1 “Eky’okubeera omuweereza wange \q2 n’okuzza amawanga ga Yakobo \q2 era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. \q1 Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, \q2 olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.” \b \q1 \v 7 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd*, \q2 Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, \q1 eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga, \q2 eri omuweereza w’abafuzi nti, \q1 “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, \q2 abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. \q1 Kino kiribaawo ku lwa \nd Mukama\nd*, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, \q2 oyo akulonze.” \s1 Isirayiri Azzibwawo \p \v 8 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, \q2 ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba. \q1 Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, \q2 muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika, \q1 \v 9 nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ \q2 n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ \b \q1 “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, \q2 ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo. \q1 \v 10 Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, \q2 ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. \q1 Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, \q2 anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi. \q1 \v 11 Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo \q2 era enguudo zange ennene zirigulumizibwa. \q1 \v 12 Laba, abantu bange balidda okuva ewala, \q2 abamu, baliva mu bukiikakkono \q2 n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.” \b \q1 \v 13 Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi. \q2 Muyimbe mmwe ensozi! \q2 Kubanga \nd Mukama\nd* agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa. \b \q1 \v 14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “\nd Mukama\nd* andese, \q2 era Mukama wange anneerabidde.” \b \q1 \v 15 “Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, \q2 n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? \q1 Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira \q2 naye nze sirikwerabira. \q1 \v 16 Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange; \q2 ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange. \q1 \v 17 Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza \q2 era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende. \q1 \v 18 Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. \q2 Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. \q1 Nga bwe ndi Katonda omulamu, \q2 balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi \q2 ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \b \q1 \v 19 “Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa, \q2 kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, \q1 era abo abakuteganya \q2 banaakubeeranga wala. \q1 \v 20 Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse \q2 lumu balyogera ng’owulira nti, \q1 ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; \q2 tuwe ekifo aw’okubeera.’ \q1 \v 21 N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, \q2 ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? \q1 Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. \q2 Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. \q2 Bano baava ludda wa? \q1 Nasigala nzekka, \q2 naye ate bano, baava wa?’ ” \s1 Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa \q1 \v 22 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero \q2 era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: \q1 era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba \q2 ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe. \q1 \v 23 Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, \q2 ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. \q1 Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; \q2 balikomba enfuufu y’omu bigere byo. \q1 Olwo lw’olimanya nti nze \nd Mukama\nd*, \q2 abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.” \b \q1 \v 24 Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, \q2 oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi? \p \v 25 Naye bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd*: \q1 “N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, \q2 n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo, \q1 kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, \q2 era ndirokola mponye abaana bo. \q1 \v 26 Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. \q2 Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. \q1 Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze \nd Mukama\nd* Omulokozi wo, \q2 Omununuzi wo, \q2 ow’Amaanyi owa Yakobo.” \c 50 \s1 Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda \p \v 1 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? \q2 Oba nabatunda eri ani? \q1 Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; \q2 olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa. \q1 \v 2 Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu? \q2 Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula? \q1 Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? \q2 Mbuliddwa amaanyi agakununula? \q1 Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira, \q2 emigga ne ngifuula eddungu, \q1 ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, \q2 ne bivunda olw’okubulwa amazzi. \q1 \v 3 Nyambaza eggulu, \q2 n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.” \b \q1 \v 4 \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna ampadde olulimi \q2 oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. \q1 Anzukusa buli nkya, \q2 buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza. \q1 \v 5 \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna azibudde okutu kwange \q2 ne siba mujeemu. \q2 Sizzeeyo mabega. \q1 \v 6 N’awaayo omugongo gwange eri abankuba, \q2 n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. \q1 Saakweka maaso gange eri abo abansekerera \q2 n’eri abo abanfujjira amalusu. \q1 \v 7 Kubanga \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna anyamba \q2 kyennaava siswazibwa. \q1 Noolwekyo kyenvudde n’egumya \q2 era mmanyi nti siriswazibwa. \q1 \v 8 Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. \q2 Ani alinnumiriza omusango? \q2 Twolekagane obwenyi. \q1 Ani annumiriza? \q2 Ajje annumbe. \q1 \v 9 \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna y’anyamba. \q2 Ani alinsalira omusango? \q1 Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; \q2 ennyenje ziribalya. \b \q1 \v 10 Ani ku mmwe atya \nd Mukama\nd*, \q2 agondera ekigambo ky’omuweereza we? \q1 Oyo atambulira mu kizikiza, \q2 atalina kitangaala \q1 yeesige erinnya lya \nd Mukama\nd* \q2 era yeesigame ku Katonda we. \q1 \v 11 Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, \q2 ne mwekoleereza ettaala z’omuliro, \q1 mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe, \q2 ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. \q1 Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; \q2 muligalamira mu nnaku. \c 51 \s1 Okukubirizibwa Okwesiga Katonda \q1 \v 1 “Mumpulirize, \q2 mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya \nd Mukama\nd*: \q1 Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, \q2 n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa. \q1 \v 2 Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe \q2 ne Saala eyabazaala. \q1 Kubanga we namuyitira yali bw’omu \q2 ne mmuwa omukisa ne mmwaza. \q1 \v 3 Kubanga ddala \nd Mukama\nd* alikubagiza Sayuuni; \q2 akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika \q1 era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, \q2 n’eddungu libeere ng’ennimiro ya \nd Mukama\nd*; \q1 Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, \q2 okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba. \b \q1 \v 4 “Mumpulirize, mmwe abantu bange; \q2 era muntegere okutu mmwe ensi yange. \q1 Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, \q2 obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga. \q1 \v 5 Obutuukirivu bwange \q2 busembera mangu nnyo, \q2 obulokozi bwange buli mu kkubo. \q1 Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. \q2 Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola. \q1 \v 6 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, \q2 mutunuulire ensi wansi! \q1 Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka \q2 n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. \q2 Abagituulamu balifa ng’ensowera. \q1 Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, \q2 so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga. \b \q1 \v 7 “Mumpulirize, \q2 mmwe abamanyi obutuukirivu, \q1 eggwanga eririna amateeka gange \q2 mu mitima gyammwe. \q1 Temutya kuvumibwa bantu \q2 wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe. \q1 \v 8 Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo. \q2 N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga. \q1 Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna. \q2 Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.” \b \q1 \v 9 Zuukuka, \q2 zuukuka oyimuke otuyambe Ayi \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 Kozesa amaanyi go otuyambe. \q2 Gakozese nga edda. \q1 Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi? \q2 Si ye ggwe eyafumita ogusota? \q1 \v 10 Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, \q2 amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo \q1 ne gafuuka ekkubo \q2 abantu be wanunula bayitewo? \q1 \v 11 N’abo \nd Mukama\nd* be wawonya \q2 balikomawo \q2 ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. \q1 Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. \q2 Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke. \s1 \nd Mukama\nd* Alinunula Abantu be \q1 \v 12 “Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. \q2 Mmwe baani abatya omuntu alifa, \q2 n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo, \q1 \v 13 ne weerabira \nd Mukama\nd* Omutonzi wo \q2 eyabamba eggulu, \q2 n’ateekawo n’emisingi gy’ensi, \q1 ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya \q2 obusungu bw’abo abakunyigiriza, \q2 oyo eyemalidde mu kuzikiriza? \q1 Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza? \q2 \v 14 Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, \q1 tebalifiira mu bunnya, \q2 era tebalibulwa mmere gye balya. \q1 \v 15 Kubanga nze \nd Mukama\nd* Katonda wo, \q2 asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma: \q2 \nd Mukama\nd* ow’Eggye lye linnya lye. \q1 \v 16 Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, \q2 era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. \q1 Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; \q2 era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, \q2 ‘Muli bantu bange!’ ” \s1 Ekikopo ky’Obusungu bwa \nd Mukama\nd* \q1 \v 17 Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi \q2 eyanywa okuva eri \nd Mukama\nd* ekikompe eky’obusungu bwe, \q1 eyanywa n’omaliramu ddala \q2 ekibya ekitagaza. \q1 \v 18 Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala \q2 tewali n’omu wa kumukulembera. \q1 Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza \q2 tewali n’omu wa kumukwata ku mukono. \q1 \v 19 Ebintu bino ebibiri bikuguddeko \q2 ani anaakunakuwalirako? \q1 Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala, \q2 ani anaakubeesabeesa? \q1 \v 20 Batabani bo bazirise, \q2 bagudde ku buli nsonda y’oluguudo \q2 ng’engabi egudde mu kitimba. \q1 Babuutikiddwa ekiruyi kya \nd Mukama\nd*, \q2 n’okunenyezebwa kwa Katonda wo. \b \q1 \v 21 Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge. \q1 \v 22 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna, \q2 Katonda wo alwanirira abantu be. \q1 “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa \q2 olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. \q1 Temuliddayo \q2 kukinywa nate. \q1 \v 23 Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti, \q2 ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ \q1 Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka, \q2 ng’oluguudo olw’okulinnyirira.” \c 52 \s1 Katonda Alizzaawo Yerusaalemi \q1 \v 1 Zuukuka, zuukuka, \q2 oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. \q1 Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, \q2 teekako ebyambalo byo ebitemagana. \q1 Kubanga okuva leero mu miryango gyo \q2 temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu. \q1 \v 2 Weekunkumuleko enfuufu, \q2 yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi. \q1 Weesumulule enjegere mu bulago bwo, \q2 ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa. \p \v 3 Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Mwatundibwa bwereere \q2 era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.” \p \v 4 Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna nti, \q1 “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, \q2 oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga. \p \v 5 “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? \q1 “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere \q2 era abo ababafuga babasekerera,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 “Erinnya lyange \q2 livvoolebwa olunaku lwonna. \q1 \v 6 Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. \q2 Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. \q1 Weewaawo, Nze.” \q1 \v 7 Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, \q2 alangirira emirembe, \q2 aleeta ebigambo ebirungi, \q1 alangirira obulokozi, \q2 agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.” \q1 \v 8 Wuliriza! \q2 Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. \q1 Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. \q2 Kubanga okudda kwa \nd Mukama\nd* mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe. \q1 \v 9 Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, \q2 mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. \q1 Kubanga \nd Mukama\nd* asanyusizza abantu be, \q2 anunudde Yerusaalemi. \q1 \v 10 \nd Mukama\nd* aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, \q2 bagulabe. \q1 Enkomerero z’ensi zonna \q2 ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. \b \q1 \v 11 Mugende, mugende muveewo awo. \q2 Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. \q1 Mukifulumemu mubeere balongoofu \q2 mmwe abasitula ebyombo bya \nd Mukama\nd*. \q1 \v 12 Naye temulivaamu nga mwanguyiriza \q2 so temuligenda nga mudduka; \q1 kubanga \nd Mukama\nd* alibakulembera abasookeyo; \q2 Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma. \s1 Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa \nd Mukama\nd* \q1 \v 13 Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, \q2 aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa. \q1 \v 14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, \q2 endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, \q2 era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu, \q1 \v 15 bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi; \q2 bakabaka balibunira ku lulwe; \q1 kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, \q2 era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera. \c 53 \q1 \v 1 Ani akkiriza ebigambo byaffe, \q2 era ani abikkuliddwa omukono gwa \nd Mukama\nd*? \q1 \v 2 Kubanga yakulira mu maaso ga \nd Mukama\nd* ng’ekisimbe ekigonvu \q2 era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu. \q1 Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; \q2 tewaali kalungi mu ye katumwegombesa. \q1 \v 3 Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. \q2 Tetwayagala na kumutunulako, \q1 ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, \q2 bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu. \b \q1 \v 4 Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, \q2 obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. \q1 Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe \q2 kyali kibonerezo okuva eri Katonda. \q1 \v 5 Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. \q2 Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. \q1 Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. \q2 Ebiwundu bye, bye bituwonya. \q1 \v 6 Ffenna twawaba ng’endiga; \q2 buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye; \q1 \nd Mukama\nd* n’amuteekako \q2 obutali butuukirivu bwaffe ffenna. \b \q1 \v 7 Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa \q2 naye talina kye yanyega, \q1 yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, \q2 era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika, \q2 bw’atyo bwe yasirika. \q1 \v 8 Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa. \q2 Ani amanyi ku bye zadde lye? \q1 Yaggyibwa mu nsi y’abalamu, \q2 ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange. \q1 \v 9 Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi, \q2 n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe, \q1 newaakubadde nga teyazza musango \q2 wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba. \b \q1 \v 10 Songa ate yali nteekateeka ya \nd Mukama\nd* okumubetenta, \q2 era n’okumuleetera okubonaabona. \q1 Naye wadde nga \nd Mukama\nd* yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, \q2 era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo \nd Mukama\nd* by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe. \q1 \v 11 Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe, \q2 bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. \q1 Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; \q2 era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. \q1 \v 12 Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi, \q2 era aligabira bangi omunyago \q1 kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, \q2 n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi. \q1 Era yeetikka ebibi by’abangi \q2 era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi. \c 54 \s1 Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma \q1 \v 1 “Yimba ggwe omugumba \q2 atazaalanga; \q1 tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala \q2 ggwe atalumwanga kuzaala. \q1 Kubanga ggwe eyalekebwa \q2 ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 2 “Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, \q1 tokwata mpola; \q2 nyweza enkondo zo. \q1 \v 3 Kubanga olisaasaanira \q2 ku mukono gwo ogwa ddyo \q2 era n’ogwa kkono, \q1 n’ezzadde lyo lirirya amawanga, \q2 era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere. \b \q1 \v 4 “Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. \q2 Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. \q1 Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, \q2 n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate. \q1 \v 5 Kubanga Omutonzi wo ye balo, \q2 \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye lye linnya lye. \q1 Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, \q2 Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa. \q1 \v 6 Kubanga \nd Mukama\nd* Katonda yakuyita okomewo, \q2 ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; \q1 omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” \q2 bw’ayogera Katonda wo. \q1 \v 7 “Nakulekako akaseera katono nnyo; \q2 naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi. \q1 \v 8 Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata \q2 nakweka amaaso gange okumala ekiseera, \q1 naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 Omununuzi wo. \b \q1 \v 9 “Kubanga gye ndi, \q2 bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. \q1 Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, \q2 bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya. \q1 \v 10 Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo \q2 naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana \q1 so n’endagaano yange ey’emirembe \q2 teriggyibwawo,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda akusaasira. \s1 Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja \q1 \v 11 \nd Mukama\nd* agamba nti, \q2 “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; \q2 laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi, \q2 emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro. \q1 \v 12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu, \q2 n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, \q2 ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo. \q1 \v 13 N’abaana bo bonna baliyigirizibwa \nd Mukama\nd*; \q2 n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi. \q1 \v 14 Olinywezebwa mu butuukirivu \q2 era toojoogebwenga, \q1 kubanga tolitya, \q2 onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera. \q1 \v 15 Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi. \q2 Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo. \q1 \v 16 Laba nze natonda omuweesi, \q2 awujja amanda agaliko omuliro \q2 n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo. \q1 Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu. \q2 \v 17 Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, \q2 era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. \q1 Guno gwe mugabo gw’abaddu ba \nd Mukama\nd*, \q2 n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \c 55 \s1 Abalumwa Ennyonta Bayitibwa \q1 \v 1 “Kale mujje, \q2 mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. \q1 Mujje mmwe abatalina ssente zigula, \q2 mujje muweebwe bye mwagala, \q1 envinnyo oba amata ebitali bya kugula \q2 ebitaliiko miwendo gya kusasula. \q1 \v 2 Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya \q2 muteganira ebyo ebitakkusa? \q1 Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, \q2 emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo. \q1 \v 3 Mumpulirize mujje gye ndi. \q2 Muwulirize mubeere balamu; \q1 nnaabakolera endagaano ey’olubeerera, \q2 era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi. \q1 \v 4 Laba namufuula omujulirwa eri abantu, \q2 omukulembeze era omugabe w’abantu. \q1 \v 5 Laba oliyita amawanga g’otomanyi, \q2 era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli. \q1 Kiribaawo olw’obuyinza bwa \nd Mukama\nd* Katonda wo \q2 era Omutukuvu wa Isirayiri \q2 kubanga akugulumizza.” \q1 \v 6 Munoonye \nd Mukama\nd* nga bw’akyayinzika okulabika, \q2 mumukaabirire nga bw’akyali okumpi. \q1 \v 7 Omubi aleke ekkubo lye, \q2 n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. \q1 Leka adde eri \nd Mukama\nd* naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe \q2 kubanga anaamusonyiyira ddala. \b \q1 \v 8 “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe \q2 era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 9 “Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, \q2 bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, \q2 n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe. \q1 \v 10 Era ng’enkuba bwetonnya \q2 n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu \q1 n’ebitaddayo, \q2 wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, \q1 ne bimerusa ensigo z’omusizi, \q2 era ne biwa omuli emmere, \q1 \v 11 bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; \q2 tekiriddayo bwereere, \q1 naye kirikola ekyo kye njagala \q2 era kirituukiriza ekyo kye nakituma. \q1 \v 12 Kubanga mulifuluma n’essanyu \q2 ne mugenda mirembe, \q1 ensozi n’obusozi nabyo \q2 ne bitandika okuyimba nga bibalabye, \q1 n’emiti gyonna \q2 ne gitendereza n’essanyu. \q1 \v 13 Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya, \q2 ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi. \q1 Era kino kiribaawo erinnya lya \nd Mukama\nd* limanyibwe \q2 era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo \q2 ak’emirembe n’emirembe.” \c 56 \s1 Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna \p \v 1 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, \q2 kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, \q1 n’obutuukirivu bwange \q2 bunatera okubikkulibwa. \q1 \v 2 Alina omukisa omuntu akola ekyo, \q2 n’omwana w’omuntu akinyweererako. \q1 Akwata ssabbiiti obutagyonoona, \q2 n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.” \b \q1 \v 3 Era ne munnaggwanga eyeegatta ku \nd Mukama\nd* tayogeranga nti, \q2 “\nd Mukama\nd*, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” \q1 so n’omulaawe okugamba nti, \q2 “Ndi muti mukalu.” \p \v 4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange \q2 ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, \q2 ne bakuuma endagaano yange, \q1 \v 5 amannya gaabwe galijjukirwa \q2 mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo \q2 n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. \q1 Ndibawa erinnya eritaliggwaawo \q2 ery’emirembe n’emirembe. \q1 \v 6 N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku \nd Mukama\nd*, \q2 okumuweereza era n’okwagala erinnya lya \nd Mukama\nd* \q1 era n’okubeera abaweereza be, \q2 abakwata ssabbiiti \q1 ne batagyonoona \q2 era ne banyweza endagaano yange, \q1 \v 7 bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu \q2 era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. \q1 Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe \q2 birikkirizibwa ku kyoto kyange. \q1 Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu \q2 eri amawanga gonna.” \q1 \v 8 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna, \q2 akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, \q1 “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala \q2 ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.” \s1 Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe \q1 \v 9 \nd Mukama\nd* agamba amawanga amalala okujja \q2 ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be. \q1 \v 10 Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, \q2 bonna tebalina magezi, \q1 bonna mbwa \q2 ezitasobola kuboggola, \q1 zibeera mu kuloota nakugalaamirira \q2 ezaagala okwebaka obwebasi. \q1 \v 11 Embwa ezirina omululu omuyitirivu \q2 ezitakkuta. \q1 Basumba abatayinza kutegeera, \q2 bonna abakyamye mu makubo gaabwe; \q2 buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya. \q1 \v 12 Bagambagana nti, \q2 “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. \q1 N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero, \q2 oba n’okusingawo.” \c 57 \q1 \v 1 Abantu abatuukirivu bazikirira, \q2 naye tewali akirowoozako n’akatono. \q1 Abantu abeewaddeyo eri Katonda \q2 batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako. \q1 Kubanga omutuukirivu aggyibwawo \q2 olw’akabi akagenda okujja. \q1 \v 2 Ayingira mu mirembe \q2 n’afuna okuwummulira mu kufa kwe, \q2 ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu. \b \q1 \v 3 “Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu \q2 ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda. \q1 \v 4 Muzannyira ku ani? \q2 Ani gwe mukongoola \q2 ne mumusoomooza? \q1 Temuli baana ba bujeemu, \q2 ezzadde eryobulimba? \q1 \v 5 Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti \q2 na buli wansi wa buli muti oguyimiridde; \q1 mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu \q2 ne wansi w’enjatika z’enjazi. \q1 \v 6 Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu\f + \fr 57:6 \fr*\ft Amayinja amaweweevu gaakozesebwanga mu kusinza balubaale\ft*\f* gosinziza mu biwonvu, \q2 abo be babo, obusika bwo; \q1 abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa \q2 era n’ebiweebwayo eby’empeke. \q2 Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka? \q1 \v 7 Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda \q2 nga mugenze okuwaayo ssaddaaka. \q1 \v 8 Emabega w’enzigi zammwe \q2 we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza. \q1 Mwandeka ne mukola eby’obuwemu \q2 mu bitanda byammwe ebigazi. \q1 Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano \q2 n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe. \q1 \v 9 Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu \q2 ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, \q1 n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, \q2 kumpi batuuke n’emagombe. \q1 \v 10 Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo \q2 naye teweegamba nako nti, \q1 ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ \q2 Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise. \b \q1 \v 11 “B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza, \q2 n’olyoka olimba, \q1 nze n’otonzijukira n’akatono \q2 wadde okundowoozaako? \q1 Olw’okubanga nsirise n’esikunyega \q2 ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso. \q1 \v 12 Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola, \q2 naye tebigenda kukugasa. \q1 \v 13 Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi, \q2 leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; \q1 naye empewo eribatwala, \q2 omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. \q1 Naye oyo anfuula ekiddukiro kye \q2 alirya ensi \q2 era alitwala olusozi lwange olutukuvu.” \s1 Ekisa eri Abeenenya \p \v 14 Era kiryogerwa nti, \q1 “Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo! \q2 Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.” \q1 \v 15 Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu \q2 omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, \q1 ow’erinnya ettukuvu nti, \q2 “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu \q1 awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, \q2 okuzzaamu amaanyi \q1 omwoyo gw’abakkakkamu, \q2 era n’ogw’abo ababoneredde. \q1 \v 16 Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe \q2 era siribasunguwalira bbanga lyonna. \q1 Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba, \q2 emmeeme y’omuntu nze gye nakola. \q1 \v 17 Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu. \q2 Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi \q2 naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi. \q1 \v 18 Nalaba by’akola, naye ndimuwonya. \q2 Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga. \q2 \v 19 Mirembe, era mirembe, \q1 eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi, \q2 era ndibawonya,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \q1 \v 20 Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, \q2 eteyinza kutereera, \q2 ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka. \q1 \v 21 “Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange. \c 58 \s1 Okusiiba okw’Amazima \q1 \v 1 Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka, \q2 tokisirikira. \q1 Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,\f + \fr 58:1 \fr*\ft Ekkondeere lyafuuyibwanga okukuŋŋaanya abaserikale beetegeke okulaga mu lutalo\ft*\f* \q2 obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe. \q1 \v 2 Kubanga bannoonya buli lunaku \q2 era beegomba okumanya amakubo gange, \q1 nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu \q2 so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. \q1 Bambuuza ensala ennuŋŋamu, \q2 ne basanyukira Katonda okusembera gye bali. \q1 \v 3 Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako? \q2 Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?” \q1 Musooke mulabe, \q2 ennaku ze musiiba \q1 muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, \q2 musigala munyigiriza abakozi bammwe. \q1 \v 4 Njagala mulabe. \q2 Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo, \q1 n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde. \q2 Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu. \q1 \v 5 Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? \q2 Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako? \q1 Kukutamya bukutamya mutwe, \q2 kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu? \q1 Okwo kwe muyita okusiiba, \q2 olunaku olusiimibwa \nd Mukama\nd*? \b \q1 \v 6 Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; \q1 okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, \q2 n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, \q1 n’okuta abo abanyigirizibwa, \q2 n’okumenya buli kikoligo? \q1 \v 7 Si kugabira bayala ku mmere yo, \q2 n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; \q1 bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza \q2 n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo? \q1 \v 8 Awo omusana gwo gulyoke guveeyo \q2 gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; \q1 obutuukirivu bwo bukukulembere, \q2 era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega. \q1 \v 9 Olwo olikoowoola, \nd Mukama\nd* n’akuddamu; \q2 olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano. \b \q1 “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza \q2 n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo; \q1 \v 10 bw’olyewaayo okuyamba abayala \q2 n’odduukirira abali mu buzibu, \q1 olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, \q2 ekibadde ekiro kifuuke ettuntu. \q1 \v 11 Era \nd Mukama\nd* anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, \q2 n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, \q2 amagumba go aligongeramu amaanyi; \q1 era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, \q2 era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira. \q1 \v 12 N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika \q2 era baddemu okuzimba emisingi egy’edda. \q1 Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, \q2 omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu. \b \q1 \v 13 “Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, \q2 obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu, \q1 bw’onooluyitanga olw’essanyu \q2 era olunaku lwa \nd Mukama\nd* olw’ekitiibwa, \q1 singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe \q2 oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata, \q1 \v 14 awo olifuna essanyu eriva eri \nd Mukama\nd* \q2 era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu \q2 era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo” \q1 Akamwa ka \nd Mukama\nd* ke kakyogedde. \c 59 \s1 Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa \q1 \v 1 Mulabe, omukono gwa \nd Mukama\nd* teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola, \q2 era si muzibe wa matu nti tawulira. \q1 \v 2 Naye obutali butuukirivu bwammwe \q2 bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. \q1 Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, \q2 n’atawulira. \q1 \v 3 Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi \q2 n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu, \q1 emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba, \q2 n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko. \q1 \v 4 Tewali awaaba bya nsonga \q2 so tewali awoza mu mazima; \q1 Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba, \q2 ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe. \q1 \v 5 Baalula amagi ag’essalambwa \q2 ne balanga ewuzi za nnabbubi: \q1 alya ku magi gaabwe afa \q2 n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa. \q1 \v 6 Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba, \q2 ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi! \q1 Tebasobola kuzeebikka. \q2 Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe. \q1 \v 7 Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi \q2 era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango. \q1 Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi, \q2 n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda. \q1 \v 8 Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi \q2 wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe. \q1 Beekubidde amakubo, \q2 tewali n’omu agayitamu afuna emirembe. \b \q1 \v 9 Amazima gatuli wala, \q2 n’obutuukirivu tetubufunye. \q1 Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko, \q2 we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere. \q1 \v 10 Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe, \q2 ne tukwatakwata ng’abatalina maaso; \q1 twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi \q2 ne tuba ng’abafu. \q1 \v 11 Ffenna tuwuluguma ng’eddubu \q2 ne tusinda nga bukaamukuukulu. \q1 Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere, \q2 n’obulokozi butuliwala. \q1 \v 12 Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go \q2 era ebibi byaffe bitulumiriza, \q1 kubanga ebisobyo byaffe biri naffe, \q2 era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe; \q1 \v 13 obujeemu n’enkwe eri \nd Mukama\nd* \q2 era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe. \q1 Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza, \q2 okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza. \q1 \v 14 Obwenkanya buddiridde \q2 n’obutuukirivu ne bubeera wala. \q1 Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira. \q1 \v 15 Tewali w’oyinza kusanga mazima, \q2 era oyo ava ku kibi asuulibwa. \b \q1 \nd Mukama\nd* yakiraba n’atasanyuka \q2 kubanga tewaali bwenkanya. \q1 \v 16 N’alaba nga tewali muntu, \q2 ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira. \q1 Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini \q2 okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula. \q1 \v 17 Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba, \q2 era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe; \q1 n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga \q2 era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro. \q1 \v 18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri \q2 bwalisasula ekiruyi ku balabe be, \q1 n’abamukyawa \q2 alibawa empeera yaabwe, \q2 n’abo abali ewala mu bizinga abasasule. \q1 \v 19 Noolwekyo balitya erinnya lya \nd Mukama\nd* okuva ebugwanjuba, \q2 n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba, \q1 kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi, \q2 omukka gwa \nd Mukama\nd* gwe gutwala. \b \q1 \v 20 “Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, \q2 eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \p \v 21 “Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera \nd Mukama\nd*. \c 60 \s1 Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja \q1 \v 1 “Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase \q2 era ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* kikwakirako. \q1 \v 2 Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza \q2 era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, \q1 naye ggwe \nd Mukama\nd* alikwakirako \q2 era ekitiibwa kye kikulabikeko. \q1 \v 3 Amawanga galijja eri omusana gwo \q2 ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja. \b \q1 \v 4 “Yimusa amaaso go olabe; \q2 abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli \q1 batabani bo abava ewala ne bawala bo \q2 abasituliddwa mu mikono. \q1 \v 5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, \q2 omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza. \q1 Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, \q2 era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna. \q1 \v 6 Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe, \q2 eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.\f + \fr 60:6 \fr*\fq Midiyaani \fq*\ft lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani\ft*\f* \q1 Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane \q2 okulangirira ettendo lya Katonda. \q1 \v 7 N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa, \q2 endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza. \q1 Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange \q2 era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange. \b \q1 \v 8 “Bano baani abaseyeeya nga ebire, \q2 ng’amayiba agadda mu bisu byago? \q1 \v 9 Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze; \q2 ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde \q1 bireete batabani bammwe okubaggya ewala \q2 awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza, \q1 olw’ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* Katonda wammwe, \q2 Omutukuvu wa Isirayiri, \q2 kubanga akufudde ow’ekitiibwa. \b \q1 \v 10 “Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo, \q2 era bakabaka baabwe bakuweereze; \q1 Olw’obusungu bwange, nakukuba, \q2 naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa. \q1 \v 11 Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo, \q2 emisana n’ekiro tegiggalwenga, \q1 abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe \q2 nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe. \q1 \v 12 Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. \q2 Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala. \b \q1 \v 13 “Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, \q2 emiti egy’ettendo egy’enfugo, \q1 omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange, \q2 ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo. \q1 \v 14 Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; \q2 era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. \q1 Balikuyita kibuga kya Katonda, \q2 Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda. \b \q1 \v 15 “Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa, \q2 nga tewali n’omu akuyitamu, \q1 ndikufuula ow’ettendo, \q2 essanyu ery’emirembe gyonna. \q1 \v 16 Olinywa amata ag’amawanga. \q2 Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga, \q1 era olimanyira ddala nti, \q2 Nze, nze \nd Mukama\nd*, \q1 nze Mulokozi wo era Omununuzi wo, \q2 ow’Amaanyi owa Yakobo. \q1 \v 17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu, \q2 mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza, \q1 mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, \q2 ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma. \q1 Emirembe gye girifuuka omufuzi wo \q2 n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo. \q1 \v 18 Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo, \q2 wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo. \q1 Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, \q2 Era n’enzigi zo, Kutendereza. \q1 \v 19 Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, \q2 oba omwezi okukumulisizanga ekiro. \q1 Kubanga \nd Mukama\nd* y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, \q2 era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo. \q1 \v 20 Enjuba yo terigwa nate, \q2 n’omwezi gwo tegulibula; \q1 \nd Mukama\nd* y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe \q2 era ennaku zo ez’okukungubanga zikome. \q1 \v 21 Abantu bo babeere batuukirivu, \q2 ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe. \q1 Ekisimbe kye nnesimbira; \q2 omulimu gw’emikono gyange, \q2 olw’okulaga ekitiibwa kyange. \q1 \v 22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, \q2 n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi. \q1 Nze \nd Mukama\nd*, \q2 ndikyanguya mu biseera byakyo.” \c 61 \s1 Amawulire Amalungi ag’Obulokozi \q1 \v 1 Omwoyo wa \nd Mukama\nd* Katonda ali ku nze, \q2 kubanga \nd Mukama\nd* anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, \q2 antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. \q1 Okulangirira eddembe eri abawambe, \q2 n’abasibe bateebwe \q2 bave mu makomera. \q1 \v 2 Okulangirira omwaka gwa \nd Mukama\nd* \q2 ogw’okulabiramu obulungi bwe; \q1 olunaku lwa \nd Mukama\nd* olw’okuwalanirako eggwanga \q2 era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga. \q2 \v 3 Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, \q1 okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, \q2 n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. \q1 Ekyambalo ky’okutendereza \q2 mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa \q1 balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya \nd Mukama\nd*, \q2 balyoke baweebwe ekitiibwa. \b \q1 \v 4 Baliddamu \q2 bazimbe ebyali bizise, \q1 balirongoosa ebibuga \q2 ebyali byerabirwa edda. \q1 \v 5 Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, \q2 abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu. \q1 \v 6 Era muyitibwe bakabona ba \nd Mukama\nd*, \q2 abantu baliboogerako ng’abaweereza ba \nd Mukama\nd*, \q1 mulirya obugagga bw’amawanga, \q2 era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza. \b \q1 \v 7 Mu kifo ky’ensonyi, \q2 abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. \q1 Mu kifo ky’okuswala \q2 basanyuke olw’ebyo bye balifuna \q1 era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, \q2 essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna. \b \q1 \v 8 “Kubanga nze, \nd Mukama\nd*, njagala obwenkanya, \q2 nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. \q1 Mu bwesigwa bwange ndibasasula \q2 era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe. \q1 \v 9 N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga \q2 n’abaana baabwe eri abantu. \q1 Abo bonna abalibalaba balibamanya, \q2 nti bantu \nd Mukama\nd* be yawa omukisa.” \b \q1 \v 10 Nsanyukira nnyo mu \nd Mukama\nd*, \q2 emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. \q1 Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi \q2 era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, \q1 ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, \q2 ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo. \q1 \v 11 Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, \q2 era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, \q1 bw’atyo \nd Mukama\nd* Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, \q2 ensi zonna zikirabe. \c 62 \s1 Erinnya lya Sayuuni Eriggya \q1 \v 1 Ku lwa Sayuuni ssiisirike, \q2 era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule, \q1 okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala, \q2 obulokozi bwe ng’ettaala eyaka. \q1 \v 2 Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, \q2 era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. \q1 Oliyitibwa erinnya epya \q2 akamwa ka \nd Mukama\nd* lye kalikuwa. \q1 \v 3 Olibeera ngule etemagana mu mikono gya \nd Mukama\nd*, \q2 enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo. \q1 \v 4 Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, \q2 ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. \q1 Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, \q2 n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. \q1 Kubanga \nd Mukama\nd* akusanyukira \q2 era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa. \q1 \v 5 Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto \q2 bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. \q1 Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, \q2 bw’atyo Katonda bwalikusanyukira. \b \q1 \v 6 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, \q2 ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro. \q1 Mmwe abakoowoola \nd Mukama\nd* \q2 temuwummula. \q1 \v 7 Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi \q2 era ng’agifudde ettendo mu nsi. \b \q1 \v 8 \nd Mukama\nd* yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo \q2 era n’omukono gwe ogw’amaanyi: \q1 “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo, \q2 era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde. \q1 \v 9 Naye abo abagikungula be baligirya \q2 ne batendereza \nd Mukama\nd*, \q1 n’abo abanoga emizabbibu \q2 be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.” \b \q1 \v 10 Muyiteemu, muyite mu miryango mugende! \q1 Muzimbe oluguudo, \q2 mulugyemu amayinja. \q1 Muyimusize amawanga ebbendera. \b \q1 \v 11 Laba \nd Mukama\nd* alangiridde \q2 eyo yonna ensi gy’ekoma, \q1 nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, \q2 ‘Laba omulokozi wo ajja, \q1 Laba aleeta n’ebirabo bingi, \q2 n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ” \q1 \v 12 Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, \q2 Abanunule ba \nd Mukama\nd*, \q1 ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga \nd Mukama\nd* ky’ayagala, \q2 Ekibuga Ekitakyali ttayo. \c 63 \s1 Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be \q1 \v 1 Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula \q2 anekaanekanye mu ngoye emyufu. \q1 Ani ono ali mu ngoye za bakabaka \q2 akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye? \b \q1 “Ye nze alangirira obutuukirivu, \q2 ow’amaanyi okulokola.” \b \q1 \v 2 Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu \q2 ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini? \b \q1 \v 3 “Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, \q2 tewali n’omu yajja kunnyambako. \q1 Nabalinnyiririra mu busungu \q2 era omusaayi gwabwe \q1 ne gusammukira ku ngoye zange, \q2 era guyiise ku byambalo byange. \q1 \v 4 Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse, \q2 olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe. \q1 \v 5 Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba, \q2 newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako. \q1 Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, \q2 era obusungu bwange ne bunnyweza. \q1 \v 6 Mu busungu bwange nalinnyirira abantu, \q2 mu kiruyi kyange ne mbatamiiza, \q2 omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.” \b \q1 \v 7 Ndibuulira ku bulungi bwa \nd Mukama\nd*, \q2 ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, \q2 okusinziira ku byonna \nd Mukama\nd* by’atukoledde; \q1 weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, \q2 okusinziira ku kisa kye, \q2 okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka. \q1 \v 8 Yagamba nti, “Ddala bantu bange, \q2 abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” \q2 era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe. \q1 \v 9 Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, \q2 era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya. \q1 Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula; \q2 yabayimusa \q2 n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda. \q1 \v 10 Naye baajeema \q2 ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, \q1 kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe \q2 era ye kennyini n’abalwanyisa. \b \q1 \v 11 Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda, \q2 ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be; \q1 aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye. \q2 Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo \q1 \v 12 eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa \q2 ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, \q1 eyayawulamu amazzi nga balaba, \q2 yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe? \q1 \v 13 Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba? \q2 Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala. \q1 \v 14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde, \q2 Omwoyo wa \nd Mukama\nd* yabawummuza. \q1 Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo \q2 okwekolera erinnya ery’ettendo. \q1 \v 15 Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe, \q2 ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu. \q1 Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa? \q2 Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa. \q1 \v 16 Ggwe Kitaffe, \q2 wadde nga Ibulayimu tatumanyi \q2 era nga Isirayiri tatutegeera, \q1 Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe \q2 okuva edda n’edda lye linnya lyo. \q1 \v 17 Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, \q2 n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? \q1 Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo \q2 amawanga g’omugabo gwo. \q1 \v 18 Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, \q2 naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde. \q1 \v 19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda; \q2 naye bo tobafuganga, \q2 tebayitibwanga linnya lyo. \c 64 \s1 Okusingibwa Omusango mu Maaso ga \nd Mukama\nd* \q1 \v 1 Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi, \q2 ensozi ne zikankana mu maaso go! \q1 \v 2 Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku, \q2 oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, \q1 ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, \q2 n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go! \q1 \v 3 Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira, \q2 wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go. \q1 \v 4 Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde \q2 oba kutu kwali kutegedde, \q1 oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, \q2 alwanirira abo abamulindirira. \q1 \v 5 Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu, \q2 abo abajjukira amakubo go. \q1 Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. \q2 Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, \q2 ddala tulirokolebwa? \q1 \v 6 Ffenna twafuuka batali balongoofu \q2 era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu\f + \fr 64:6 \fr*\ft obukyafu wano kitegeeza abakyala nga bavudde mu nsonga yaabwe eya buli mwezi\ft*\f*. \q1 Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola, \q2 era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo. \q1 \v 7 Tewali n’omu akoowoola linnya lyo \q2 oba eyewaliriza okukukwatako, \q1 kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, \q2 era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe. \b \q1 \v 8 Ate ng’era, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, ggwe Kitaffe. \q2 Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, \q2 ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo. \q1 \v 9 Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, \q2 tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. \q1 Weewaawo, tutunuulire, tusaba, \q2 kubanga tuli bantu bo. \q1 \v 10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu, \q2 ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa. \q1 \v 11 Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa \q2 bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro, \q2 era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira. \q1 \v 12 Nga bino byonna biguddewo, \nd Mukama\nd*, era toofeeyo? \q2 Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde? \c 65 \s1 Omusango n’Obulokozi \q1 \v 1 \nd Mukama\nd* n’alyoka agamba nti, \q2 “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. \q1 Neeraga abo abaali tebannoonya. \q2 Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’ \q1 \v 2 Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba \q2 eri abantu abeewagguzze, \q1 abatambulira mu makubo amabi \q2 abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe; \q1 \v 3 abantu bulijjo \q2 abansomooza mu maaso gange gennyini \q1 nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro \q2 ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali; \q1 \v 4 abatuula mu malaalo \q2 ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, \q1 abalya ennyama y’embizzi, \q2 era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu. \q1 \v 5 Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, \q2 kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ \q1 Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, \q2 omuliro ogwaka olunaku lwonna. \b \q1 \v 6 “Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange. \q2 Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu, \q2 nzija kubasasula bibatuukireko ddala; \q1 \v 7 olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi \q2 era ne bannyoomera ku busozi, \q1 ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu \q2 ey’ebikolwa byabwe eby’edda.” \p \v 8 Bw’atyo bw’ayogera \nd Mukama\nd*: \q1 “Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu \q2 abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, \q2 gukyalimu akalungi,’ \q1 bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange. \q2 Sijja kubasaanyaawo bonna. \q1 \v 9 Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo \q2 era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; \q1 abantu bange abalonde balizigabana, \q2 era eyo abaweereza bange gye balibeera. \q1 \v 10 Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, \q2 era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira \q2 olw’abantu bange abannoonya. \b \q1 \v 11 “Naye mmwe abava ku \nd Mukama\nd* \q2 ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu \q1 ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa, \q2 ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo, \q1 \v 12 ndibawaayo eri ekitala \q2 era mwenna mukutaamirire musalibwe, \q1 kubanga nabayita naye temwayitaba, \q2 nayogera naye temwampuliriza. \q1 Mwakola ebitasaana \q2 era ne musalawo okukola ebitansanyusa.” \p \v 13 Noolwekyo kino \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna ky’agamba: \q1 “Abaweereza bange bajja kulya, \q2 naye mmwe mujja kulumwa enjala, \q1 abaweereza bange bajja kunywa, \q2 naye mmwe mulumwe ennyonta; \q1 abaweereza bange bajja kujaguza, \q2 naye mmwe mukwatibwe ensonyi. \q1 \v 14 Abaweereza bange bajja kuyimba \q2 olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe, \q1 naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe \q2 era mukaabe olw’okulumwa emyoyo. \q1 \v 15 Ekikolimo kiryoke kibagwire, \q2 Nze \nd Mukama\nd* Katonda ow’Eggye mbatte \q1 amannya gammwe geerabirwe, \q2 naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera. \q1 \v 16 Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa \q2 anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima \q1 buli anaalayiranga mu ggwanga \q2 anaalayiranga Katonda ow’amazima. \q1 Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa \q2 gikwekebwe okuva mu maaso gange. \s1 Eggulu Epya n’Ensi Empya \q1 \v 17 “Laba nditonda eggulu eriggya \q2 n’ensi empya. \q1 Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa \q2 wadde okulowoozebwako mu mutima. \q1 \v 18 Naye musanyukire ekyo kye ntonda \q2 mujaguze emirembe n’emirembe, \q1 kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu \q2 n’abantu baamu okuba okujaguza. \q1 \v 19 Ndijaguza olwa Yerusaalemi \q2 era nsanyukire abantu bange; \q1 amaloboozi ag’okukaaba \q2 tegaliddayo kuwulirwamu. \b \q1 \v 20 “Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere \q2 anaaberawo ennaku obunaku, \q2 oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; \q1 oyo alifiira ku myaka ekikumi \q2 alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. \q1 Oyo atalituusa kikumi \q2 abalibwe ng’eyakolimirwa. \q1 \v 21 Balizimba ennyumba bazisulemu, \q2 balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo. \q1 \v 22 Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, \q2 tebalisimba ate omulala abirye. \q1 Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba \q2 bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange. \q1 Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa \q2 emirimu gy’emikono gyabwe. \q1 \v 23 Tebalikolera bwereere \q2 oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga, \q1 kubanga balibeera abantu abaweebwa \nd Mukama\nd* Katonda omukisa, \q2 bo awamu n’ab’enda yaabwe. \q1 \v 24 Nga tebanakoowoola ndibaddamu, \q2 nga bakyayogera bati mbaddemu. \q1 \v 25 Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, \q2 era empologoma erye omuddo ng’ennume, \q2 era ettaka libeere emmere y’omusota. \q1 Tewaliba kulumya \q2 wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \c 66 \p \v 1 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, \q1 “Eggulu y’entebe yange kwe nfugira \q2 n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, \q1 nnyumba ki gye mulinzimbira? \q2 Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu? \q1 \v 2 Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, \q2 noolwekyo ebintu bino byonna byange?” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \b \q1 “Ono ye muntu gwe ntunulako; \q2 oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, \q2 oyo akankanira ekigambo kyange. \q1 \v 3 Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu, \q2 oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa, \q1 n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke \q2 aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi, \q1 era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo \q2 aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono. \q1 Abantu bakutte amakubo gaabwe, \q2 era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe. \q1 \v 4 Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira, \q2 mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko. \q1 Kubanga bwe nayita, \q2 teri n’omu yayanukula, \q1 bwe nnaayogera \q2 tebanfaako. \q1 Bakola ebibi mu maaso gange \q2 ne bagoberera ebitansanyusa.” \b \q1 \v 5 Muwulirize ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda \q2 mmwe abakankanira ekigambo kye. \q1 “Baganda bammwe abatabaagala \q2 era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti, \q1 ‘Leka \nd Mukama\nd* alage obukulu bwe \q2 abalokole tulabe bwe musanyuka!’ \q2 Naye bo be banaakwasibwa ensonyi. \q1 \v 6 Muwulirize. \q2 Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu. \q1 Eddoboozi eryo lya \nd Mukama\nd* Katonda ng’asasula abalabe be \q2 nga bwe kibagwanira. \b \q1 \v 7 “Ekibuga kyange ekitukuvu \q2 kiri ng’omukazi azaala \q1 nga tannatuusa kulumwa, \q2 obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi. \q1 \v 8 Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo? \q2 Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo? \q1 Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu \q2 oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera? \q1 Akaseera katono bwe kati, \q2 Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa. \q1 \v 9 Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa \q2 ne batazaalibwa?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 “Ate olubuto ndusiba ntya \q2 nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda wo. \b \q1 \v 10 “Mujagulize wamu ne Yerusaalemi \q2 era mumusanyukireko mwenna abamwagala, \q1 mujaganye nnyo \q2 mmwe mwenna abamukaabira. \q1 \v 11 Kubanga muliyonka \q2 munywe n’essanyu \q1 mukkutire ddala \q2 ku kitiibwa kye ekingi.” \p \v 12 Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo, \q2 obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala. \q1 Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi \q2 era bababuusizebuusize ku mubiri gwe. \q1 \v 13 Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina, \q2 bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi \q2 mu Yerusaalemi.” \b \q1 \v 14 Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka, \q2 era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze. \q1 Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa \nd Mukama\nd* Katonda guyamba abaweereza be, \q2 ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be. \q1 \v 15 “Kubanga laba \nd Mukama\nd* Katonda alijjira mu muliro, \q2 era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga. \q1 Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi \q2 era alibanenya n’ennimi ez’omuliro. \q1 \v 16 Omuliro n’ekitala \q2 \nd Mukama\nd* Katonda by’alibonerezesa abantu bonna, \q2 n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi. \p \v 17 “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange. \p \v 19 “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli\f + \fr 66:19 \fr*\ft Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya\ft*\f*, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,\f + \fr 66:19 \fr*\fq Yavani \fq*\ft ye Buyonaani\ft*\f* mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. \v 20 Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya \nd Mukama\nd* Katonda. \v 21 Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 22 “Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. \v 23 Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 24 “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”