\id EZK - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h Ezeekyeri \toc1 Ezeekyeri \toc2 Ezeekyeri \toc3 Ez \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Ezeekyeri \c 1 \s1 Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* \p \v 1 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. \v 2 Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, \v 3 ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa \nd Mukama\nd* gwali ku ye. \p \v 4 Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. \v 5 Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. \v 6 Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. \v 7 Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. \v 8 Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, \v 9 era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega. \p \v 10 Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. \v 11 Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. \v 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. \v 13 Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. \v 14 Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu. \p \v 15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. \v 16 Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,\f + \fr 1:16 \fr*\fq Berulo \fq*\ft ejjinja ery’omuwendo\ft*\f* zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. \v 17 Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. \v 18 Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso. \p \v 19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. \v 20 Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. \v 21 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga. \p \v 22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. \v 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. \v 24 Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. \p \v 25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. \v 26 Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. \v 27 Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. \v 28 Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya \nd Mukama\nd*. \p Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera. \c 2 \s1 Okuyitibwa kwa Ezeekyeri \p \v 1 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” \v 2 Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange. \p \v 3 N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero. \v 4 Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti,’ \v 5 Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi. \v 6 Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. \v 7 Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. \v 8 Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.” \p \v 9 Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo. \v 10 N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba. \c 3 \p \v 1 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” \v 2 Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya. \p \v 3 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki. \p \v 4 Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. \v 5 Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, \v 6 so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. \v 7 Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. \v 8 Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. \v 9 Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” \v 10 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. \v 11 Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.” \p \v 12 Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* kyebazibwe mu kifo gy’abeera.” \v 13 Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi. \v 14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa \nd Mukama\nd* ogw’amaanyi guli ku nze. \v 15 Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde. \s1 Okulabula Isirayiri \p \v 16 Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira: \v 17 “Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. \v 18 Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. \v 19 Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa. \p \v 20 “Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. \v 21 Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.” \p \v 22 Omukono gwa \nd Mukama\nd* gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” \v 23 Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi. \p \v 24 Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. \v 25 Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. \v 26 Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. \v 27 Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.” \c 4 \s1 Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi \p \v 1 “Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, \v 2 okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna. \p \v 3 “Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri. \p \v 4 “N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. \v 5 Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri. \p \v 6 “Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. \v 7 Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, \v 8 Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako. \p \v 9 “Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. \v 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. \v 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. \v 12 Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” \v 13 \nd Mukama\nd* n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.” \p \v 14 Ne njogera nti, “Nedda Ayi \nd Mukama\nd* Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.” \p \v 15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.” \p \v 16 N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, \v 17 kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.” \c 5 \p \v 1 “Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. \v 2 Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. \v 3 Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. \v 4 Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo. \p \v 5 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. \v 6 Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange. \p \v 7 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola. \p \v 8 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. \v 9 Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. \v 10 Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. \v 11 Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 12 Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole. \p \v 13 “Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze \nd Mukama\nd* nkyogeredde mu buggya. \p \v 14 “Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. \v 15 Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze \nd Mukama\nd* nkyogedde. \v 16 Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. \v 17 Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze \nd Mukama\nd* nkyogedde.” \c 6 \s1 Obubaka eri Ensozi za Isirayiri \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira nti, \v 2 “Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, \v 3 oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda. Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. \v 4 Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. \v 5 Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. \v 6 Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. \v 7 Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 8 “ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. \v 9 Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. \v 10 Era balimanya nga nze \nd Mukama\nd*; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano. \p \v 11 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. \v 12 Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. \v 13 Mulitegeera nga nze \nd Mukama\nd*, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. \v 14 Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \c 7 \s1 Enkomerero Etuuse \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: \q1 “ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse \q2 ku nsonda ennya ez’ensi. \q1 \v 3 Enkomerero ebatuuseeko \q2 era ndibasumulurira obusungu bwange, \q1 ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri \q2 era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri. \q1 \v 4 Siribatunuulira na liiso lya kisa \q2 newaakubadde okubasonyiwa; \q1 naye ndibasasula ng’engeri zammwe, \q2 n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. \m Mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*.’ \b \p \v 5 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: \q1 “ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu \q2 laba kujja. \q1 \v 6 Enkomerero etuuse, \q2 enkomerero etuuse! \q1 Ebagolokokeddeko \q2 era ejja. \q1 \v 7 Akabi kabajjidde, \q2 mmwe abatuuze. \q1 Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi, \q2 olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi. \q1 \v 8 Nnaatera okubalaga obusungu bwange, \q2 n’ekiruyi kyange. \q1 Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, \q2 ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri. \q1 \v 9 Siribatunuulira na liiso lya kisa \q2 newaakubadde okubasonyiwa. \q1 Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri \q2 n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. \m Mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda, era mbonereza. \q1 \v 10 “ ‘Olunaku luuluno \q2 lutuuse. \q1 Akabi kabajjidde, \q2 obutali bwenkanya bumeze, \q2 n’amalala gamulisizza. \q1 \v 11 Obusungu bweyongedde \q2 ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; \q1 tewaliba n’omu alisigalawo; \q2 tewaliba n’omu ku kibiina \q1 newaakubadde ku byobugagga byabwe, \q2 newaakubadde eky’omuwendo. \q1 \v 12 Ekiseera kituuse, \q2 n’olunaku lutuuse. \q1 Agula aleme okusanyukirira, \q2 n’oyo atunda aleme okunakuwala, \q2 kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna. \q1 \v 13 Atunda taliddizibwa \q2 kintu kye yatunda, \q2 bombi bwe banaaba nga bakyali balamu. \q1 Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna \q2 so tekukyajulukuka. \q1 Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu \q2 aliwonya obulamu bwe. \b \q1 \v 14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere \q2 ne bateekateeka buli kimu, \q1 tewaliba n’omu aligenda mu lutalo, \q2 kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna. \q1 \v 15 Ebweru waliyo ekitala \q2 ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. \q1 Abali ku ttale \q2 balifa kitala, \q1 abali mu kibuga \q2 balimalibwawo kawumpuli n’enjala. \q1 \v 16 N’abo abaliwonawo \q2 baliddukira mu nsozi, \q1 nga bakaaba nga bukaamukuukulu \q2 obw’omu biwonvu, \q2 buli omu olw’ebibi bye. \q1 \v 17 Emikono gyonna giriremala, \q2 n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi. \q1 \v 18 Balyambala ebibukutu, \q2 ne bakwatibwa ensisi; \q1 baliswala, \q2 n’emitwe gyabwe girimwebwa. \b \q1 \v 19 “ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, \q2 ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; \q1 effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe \q2 tebiriyinza kubalokola \q2 ku lunaku lwa \nd Mukama\nd* olw’obusungu bwe. \q1 Era tebalikkuta \q2 newaakubadde okukkusibwa. \q2 Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi. \q1 \v 20 Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, \q2 era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo \q1 n’ebintu ebirala eby’ekivve, \q2 era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali. \q1 \v 21 Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga \q2 n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago \q2 era balibyonoona. \q1 \v 22 Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, \q2 era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo; \q1 n’abanyazi balikiyingiramu \q2 ne bakyonoona. \b \q1 \v 23 “ ‘Muteeketeeke enjegere \q2 kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi, \q2 n’ekibuga kijjudde effujjo. \q1 \v 24 Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, \q2 ne batwala ennyumba zaabwe, \q1 era ndikomya amalala gaabwe \q2 n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. \q1 \v 25 Entiisa bw’erijja, \q2 balinoonya emirembe naye tebaligifuna. \q1 \v 26 Akabi kalyeyongera ku kabi, \q2 ne ŋŋambo ne zeeyongera; \q1 balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, \q2 naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula \q2 n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa. \q1 \v 27 Kabaka alikaaba, \q2 n’omulangira alijjula obuyinike, \q2 n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa. \q1 Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri, \q2 era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri. \m Balyoke bamanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 8 \s1 Eby’ekivve mu Yeekaalu \p \v 1 Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa \nd Mukama\nd* Katonda ne gunzikako. \v 2 Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. \v 3 N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. \v 4 Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi. \p \v 5 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya. \p \v 6 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.” \p \v 7 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. \v 8 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango. \p \v 9 Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” \v 10 Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. \v 11 Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo. \p \v 12 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘\nd Mukama\nd* tatulaba, era \nd Mukama\nd* yeerabira ensi.’ ” \v 13 N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.” \p \v 14 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya \nd Mukama\nd*, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. \v 15 N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.” \p \v 16 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya \nd Mukama\nd*, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya \nd Mukama\nd* wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya \nd Mukama\nd*, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba. \p \v 17 N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! \v 18 Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.” \c 9 \s1 Okuttibwa kw’Abasinza bakatonda abalala \p \v 1 Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.” \v 2 Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo. \p \v 3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. \nd Mukama\nd* n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu, \v 4 n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.” \p \v 5 Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. \v 6 Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu. \p \v 7 N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna. \v 8 Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?” \p \v 9 N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘\nd Mukama\nd* yayabulira ensi, era \nd Mukama\nd* takyalaba.’ \v 10 Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.” \p \v 11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri \nd Mukama\nd* nti, “Nkoze nga bwe walagidde.” \c 10 \s1 Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* Kiva mu Yeekaalu \p \v 1 Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. \v 2 \nd Mukama\nd* n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula. \p \v 3 Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. \v 4 Awo ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya \nd Mukama\nd*. \v 5 N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya \nd Mukama\nd* ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde. \p \v 6 \nd Mukama\nd* bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. \v 7 Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. \v 8 Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu. \p \v 9 Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. \v 10 Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. \v 11 Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. \v 12 Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. \v 13 Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” \v 14 Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu. \p \v 15 Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. \v 16 Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. \v 17 Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo. \p \v 18 Awo ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. \v 19 Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya \nd Mukama\nd*, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe. \p \v 20 Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. \v 21 Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. \v 22 Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso. \c 11 \s1 Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango \p \v 1 Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya \nd Mukama\nd*. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. \v 2 \nd Mukama\nd* n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. \v 3 Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ \v 4 Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.” \p \v 5 Awo Omwoyo wa \nd Mukama\nd* n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. \v 6 Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu. \p \v 7 “\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. \v 8 Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 9 Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. \v 10 Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze \nd Mukama\nd*. \v 11 Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. \v 12 Mulitegeera nga nze \nd Mukama\nd*, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.” \p \v 13 Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?” \p \v 14 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 15 “Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne \nd Mukama\nd*, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ” \s1 Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo \p \v 16 “Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ \v 17 Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’ \p \v 18 “Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. \v 19 Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. \v 20 Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. \v 21 Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \p \v 22 Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. \v 23 Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. \v 24 Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. \v 25 Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna \nd Mukama\nd* bye yali andaze. \c 12 \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu. \p \v 3 “Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. \v 4 Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. \v 5 Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. \v 6 Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.” \p \v 7 Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo. \p \v 8 Ku makya, ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 9 “Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’ \p \v 10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ \v 11 Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’ \p “Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe. \p \v 12 “Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. \v 13 Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. \v 14 Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa. \p \v 15 “Balimanya nga nze \nd Mukama\nd* bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. \v 16 Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze \nd Mukama\nd*.” \p \v 17 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 18 “Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” \v 19 Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. \v 20 Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*.” \p \v 21 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 22 “Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ \v 23 Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. \v 24 Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. \v 25 Naye nze \nd Mukama\nd* ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \p \v 26 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 27 “Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’ \p \v 28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 13 \s1 Bannabbi Aboobulimba Basalirwa Omusango \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd*. \v 3 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. \v 4 Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. \v 5 Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa \nd Mukama\nd* Katonda. \v 6 Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. \nd Mukama\nd* ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. \v 7 Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “\nd Mukama\nd* bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde? \p \v 8 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. \v 9 Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 10 “ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, \v 11 kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. \v 12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?” \p \v 13 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. \v 14 Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \v 15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, \v 16 abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” ’ \p \v 17 “Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, \v 18 ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? \v 19 Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba. \p \v 20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. \v 21 Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \v 22 Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, \v 23 ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 14 \p \v 1 Abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja gye ndi, ne batuula mu maaso gange. \v 2 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 3 “Omwana w’omuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka n’ebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko? \v 4 Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bw’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, n’agenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu. \v 5 Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gy’ennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’ \p \v 6 “ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe eby’ekivve. \p \v 7 “ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze \nd Mukama\nd* nze nnaamwanukulanga. \v 8 Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 9 “ ‘Nnabbi bw’anaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ng’ategeeza nti nze \nd Mukama\nd* Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri. \v 10 Baliba bansingiddwa omusango, era nnabbi aliba asingiddwa omusango gwe gumu n’oyo azze okumwebuuzaako. \v 11 Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \p \v 12 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira ng’agamba nti, \v 13 “Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, \v 14 newaakubadde ng’abasajja bano abasatu Nuuwa, ne Danyeri, ne Yobu bandibadde bagirimu, bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 15 “Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo, \v 16 ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo. \p \v 17 “Oba singa ndeeta ekitala ku nsi eyo ne njogera nti, ‘Leka ekitala kiyite mu nsi yonna,’ ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, \v 18 nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ng’abasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 19 “Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, \v 20 nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 21 “Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala n’ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu n’ensolo zaabwe! \v 22 Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko. \v 23 Bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 15 \s1 Yerusaalemi Omuzabbibu Ogutaliimu Nsa \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu gusinga gutya ettabi ery’omuti ku miti egy’omu kibira? \v 3 Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna? \v 4 Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa? \v 5 Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?” \p \v 6 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi. \v 7 Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \v 8 Ndizisa ensi, kubanga tebabadde beesigwa, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 16 \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye eby’ekivve, \v 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti. \v 4 Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye. \v 5 Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa. \p \v 6 “ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!” \v 7 Ne nkukuza ne nkulabirira ng’ekimuli mu nnimiro. N’okula n’owanvuwa n’olabika bulungi nnyo mu maaso ng’amayinja ag’omuwendo omungi; n’osuna amabeere, n’enviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako. \p \v 8 “ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, n’ofuuka wange. \p \v 9 “ ‘Ne nkunaaza n’amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta. \v 10 Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa n’engatto ez’amaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ez’omuwendo omungi. \v 11 Ne kunaanika amayinja ag’omuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, n’omukuufu mu bulago, \v 12 ne nkuteeka empeta mu nnyindo, n’eby’omu matu ku matu, ne nkutikkira n’engule ku mutwe. \v 13 Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi. \v 14 Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 15 “ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. \v 16 Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. \v 17 Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, \v 18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. \v 19 N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 20 “ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala? \v 21 Watta abaana bange n’obawaayo ng’ebiweebwayo eri bakatonda abalala. \v 22 Mu bikolwa byo byonna eby’ekivve n’obwenzi bwo, tewajjukira biseera eby’obuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bw’oli, era ng’osambagala mu musaayi gwo. \p \v 23 “ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna, \v 24 weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga. \v 25 Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo. \v 26 Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza. \v 27 Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo. \v 28 Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira. \v 29 N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa. \p \v 30 “ ‘Omutima gwo nga munafu, n’okwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ng’omwenzi ow’amawaggali ateefiirayo. \v 31 Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera. \p \v 32 “ ‘Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo! \v 33 Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ng’obagulirira okujja gy’oli okuva buli wamu olw’obwenzi bwo. \v 34 Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula. \p \v 35 “ ‘Kale nno, wulira ekigambo kya \nd Mukama\nd* ggwe omwenzi. \v 36 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo, \v 37 kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo. \v 38 Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ng’eky’abakazi abenzi n’abo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogw’ekiruyi n’obuggya. \v 39 N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya. \v 40 Balisendasenda enkuyanja y’abantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi n’ebitala byabwe. \v 41 Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera. \v 42 N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu. \p \v 43 “ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve? \p \v 44 “ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.” \v 45 Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli. \v 46 Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olw’Obukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olw’Obukiikaddyo, era nga ye Sodomu. \v 47 Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, n’okukoppa ebikolwa byabwe eby’ekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi. \v 48 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka. \p \v 49 “ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. \v 50 Baali baamalala, era baakola ebikolwa eby’ekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima. \v 51 So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola. \v 52 Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu. \p \v 53 “ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo, \v 54 olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olw’ebyo byonna bye wakola ng’obawooyawooya. \v 55 Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda. \v 56 Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olw’amalala go, \v 57 okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala ab’e Busuuli ne baliraanwa be bonna, n’eri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma. \v 58 Olibonerezebwa olw’obukaba bwo n’ebikolwa byo eby’ekivve, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 59 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano. \v 60 Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe. \v 61 Olwo olijjukira engeri zo, n’oswala bw’olitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe. \v 62 Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda, \v 63 n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 17 \s1 Empungu Ebbiri n’Omuzabbibu \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero; \v 3 obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni. \v 4 N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’ \p \v 5 “ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu, \v 6 n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’ \p \v 7 “ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire. \v 8 Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’ \p \v 9 “Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo. \v 10 Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ” \p \v 11 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 12 “Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni. \v 13 N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi, \v 14 obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera. \v 15 Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’ \p \v 16 “ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. \v 17 Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi. \v 18 Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona. \p \v 19 “ ‘\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya. \v 20 Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi. \v 21 Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze \nd Mukama\nd*, nze nkyogedde. \p \v 22 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. \v 23 Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo. \v 24 Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze \nd Mukama\nd* ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze. \p “ ‘Nze \nd Mukama\nd* Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ” \c 18 \s1 Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti, \q1 “ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa, \q2 n’amannyo g’abaana ganyenyeera’? \p \v 3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. \v 4 Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange. \q1 \v 5 “Emmeeme eyonoona ye erifa, \q2 omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu; \q1 \v 6 nga talya mu masabo agali ku nsozi \q2 newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri; \q1 n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we, \q2 newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala; \q1 \v 7 omuntu atalyazaamaanya muntu yenna, \q2 naye asasula ebbanja lye lyonna, \q1 atanyaga muntu yenna, \q2 naye emmere ye agigabira abayala, \q2 n’ayambaza n’abali obwereere; \q1 \v 8 atawola lwa magoba \q2 newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola. \q1 Yeewala okukola ekibi, \q2 era asala emisango egy’ensonga. \q1 \v 9 Agoberera ebiragiro byange, \q2 n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa, \q1 oyo ye muntu omutuukirivu \q2 era aliba mulamu,” \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 10 “Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, \v 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola: \q1 “N’alya mu masabo agali ku nsozi, \q1 n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we, \q1 \v 12 n’anyigiriza omwavu n’omunaku, \q1 n’okubba n’abba, \q1 n’atasasula kye yeeyama, \q1 n’asinza bakatonda abalala, \q1 n’akola eby’ekivve, \q1 \v 13 n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola; \m omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. \p \v 14 “Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo; \q1 \v 15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi \q2 newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri, \q1 n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we, \q1 \v 16 atanyigiriza muntu yenna \q2 newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola, \q1 atabba, naye agabira emmere abayala \q2 n’abali obwereere \q2 n’abambaza. \q1 \v 17 Yeekuuma obutakola kibi, \q2 n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde, \q1 era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange. \m Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. \v 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne. \p \v 19 “Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. \v 20 Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye. \p \v 21 “Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. \v 22 Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. \v 23 Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera \nd Mukama\nd*. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu? \p \v 24 “Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa. \p \v 25 “Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? \v 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. \v 27 Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. \v 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. \v 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya? \p \v 30 “Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera \nd Mukama\nd*. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. \v 31 Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? \v 32 Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Mwenenye mube balamu.” \c 19 \s1 Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri \p \v 1 Kungubagira abalangira ba Isirayiri, \v 2 oyogere nti, \q1 “ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi, \q2 mu mpologoma! \q1 Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento, \q2 n’erabirira abaana baayo. \q1 \v 3 N’ekuza emu ku baana baayo \q2 n’efuuka empologoma ey’amaanyi, \q1 n’eyiga okuyigga ebisolo, \q2 n’okulya abantu. \q1 \v 4 Amawanga gaawulira ebimufaako, \q2 n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye, \q1 ne bamusibamu amalobo \q2 ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri. \b \q1 \v 5 “ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde, \q2 ne bye yali alindirira nga biyise, \q1 n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala, \q2 n’egifuula empologoma ey’amaanyi. \q1 \v 6 N’etambulatambula mu mpologoma, \q2 kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi, \q1 era n’eyiga okuyigga ensolo, \q2 n’okulya abantu. \q1 \v 7 N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi, \q2 n’ezikiriza n’ebibuga byabwe; \q1 ensi n’abo bonna abaagibeerangamu, \q2 ne batya olw’okuwuluguma kwayo. \q1 \v 8 Awo amawanga gonna ne gagirumba, \q2 okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo, \q1 ne bayanjuluza ekitimba kyabwe, \q2 ne bagikwatira mu kinnya kyabwe. \q1 \v 9 Ne bakozesa amalobo okugisikayo, \q2 ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma, \q1 ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; \q2 n’eteekebwa mu kkomera, \q2 n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri. \b \q1 \v 10 “ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro \q2 ogwasimbibwa okumpi n’amazzi; \q1 ne gubala ebibala ne bijjula amatabi, \q2 kubanga waaliwo amazzi mangi. \q1 \v 11 Amatabi gaagwo gaali magumu, \q2 era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka. \q1 Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu \q2 okusinga emiti emirala, \q1 ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo, \q2 n’olw’amatabi gaagwo amangi. \q1 \v 12 Naye gwasigulibwa n’ekiruyi \q2 ne gusuulibwa wansi; \q1 embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza, \q2 ebibala byagwo ne biggwaako, \q1 n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala, \q2 era ne gwokebwa omuliro. \q1 \v 13 Kaakano gusimbiddwa mu ddungu, \q2 awakalu awatali mazzi. \q1 \v 14 Omuliro gwava ku limu ku matabi, \q2 ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo. \q1 Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo \q2 eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’ \m Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.” \c 20 \s1 Isirayiri Omujeemu \p \v 1 Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku \nd Mukama\nd* Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange. \p \v 2 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira, mbategeeze nti, \v 3 “Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ \p \v 4 “Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola, \v 5 era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze \nd Mukama\nd* Katonda wammwe.” \v 6 Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi. \v 7 Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze \nd Mukama\nd* Katonda wammwe.” \p \v 8 “ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri. \v 9 Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange. \v 10 Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu. \v 11 Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu. \v 12 Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze \nd Mukama\nd* abatukuza. \p \v 13 “ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu. \v 14 Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya. \v 15 Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi, \v 16 kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala. \v 17 Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu. \v 18 Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala. \v 19 Nze \nd Mukama\nd* Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange, \v 20 n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda wammwe.” \p \v 21 “ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu. \v 22 Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye. \v 23 Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi, \v 24 kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe. \v 25 Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu; \v 26 ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze \nd Mukama\nd*.’ \p \v 27 “Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola. \v 28 Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa. \v 29 Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’ ” \s1 Okusala Omusango n’Okuzzibwa Obuggya \p \v 30 “Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve? \v 31 Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 32 “ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono. \v 33 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi. \v 34 Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira. \v 35 Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso. \v 36 Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 37 Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange. \v 38 Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 39 “ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala. \v 40 Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa. \v 41 Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga. \v 42 Mulimanya nga nze \nd Mukama\nd*, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa. \v 43 Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola. \v 44 Mulimanya nga nze \nd Mukama\nd*, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \s1 Obubaka eri Obukiikaddyo \p \v 45 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira nti, \v 46 “Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo. \v 47 Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya \nd Mukama\nd*. Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa. \v 48 Buli muntu aliraba nga nze \nd Mukama\nd* abyokezza, era tegulizikizibwa.’ ” \p \v 49 Awo ne njogera nti, “Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’ ” \c 21 \s1 Katonda Akozesa Babulooni ng’Ekitala kye \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri, \v 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe. \v 4 Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono. \v 5 Awo abantu bonna balimanya nga nze \nd Mukama\nd* nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’ \p \v 6 “Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike. \v 7 Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \p \v 8 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 9 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, \q1 “ ‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa \q2 era kiziguddwa, \q1 \v 10 kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu! \q2 Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda? \p “ ‘Ekitala kinyooma buli muggo. \q1 \v 11 “ ‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa \q2 kiryoke kinywezebwe mu mukono; \q1 kiwagaddwa era kiziguddwa, \q2 kiryoke kiweebwe omussi. \q1 \v 12 Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu, \q2 kubanga ekyo nkikola bantu bange, \q2 era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri. \q1 Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange, \q2 noolwekyo weekube mu kifuba. \p \v 13 “ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ \q1 \v 14 “Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu, \q2 n’okuba ne mu ngalo. \q1 Leka ekitala kisale emirundi ebiri \q2 oba emirundi esatu. \q1 Kitala kya kutta, \q2 okutta okunene, \q2 nga kibataayiza enjuuyi zonna, \q1 \v 15 era n’emitima gyabwe girisaanuuka, \q2 n’abattiddwa baliba bangi. \q1 Ntadde ekitala ekitta \q2 ku miryango gyabwe gyonna. \q1 Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu \q2 era kinywezebbwa olw’okutta. \q1 \v 16 Ggwe ekitala genda osale \q2 ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono, \q2 ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira. \q1 \v 17 Nange ndikuba mu ngalo, \q2 n’ekiruyi kyange kirikkakkana. \q1 Nze \nd Mukama\nd* njogedde.” \p \v 18 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, \v 19 “Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga. \v 20 Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera. \v 21 Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya \nd Mukama\nd*; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba. \v 22 Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza. \v 23 Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe. \p \v 24 “\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe. \p \v 25 “ ‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala, \v 26 bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa. \v 27 Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’ \p \v 28 “Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe: \q1 “ ‘Ekitala, ekitala, \q2 kisowoddwa okutta, \q1 Kiziguddwa okusaanyaawo \q2 era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu. \q1 \v 29 Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba, \q2 ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba, \q1 ekitala kiriteekebwa ku bulago \q2 bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa, \q1 olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe \q2 be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala. \b \q1 \v 30 “ ‘Ekitala kizze \q2 mu kiraato kyakyo. \q1 Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja, \q2 eyo gye ndikusalirira omusango. \q1 \v 31 Ndikufukako ekiruyi kyange, \q2 ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange, \q1 ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo, \q2 abaatendekebwa mu byo kuzikiriza. \q1 \v 32 Oliba nku za muliro, \q2 n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo, \q1 era tolijjukirwa nate, \q2 kubanga nze \nd Mukama\nd* njogedde.’ ” \c 22 \s1 Ebibi bya Yerusaalemi \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve; \v 3 mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume, \v 4 era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna. \v 5 Abali okumpi n’abali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo. \p \v 6 “ ‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bw’akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. \v 7 Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. \v 8 Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange. \v 9 Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa. \v 10 Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu n’abo abeebaka n’abakazi abali mu nsonga zaabwe ez’abakazi nga si balongoofu. \v 11 Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe. \v 12 Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 13 “ ‘Kale nno ndikuba mu ngalo olw’amagoba agatasaanidde ge mukoze n’omusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe. \v 14 Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze \nd Mukama\nd* nkyogedde, era ndikikola. \v 15 Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo. \v 16 Bw’oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g’amawanga, olimanya nga Nze \nd Mukama\nd*.’ ” \p \v 17 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 18 “Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza. \v 19 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi. \v 20 Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. \v 21 Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo. \v 22 Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze \nd Mukama\nd* mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ” \p \v 23 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, \v 24 “Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’ \v 25 Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. \v 26 Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo. \v 27 Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya. \v 28 Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda,’ so nga \nd Mukama\nd* tayogedde. \v 29 Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya. \p \v 30 “Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu. \v 31 Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo n’omuliro ogw’obusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \c 23 \s1 Abooluganda Ababiri Abenzi \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, \v 3 abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. \v 4 Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi. \p \v 5 “Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, \v 6 abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. \v 7 Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. \v 8 Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri. \p \v 9 “Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. \v 10 Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo. \p \v 11 “Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. \v 12 Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. \v 13 Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu. \p \v 14 “Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, \v 15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. \v 16 Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. \v 17 Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. \v 18 Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. \v 19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, \v 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. \v 21 Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato. \p \v 22 “Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: \v 23 Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. \v 24 Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. \v 25 Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. \v 26 Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. \v 27 Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri. \p \v 28 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. \v 29 Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo \v 30 bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. \v 31 Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo. \p \v 32 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “Olinywa ekikompe kya muganda wo, \q2 ekikompe ekigazi era ekinene; \q1 kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa \q2 kubanga kirimu ebintu bingi. \q1 \v 33 Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku, \q2 ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala, \q2 ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya. \q1 \v 34 Olikinywa n’okikaliza; \q2 olikyasaayasa, \q2 ne weeyuzaayuza amabeere. \m Nze \nd Mukama\nd* Katonda, nkyogedde. \b \p \v 35 “\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” \v 36 \nd Mukama\nd* n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, \v 37 kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. \v 38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. \v 39 Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange. \p \v 40 “Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. \v 41 Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange. \p \v 42 “Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. \v 43 Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ \v 44 Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. \v 45 Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. \p \v 46 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. \v 47 Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’ \p \v 48 “Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. \v 49 Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 24 \s1 Entamu Efumba \p \v 1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. \v 3 Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Muteeke entamu ku kyoto, \q2 musseemu amazzi. \q1 \v 4 Mugiteekemu ebifi eby’ennyama, \q2 ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono. \q1 Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi, \q2 \v 5 mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo, \q1 Oteeke ebisiki wansi w’entamu, \q2 mweseze ebigirimu, \q2 era ofumbe n’amagumba agalimu. \b \m \v 6 “ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, \q2 ggwe entamu eriko enziro, \q2 eteereddwamu ebintu ebitaaveemu. \q1 Gyamu ekifi kimu kimu \q2 awatali kukuba kalulu. \b \q1 \v 7 “ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye, \q2 yaguyiwa ku lwazi olwereere; \q1 teyaguyiwa wansi \q2 enfuufu ereme okugubikka. \q1 \v 8 Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga \q2 n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere, \q2 guleme okubikkibwako. \b \m \v 9 “ ‘\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, \q1 “ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! \q2 Nange ndituuma enku nnyingi ddala. \q1 \v 10 Mutuume ebisiki, \q2 mukume omuliro, \q1 ennyama mugifumbe bulungi, \q2 mugiteekemu ebirungo, \q2 n’amagumba gasiriire. \q1 \v 11 Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga, \q2 okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera, \q1 ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka, \q2 n’ebyateekebbwamu ne byokebwa. \q1 \v 12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, \q2 kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu, \q2 n’omuliro nagwo tegubyokeza. \p \v 13 “ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana. \b \p \v 14 “ ‘Nze \nd Mukama\nd* njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \s1 Mukazi wa Ezeekyeri Afa \p \v 15 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 16 “Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba. \v 17 Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.” \p \v 18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa. \p \v 19 Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?” \p \v 20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya \nd Mukama\nd* kyanzijira n’aŋŋamba nti, \v 21 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala. \v 22 Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe. \v 23 Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku. \v 24 Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda.’ \p \v 25 “Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe, \v 26 ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire. \v 27 Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze \nd Mukama\nd*.” \c 25 \s1 Obunnabbi ku Amoni \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. \v 3 Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda. Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, \v 4 kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. \v 5 Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze \nd Mukama\nd*. \v 6 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, \v 7 kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \s1 Obunnabbi ku Mowaabu \p \v 8 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,” \v 9 kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo. \v 10 Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga, \v 11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \s1 Obunnabbi ku Edomu \p \v 12 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, \v 13 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. \v 14 Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \s1 Obunnabbi ku Bafirisuuti \p \v 15 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda, \v 16 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza. \v 17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze \nd Mukama\nd*, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ” \c 26 \s1 Obunnabbi ku Ttuulo \p \v 1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ \v 3 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. \v 4 Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. \v 5 Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, \v 6 era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 7 “Era \nd Mukama\nd* Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. \v 8 Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. \v 9 Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. \v 10 Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. \v 11 Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. \v 12 Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. \v 13 Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. \v 14 Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze \nd Mukama\nd* njogedde, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ \p \v 15 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? \v 16 Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. \v 17 Balikukungubagira ne bakugamba nti, \q1 “ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka, \q2 ekyabeerangamu abantu abalunnyanja. \q1 Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo, \q2 watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja. \q1 \v 18 Kaakano olubalama lw’ennyanja \q2 lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo, \q1 era n’ebizinga ebiri mu nnyanja \q2 bitidde olw’okugwa kwo.’ \p \v 19 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, \v 20 kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. \v 21 Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 27 \s1 Okukungubagira Ttuulo \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. \v 3 Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti, \q2 “Natuukirira mu bulungi.” \q1 \v 4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati, \q2 era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo. \q1 \v 5 Baakola embaawo zo zonna \q2 mu miberosi gya Seniri, \q1 ne baddira emivule egy’e Lebanooni \q2 ne bakolamu omulongooti. \q1 \v 6 Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani, \q2 n’emmanga zo, bazikola mu nzo, \q1 ez’oku bizinga ebya Kittimu, \q2 nga bazaaliiridde n’amasanga. \q1 \v 7 Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri, \q2 era lyakozesebwanga ebendera; \q1 n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu \q2 ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja. \q1 \v 8 Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi, \q2 n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja. \q1 \v 9 Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe, \q2 era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo; \q1 ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe; \q2 nga bagula ebyamaguzi byo. \b \q1 \v 10 “ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti\f + \fr 27:10 \fr*\ft Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya\ft*\f*, \q2 baali mu ggye lyo, \q1 era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo \q2 ne bakuwa ekitiibwa. \q1 \v 11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe \q2 be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna; \q1 abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo \q2 nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, \q2 era be baakulabisanga obulungi. \p \v 12 “ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo. \p \v 13 “ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe. \p \v 14 “ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo. \p \v 15 “ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo. \p \v 16 “ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo. \p \v 17 “ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo. \p \v 18 “ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. \v 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo. \p \v 20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi. \p \v 21 “ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi. \p \v 22 “ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe. \p \v 23 “ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. \v 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi. \q1 \v 25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi \q2 bye byatambuzanga ebyamaguzi byo. \q1 Era wajjula n’oba n’ebintu bingi \q2 wakati mu nnyanja. \q1 \v 26 Abakubi b’enkasi bakutwala \q2 awali amayengo amangi. \q1 Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera \q2 wakati mu nnyanja. \q1 \v 27 Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo, \q2 n’abalunnyanja bo, \q1 n’abagoba bo, \q2 n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna \q1 na buli muntu ali ku kyombo balibbira \q2 wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje. \q1 \v 28 Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo, \q2 kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja. \q1 \v 29 Abakubi b’enkasi bonna \q2 balyabulira ebyombo byabwe; \q1 n’abagoba n’abalunnyanja bonna \q2 baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja. \q1 \v 30 Baliyimusa amaloboozi gaabwe \q2 ne bakukaabira nnyo; \q1 era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe \q2 ne beevulunga mu vvu. \q1 \v 31 Balikumwera emitwe gyabwe, \q2 era Balyambala ebibukutu. \q1 Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde \q2 nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike. \q1 \v 32 Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe \q2 nga boogera nti, \q1 Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo \q2 eyeetooloddwa ennyanja? \q1 \v 33 Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja, \q2 amawanga mangi gamalibwanga; \q1 era ne bakabaka b’ensi \q2 baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo. \q1 \v 34 Kaakano ennyanja ekumazeewo, \q2 mu buziba bw’amazzi; \q1 ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo \q2 bonna babbidde naawe. \q1 \v 35 Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja \q2 bafunye ensisi, \q1 era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa \q2 tebafaananika mu maaso olw’entiisa. \q1 \v 36 Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa; \q2 otuuse ku nkomerero embi, \q2 so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ” \c 28 \s1 Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, \q1 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q2 Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti, \q1 ‘Ndi katonda, \q2 era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’ \q1 songa oli muntu buntu, so si katonda, \q2 newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda. \q1 \v 3 Oli mugezi okusinga Danyeri? \q2 Tewali kyama kikukwekeddwa? \q1 \v 4 Mu magezi go ne mu kutegeera kwo \q2 weefunidde eby’obugagga, \q1 n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza \q2 n’obitereka mu mawanika go. \q1 \v 5 Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi \q2 oyongedde okugaggawala, \q1 era n’omutima gwo \q2 gwenyumiririza mu byobugagga bwo.” \p \v 6 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, \q1 “Kubanga olowooza ng’oli mugezi, \q2 ng’oli mugezi nga katonda, \q1 \v 7 kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, \q2 ab’omu mawanga agasinga obukambwe, \q1 ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go, \q2 ne boonoona okumasamasa kwo. \q1 \v 8 Balikusuula mu bunnya \q2 n’ofiira eyo okufa okubi \q2 wakati mu gayanja. \q1 \v 9 Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’ \q2 mu maaso gaabo abakutta? \q1 Oliba muntu buntu so si katonda \q2 mu mikono gy’abo abakutta. \q1 \v 10 Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga, \q2 nze nkyogedde, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \p \v 11 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 12 “Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi \q2 era nga watuukirira mu bulungi. \q1 \v 13 Wali mu Adeni, \q2 ennimiro ya Katonda; \q1 buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako, \q2 sadio, topazi, alimasi, berulo, \q2 onuku, yasipero, safiro, \q2 ejjinja erya nnawandagala. \q1 Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu. \q2 Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa. \q1 \v 14 Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta, \q2 nakwawula lwa nsonga eyo. \q1 Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda, \q2 n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro. \q1 \v 15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna \q2 okuva ku lunaku lwe watondebwa, \q2 okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe. \q1 \v 16 Mu bikolwa byo ebingi, \q2 wajjula empisa embi, \q2 era n’okola ebibi. \q1 Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, \q2 mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga \q2 okuva mu mayinja ag’omuliro. \q1 \v 17 Omutima gwo gwalina amalala \q2 olw’obulungi bwo, \q1 ne weelimbalimba \q2 olw’ekitiibwa kyo. \q1 Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula \q2 eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka. \q1 \v 18 Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo \q2 oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. \q1 Kyenava nziggya omuliro mu ggwe \q2 ne gukusaanyaawo, \q1 ne nkufuula evvu ku nsi \q2 wakati mu abo bonna abaakulabanga. \q1 \v 19 Amawanga gonna agaakumanya \q2 gaatya nnyo; \q1 otuuse ku nkomerero embi, \q2 so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ” \s1 Obunnabbi ku Sidoni \p \v 20 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, \v 21 “Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, \v 22 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni, \q2 era ndyegulumiza mu ggwe. \q1 Balimanya nga nze \nd Mukama\nd* \q2 bwe ndimubonereza, \q2 ne neeraga mu ye okuba omutukuvu. \q1 \v 23 Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa \q2 omusaayi mu nguudo ze. \q1 Abafu baligwa wakati mu ye, \q2 ekitala kimulumbe enjuuyi zonna. \q1 Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 24 “ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna. \p \v 25 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. \v 26 Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda waabwe.’ ” \c 29 \s1 Obunnabbi ku Misiri \p \v 1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. \v 3 Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri, \q2 ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo, \q1 ogwogera nti, “Kiyira wange, \q2 era nze nnamwekolera.” \q1 \v 4 Nditeeka amalobo mu mba zo, \q2 era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go. \q1 Ndikusikayo mu migga gyo \q2 ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go. \q1 \v 5 Ndikutwala mu ddungu, \q2 ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo. \q1 Oligwa ku ttale, \q2 so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa. \q1 Ndikuwaayo okuba emmere \q2 eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga. \m \v 6 Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \p “ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. \v 7 Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe. \p \v 8 “ ‘\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. \v 9 Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze \nd Mukama\nd* Katonda. \p “ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” \v 10 kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. \v 11 Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. \v 12 Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi. \p \v 13 “ ‘Naye \nd Mukama\nd* Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, \v 14 era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. \v 15 Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. \v 16 Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \p \v 17 Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 18 “Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. \v 19 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. \v 20 Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 21 “Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe\f + \fr 29:21 \fr*\fq Ejjembe \fq*\ft wano kitegeeza amaanyi\ft*\f* ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.” \c 30 \s1 Okukungubagira Misiri \p \v 1 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Mwekaabireko mwogere nti, \q2 “Zibasanze ku lunaku olwo” \q1 \v 3 kubanga olunaku luli kumpi, \q2 olunaku lwa \nd Mukama\nd* luli kumpi, \q1 olunaku olw’ebire \q2 eri bannaggwanga. \q1 \v 4 Ekitala kirirumba Misiri, \q2 n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. \q1 Bwe balifiira mu Misiri, \q2 obugagga bwe bulitwalibwa \q2 n’emisingi gyayo girimenyebwa.’ \m \v 5 Obuwesiyopya, ne Puuti\f + \fr 30:5 \fr*\ft Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya\ft*\f*, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri. \p \v 6 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, \q1 “ ‘Abawagira Misiri baligwa, \q2 n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. \q1 Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene \q2 baligwa n’ekitala, \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 7 Balirekebwawo \q2 wakati mu nsi endala ezalekebwawo, \q1 n’ebibuga byabwe \q2 biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo. \q1 \v 8 Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd* \q2 bwe ndikuma ku Misiri omuliro, \q2 n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa. \p \v 9 “ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja. \b \p \v 10 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri \q2 nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni. \q1 \v 11 Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, \q2 balireetebwa okuzikiriza ensi. \q1 Baligyayo ebitala byabwe \q2 ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo. \q1 \v 12 Ndikaza emigga gya Kiyira, \q2 ne ntunda ensi eri abantu ababi; \q1 nga nkozesa bannaggwanga, \q2 ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. \m Nze \nd Mukama\nd* nkyogedde. \b \p \v 13 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe \q2 ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. \q1 Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, \q2 era ensi yonna ndigireetako entiisa. \q1 \v 14 Ndifuula Pasulo okuba amatongo, \q2 ne Zowani ndikikumako omuliro \q2 ne mbonereza n’ab’omu No. \q1 \v 15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, \q2 ekigo kya Misiri eky’amaanyi, \q2 era ndimalawo n’ebibinja bya No. \q1 \v 16 Ndikuma omuliro ku Misiri, \q2 ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, \q1 ne No balitwalibwa omuyaga, \q2 ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera. \q1 \v 17 Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi \q2 baligwa n’ekitala, \q2 n’ebibuga biriwambibwa. \q1 \v 18 Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, \q2 bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, \q2 era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. \q1 Alibikkibwa n’ebire \q2 era n’ebyalo bye biriwambibwa. \q1 \v 19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, \q2 bategeere nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \p \v 20 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. \v 22 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. \v 23 Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. \v 24 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. \v 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze \nd Mukama\nd*. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. \v 26 Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.” \c 31 \s1 Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni \p \v 1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti, \q1 “ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa? \q1 \v 3 Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni, \q2 nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira; \q1 ogwali omuwanvu ennyo, \q2 nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira. \q1 \v 4 Amazzi gaaguliisanga, \q2 n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya, \q1 n’emigga gyagyo \q2 ne gigwetooloola wonna, \q1 ne giweerezanga n’amatabi gaagyo \q2 eri emiti gyonna egy’omu ttale. \q1 \v 5 Kyegwava gukula ne guwanvuwa \q2 okusinga emiti gyonna egy’omu kibira, \q1 n’amatabi gaagwo amanene \q2 ne geeyongera obunene, \q1 n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa \q2 ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi. \q1 \v 6 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga \q2 ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene, \q1 n’ensolo enkambwe ez’oku ttale \q2 ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo, \q1 n’amawanga gonna amakulu \q2 ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo. \q1 \v 7 Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo, \q2 n’amatabi gaagwo amanene, \q1 kubanga emirandira gyagwo \q2 gyasima awali amazzi amangi. \q1 \v 8 Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda \q2 tegyayinza kuguvuganya, \q1 newaakubadde emiberoosi okwenkana \q2 n’amatabi gaagwo amanene; \q1 n’emyalamooni nga tegifaanana \q2 matabi gaagwo amatono, \q1 so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda \q2 ogugwenkana mu bulungi. \q1 \v 9 Nagulungiya n’amatabi amangi, \q2 emiti gyonna egy’omu Adeni \q1 egyali mu nnimiro ya Katonda \q2 ne gigukwatirwa obuggya. \p \v 10 “ ‘\nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, \v 11 kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. \v 12 Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. \v 13 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. \v 14 Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya. \p \v 15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. \v 16 Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. \v 17 Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala. \p \v 18 “ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala. \p “ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 32 \s1 Okukungubagira Falaawo \p \v 1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti: \q1 “ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga, \q2 ng’ogusota wakati mu nnyanja, \q1 ng’owaguza mu migga gyo, \q2 era ng’otabangula amazzi, \q2 n’osiikuula n’emigga. \p \v 3 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ndikusuulako akatimba kange, \q2 ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene, \q2 era balikuvuba n’akatimba kange. \q1 \v 4 Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale, \q2 era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako, \q1 n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya \q2 ne zikkusibwa. \q1 \v 5 Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi, \q2 era ndijjuza ebiwonvu amagumba go. \q1 \v 6 Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo \q2 okutuukira ddala ku nsozi, \q2 era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo. \q1 \v 7 Bwe ndikusaanyaawo, \q2 ndibikka eggulu \q1 ne nfuula emmunyeenye zaakwo \q2 okubaako ekizikiza; \q1 \v 8 Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo. \q2 Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza; \q2 era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 9 Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi, \q2 bwe ndikuzikiriza mu mawanga, \q2 ne mu nsi z’otomanyangako. \q1 \v 10 Amawanga mangi galijjula entiisa \q2 era bakabaka baabwe balisasamala, \q2 ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe. \q1 Ku lunaku olw’okugwa kwo, \q2 buli omu ku bo alikankana, \q2 era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe. \p \v 11 “ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, \q1 “ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni \q2 kirikutabaala. \q1 \v 12 Nditta enkuyanja y’abantu bo \q2 n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira, \q2 abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna. \q1 Balimalawo amalala ga Misiri, \q2 n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa. \q1 \v 13 Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente \q1 okuva awali amazzi amangi, \q1 era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula \q2 newaakubadde ente okulinnyirirayo. \q1 \v 14 N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge, \q2 n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta, \q2 bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 \v 15 Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri, \q2 ne ngiggyamu buli kantu akalimu, \q1 ne nzita bonna ababeeramu, \q2 balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.’ \p \v 16 “Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \b \p \v 17 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 18 “Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. \v 19 Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ \v 20 Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. \v 21 Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ \p \v 22 “Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. \v 23 Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala. \p \v 24 “Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. \v 25 Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa. \p \v 26 “Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. \v 27 Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu. \p \v 28 “Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala. \p \v 29 “Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya. \p \v 30 “Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe. \p \v 31 “Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 32 Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 33 \s1 Ezeekyeri Omukuumi wa Isirayiri \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira nate n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe, \v 3 n’alaba ekitala nga kijja eri ensi, n’afuuwa ekkondeere ng’alabula abantu, \v 4 awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. \v 5 Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe. \v 6 Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’ \p \v 7 “Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi ow’ennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule. \v 8 Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe. \v 9 Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo. \p \v 10 “Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’ \v 11 Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’ \p \v 12 “Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’ \v 13 Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira. \v 14 Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu, \v 15 era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa. \v 16 Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu. \p \v 17 “Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya. \v 18 Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye. \v 19 Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze. \v 20 Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.” \s1 Okugwa kwa Yerusaalemi Kunnyonnyolwa \p \v 21 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.” \v 22 Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa \nd Mukama\nd* gwali gunziseeko, ng’asumuludde akamwa kange, omusajja n’alyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga sikyali kasiru. \p \v 23 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 24 “Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’ \v 25 Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi? \v 26 Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’ \p \v 27 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli. \v 28 Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era n’amaanyi ge yeewaana nago galikoma, era n’ensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba n’omu azitambulirako. \v 29 Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olw’ebikolwa eby’ekivve bye bakoze.’ \p \v 30 “Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri \nd Mukama\nd* Katonda,’ \v 31 abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe, \v 32 laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola. \p \v 33 “Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.” \c 34 \s1 Abasumba n’Endiga \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? \v 3 Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. \v 4 Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. \v 5 Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. \v 6 Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza. \p \v 7 “ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd*: \v 8 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, \v 9 kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd*. \v 10 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe. \p \v 11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. \v 12 Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. \v 13 Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. \v 14 Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. \v 15 Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 16 Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya. \p \v 17 “ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi. \v 18 Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe! \v 19 Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe? \p \v 20 “ ‘\nd Mukama\nd* Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu. \v 21 Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, \v 22 ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga. \v 23 Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. \v 24 Nze \nd Mukama\nd* ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze \nd Mukama\nd* njogedde. \p \v 25 “ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. \v 26 Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. \v 27 Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze \nd Mukama\nd* bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. \v 28 Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa. \v 29 Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga. \v 30 Era zirimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 31 Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 35 \s1 Obunnabbi ku Edomu \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, \v 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. \v 4 Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze \nd Mukama\nd*.’ \p \v 5 “ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, \v 6 nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. \v 7 Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. \v 8 Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. \v 9 Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 10 “ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi \nd Mukama\nd* waabwe, \v 11 era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. \v 12 Oluvannyuma olimanya nga nze \nd Mukama\nd* mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” \v 13 Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. \v 14 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. \v 15 Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \c 36 \s1 Obunnabbi eri Ensozi za Isirayiri \p \v 1 “Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd*. \v 2 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’ \v 3 Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, \v 4 kyemunaava muwulira ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu, n’eri ebifulukwa n’ebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka eby’okusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola \v 5 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’ \v 6 Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga. \v 7 \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa. \p \v 8 “ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe. \v 9 Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo, \v 10 era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. \v 11 Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd*. \v 12 Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe. \p \v 13 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,” \v 14 kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 15 Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \p \v 16 Nate ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 17 “Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye. \v 18 Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange. \v 19 Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali. \v 20 Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba \nd Mukama\nd*, naye baagobebwa mu nsi ye.’ \v 21 Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda. \p \v 22 “Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda. \v 23 Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze \nd Mukama\nd*, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe. \p \v 24 “ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe. \v 25 Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. \v 26 Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama. \v 27 Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. \v 28 Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe. \v 29 Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala. \v 30 Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala. \v 31 Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo. \v 32 Mukimanye ng’ebyo sibikola ku lwammwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Muswale olw’ebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri. \p \v 33 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa. \v 34 Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu. \v 35 Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.” \v 36 Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze \nd Mukama\nd*, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze \nd Mukama\nd* nkyogedde, era ndikituukiriza.’ \p \v 37 “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga. \v 38 Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze \nd Mukama\nd*.” \c 37 \s1 Ekiwonvu eky’Amagumba Amakalu \p \v 1 Omukono gwa \nd Mukama\nd* gwali ku nze, Mwoyo wa \nd Mukama\nd* n’anfulumya, n’andeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. \v 2 N’agannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu. \v 3 N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?” \p Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi \nd Mukama\nd* Katonda, ggwe wekka gw’omanyi.” \p \v 4 Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya \nd Mukama\nd*! \v 5 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. \v 6 Ndibateekako ebinywa n’ennyama ne mbabikkako n’olususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze \nd Mukama\nd*.’ ” \p \v 7 Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng’ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo. \v 8 Ne ntunula, ebinywa n’ennyama ne birabika ku go, n’olususu ne luddako, naye temwali mukka. \v 9 Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana w’omuntu, ogambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ” \v 10 Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo. \p \v 11 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era n’essuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’ \v 12 Kyonoova owa obunnabbi gye bali n’oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri. \v 13 Kale mulimanya nga nze \nd Mukama\nd*, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza. \v 14 Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze \nd Mukama\nd* nkyogedde, era nkikoze, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \s1 Eggwanga Limu Lifugibwa Kabaka Omu \p \v 15 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 16 “Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’ \v 17 Bagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo. \p \v 18 “Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’ \v 19 Obategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’ \v 20 Balage emiggo gy’owandiiseeko, \v 21 obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. \v 22 Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. \v 23 Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. \p \v 24 “ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. \v 25 Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. \v 26 Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. \v 27 Ekifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. \v 28 Amawanga galimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ” \c 38 \s1 Obunnabbi eri Googi \p \v 1 Ekigambo kya \nd Mukama\nd* Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, \v 2 “Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali, \v 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. \v 4 Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala. \v 5 Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti\f + \fr 38:5 \fr*\ft Puuli ne Puuti ye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya\ft*\f* balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira; \v 6 era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe. \p \v 7 “ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire. \v 8 Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe. \v 9 Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi. \p \v 10 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi. \v 11 Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi. \v 12 Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” \v 13 Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’ \p \v 14 “Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba? \v 15 Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. \v 16 Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe. \p \v 17 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe? \v 18 Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 19 Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri; \v 20 n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka. \v 21 Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we. \v 22 Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako. \v 23 Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze \nd Mukama\nd* Katonda.’ ” \c 39 \p \v 1 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. \v 2 Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri. \v 3 Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; n’obusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza. \v 4 Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo. \v 5 Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 6 Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lw’ennyanja; balyoke bamanye nga nze \nd Mukama\nd*. \p \v 7 “ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze \nd Mukama\nd*, Omutukuvu mu Isirayiri. \v 8 Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako. \p \v 9 “ ‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu. \v 10 Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 11 “ ‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo.\f + \fr 39:11 \fr*\ft wano boogera ku Nnyanja ey’Omunnyo\ft*\f* Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi. \p \v 12 “ ‘Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi. \v 13 Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 14 Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu. \p “ ‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa. \v 15 Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi. \v 16 (Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’ \p \v 17 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi. \v 18 Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani. \v 19 Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera. \v 20 Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 21 “Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. \v 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda waabwe. \v 23 N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. \v 24 Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange. \p \v 25 “Noolwekyo \nd Mukama\nd* Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. \v 26 Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. \v 27 Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. \v 28 Olwo balimanya nga nze \nd Mukama\nd* Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. \v 29 Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 40 \s1 Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu \p \v 1 Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa \nd Mukama\nd* ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. \v 2 Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. \v 3 N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. \v 4 Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.” \s1 Omulyango ogw’Ebuvanjuba okutuuka mu Luggya Olwa wabweru \p \v 5 Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bw’oluti olupima olwali mu mukono gw’omusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. N’apima bbugwe ng’omubiri gwayo mita ssatu, n’obugulumivu bwayo mita ssatu. \p \v 6 Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu. \v 7 N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu. \p \v 8 Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango \v 9 nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu. \p \v 10 Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene. \v 11 N’apima obugazi obw’awayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano n’obugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga n’ekitundu. \v 12 Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi. \v 13 N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 14 Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi. \v 15 N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano. \v 16 Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu. \s1 Oluggya olw’Ebweru \p \v 17 Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu. \v 18 Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi. \v 19 N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano. \s1 Omulyango ogw’Obukiikakkono \p \v 20 Awo n’apima obuwanvu n’obugazi obw’omulyango ogw’Obukiikakkono ogufuluma mu luggya olw’ebweru. \v 21 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 22 Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo. \v 23 Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano. \s1 Omulyango ogw’Obukiikaddyo \p \v 24 Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala. \v 25 Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 26 Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo. \v 27 Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano. \s1 Emiryango egy’Oluggya olw’Omunda \p \v 28 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna. \v 29 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 30 Ebisasi eby’emiryango ebyetoolodde oluggya olw’omunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugulumivu mita bbiri n’ekitundu. \v 31 Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda. \p \v 32 Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala. \v 33 Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 34 Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda. \p \v 35 N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala. \v 36 Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. \v 37 Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda. \s1 Ebisenge gye Bategekera Ssaddaaka \p \v 38 Waaliwo ekisenge n’oluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogw’oluggya olw’omunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga. \v 39 Mu kisasi eky’emiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu n’endala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo olw’omusango. \v 40 Era ebweru w’ekisasi ku mulyango, okumpi n’amadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olw’amadaala waliwo emmeza bbiri. \v 41 Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka. \v 42 Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala. \v 43 Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo. \s1 Ebisenge bya Bakabona \p \v 44 Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono. \v 45 N’aŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu, \v 46 n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera \nd Mukama\nd* okumuweereza.” \p \v 47 N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu. \s1 Eyeekaalu \p \v 48 N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu. \v 49 Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi. \c 41 \p \v 1 Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi. \v 2 Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, n’obugazi bw’empagi ez’oku luuyi olw’omunda zaali mita bbiri n’ekitundu eruuyi n’eruuyi. N’apima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. \p \v 3 Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi. \v 4 N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.” \p \v 5 N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri. \v 6 Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu. \v 7 Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati. \p \v 8 Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu. \v 9 Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. \v 10 Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi. \v 11 Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge eby’ebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati w’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali n’ebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olw’Obukiikakkono, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri n’ekitundu obugazi. \p \v 12 Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano. \p \v 13 Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano. \v 14 Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano. \p \v 15 N’apima obuwanvu obw’ekizimbe ekyali mu maaso g’oluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kw’ogasse embalaza oluuyi n’oluuyi nga wali mita amakumi ataano. \p Ekifo Awatukuvu ebweru, n’ekifo Awatukuvu munda n’ekisasi mu maaso g’oluggya \v 16 n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako. \v 17 Mu bbanga eryali waggulu w’omulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda n’ebweru, \v 18 yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri \v 19 ekyenyi ky’omusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu n’ekyenyi ky’empologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna. \v 20 Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu w’omulyango waaliwo bakerubi n’enkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge ky’Awatukuvu. \p \v 21 Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana \v 22 Ekyoto kyabajjibwa mu muti ng’obugulumivu kiri mita emu n’ekitundu, obuwanvu n’obugazi mita emu, eruuyi n’eruuyi. Ensonda zaakyo n’obuwanvu bwakyo n’ebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja n’aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga \nd Mukama\nd*.” \v 23 Awatukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri. \v 24 Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri. \v 25 Era ku nzigi ezo ez’Awatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo n’akasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi. \v 26 Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi. \c 42 \p \v 1 Awo omusajja n’ankulemberamu n’antwala mu luggya ebweru ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’antwala mu bisenge eby’ekizimbe ekyayolekera oluggya lwa yeekaalu era ekyayolekera bbugwe ku luuyi olw’Obukiikakkono. \v 2 Ekizimbe ekyo ekyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikakkono, kyali mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ttaano. \v 3 Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olw’omunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala n’eyolekera oluggya olw’ebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye. \v 4 Wakati w’ennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, n’obuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ez’ennyumba eyolekera oluggya olw’omunda zaayolekera Obukiikakkono. \v 5 Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n’egya wakati mu kizimbe. \v 6 Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati. \v 7 Waaliwo ekisenge eky’ebweru ekyali kigatta ennyumba zombi ez’ekizimbe, obuwanvu mita amakumi abiri mu ttaano. \v 8 Olubu lw’ebisenge olw’ennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olw’ebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate n’olubu lw’ebisenge olw’ennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano. \v 9 Ebisenge ebya wansi byaliko omulyango ku luuyi olw’ebuvanjuba ogufuluma mu luggya olw’ebweru. \p \v 10 Ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu, waliwo ekizimbe ekyalina ennyumba bbiri ezaali wakati w’oluggya olwa yeekaalu, ne bbugwe. \v 11 Waaliwo olukuubo wakati w’ennyumba zombi. Zaafaanana ng’ennyumba ez’oku luuyi olw’Obukiikakkono, ng’obuwanvu n’obugazi bwazo, n’emiryango nga bya bipimo ebyenkanankana n’eby’Obukiikakkono. \v 12 Emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikaddyo gyali gifaanana n’emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bw’oguyingiriramu oyolekera emiryango gy’ennyumba ennene ey’ekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olw’ebuvanjuba olukuubo lw’ekizimbe eky’ennyumba zombi we lukoma. \p \v 13 Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga \nd Mukama\nd* gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu. \v 14 Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.” \p \v 15 Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna. \v 16 N’apima oluuyi olw’ebuvanjuba n’oluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. \v 17 N’apima oluuyi olw’Obukiikakkono nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. \v 18 N’oluvannyuma n’apima oluuyi olw’Obukiikaddyo nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. \v 19 N’oluvannyuma n’akyuka n’apima oluuyi olw’ebugwanjuba, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. \v 20 N’apima enjuuyi ennya zonna. Yeekaalu yalina bbugwe okugyebungulula, mita ebikumi bibiri mu ataano obuwanvu, n’obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, nga kye kyawula awatukuvu n’awabulijjo. \c 43 \s1 Ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* kikomawo mu Yeekaalu \p \v 1 Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba, \v 2 ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye. \v 3 Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama. \v 4 Awo ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, \v 5 Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* ne kijjula yeekaalu. \p \v 6 Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu; \v 7 n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu. \v 8 Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange. \v 9 Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna. \p \v 10 “Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. \v 11 Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu. \p \v 12 “Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu. \s1 Ekyoto \p \v 13 “Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba: \v 14 okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana. \v 15 Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana. \v 16 Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga. \v 17 Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.” \p \v 18 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa. \v 19 Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 20 Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira. \v 21 Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu. \p \v 22 “Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume. \v 23 Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo. \v 24 Mulizireeta mu maaso ga \nd Mukama\nd*, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri \nd Mukama\nd*. \p \v 25 “Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo. \v 26 Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda. \v 27 Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda.” \c 44 \s1 Omulangira, Abaleevi Ne Bakabona \p \v 1 Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. \v 2 \nd Mukama\nd* n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga \nd Mukama\nd*, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. \v 3 Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga \nd Mukama\nd*, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.” \p \v 4 Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya \nd Mukama\nd* nga kijjudde yeekaalu ya \nd Mukama\nd*, ne nvuunama. \p \v 5 \nd Mukama\nd* n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya \nd Mukama\nd*. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. \v 6 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ \v 7 Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. \v 8 Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. \v 9 Kale \nd Mukama\nd* Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati. \p \v 10 “ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. \v 11 Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. \v 12 Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 13 Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. \v 14 Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo. \p \v 15 “ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 16 Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira. \p \v 17 “ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. \v 18 Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. \v 19 Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe. \p \v 20 “ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. \v 21 Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. \v 22 Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. \v 23 Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu. \p \v 24 “ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu. \p \v 25 “ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. \v 26 Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. \v 27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 28 “ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. \v 29 Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri \nd Mukama\nd* kinaabanga kyabwe. \v 30 Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. \v 31 Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo. \c 45 \s1 Okugabanyaamu Ensi \p \v 1 “ ‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya \nd Mukama\nd* ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu. \v 2 Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga. \v 3 Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo. \v 4 Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera \nd Mukama\nd* okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu. \v 5 Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu n’obugazi mayilo ssatu kye kiriba eky’Abaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba n’ebisenge amakumi abiri eby’okubeeramu ng’ebyo bye bikola ebibuga byabwe.’ \p \v 6 “ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’ \p \v 7 “ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu. \v 8 Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’ \p \v 9 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 10 Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika. \v 11 Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa. \v 12 Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri n’ogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, n’oyongerako sekeri kkumi na ttaano, n’ewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe. \s1 Ebiweebwayo n’Ennaku Entukuvu \p \v 13 “ ‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri. \v 14 Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri. \v 15 Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \v 16 Abantu bonna ab’omu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri. \v 17 Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri. \p \v 18 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu. \v 19 Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda. \v 20 Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu. \p \v 21 “ ‘Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. \v 22 Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi. \v 23 Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri \nd Mukama\nd*. \v 24 Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa. \p \v 25 “ ‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’ \c 46 \p \v 1 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. \v 2 Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. \v 3 Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga \nd Mukama\nd* ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. \v 4 Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri \nd Mukama\nd* ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; \v 5 n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. \v 6 Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; \v 7 era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. \v 8 Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga. \p \v 9 “ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga \nd Mukama\nd* ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. \v 10 Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. \v 11 Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa. \p \v 12 “ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri \nd Mukama\nd*, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa. \p \v 13 “ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri \nd Mukama\nd* buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. \v 14 Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri \nd Mukama\nd* ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. \v 15 Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo. \p \v 16 “ ‘Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. \v 17 Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. \v 18 Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ” \p \v 19 Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. \v 20 N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.” \p \v 21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. \v 22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. \v 23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. \v 24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.” \c 47 \s1 Oluzzi Olusibuka mu Yeekaalu \p \v 1 Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto. \v 2 N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo. \p \v 3 Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, n’alaga ku luuyi olw’ebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, n’alyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule. \v 4 N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato. \v 5 N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa. \v 6 N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, kino okiraba?” \p N’anzizaayo ku lubalama lw’omugga. \v 7 Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga. \v 8 N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja.\f + \fr 47:8 \fr*\ft ye Nnyanja ey’Omunnyo\ft*\f* Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja\f + \fr 47:8 \fr*\ft ye Nnyanja ey’Omunnyo\ft*\f* amazzi ne galongooka. \v 9 Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu. \v 10 Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya. \v 11 Naye ebifo eby’ettosi n’ebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo. \v 12 Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.” \s1 Ensalo ez’Ensi \p \v 13 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri. \v 14 Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe. \b \li4 \v 15 “Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti: \b \li1 “Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi, \v 16 Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani. \v 17 Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono. \li1 \v 18 Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba. \li1 \v 19 Ku luuyi olw’Obukiikaddyo eriva e Tamali okutuukira ddala ku mazzi ag’e Meribosukadesi, ne ku kagga ak’e Misiri okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikaddyo. \li1 \v 20 Ku luuyi olw’ebugwanjuba, Ennyanja Ennene, ye Meditereeniya y’eriba ensalo okutuuka awayolekera awayingirirwa e Kamasi, era eyo y’eriba ensalo ey’Ebugwanjuba. \b \p \v 21 “Muligabana ensi eno ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. \v 22 Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri. \v 23 Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \c 48 \s1 Okugabana kw’Ettaka \li4 \v 1 “Gano ge mannya g’ebika: \b \li1 “Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani. \li1 \v 2 N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri. \li1 \v 3 N’okuliraana Aseri okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali. \li1 \v 4 N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase. \li1 \v 5 N’okuliraana Manase okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu. \li1 \v 6 N’okuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni. \li1 \v 7 N’okuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda. \b \p \v 8 “Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu. \p \v 9 “Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira \nd Mukama\nd* guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. \v 10 Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa \nd Mukama\nd*. \v 11 Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako. \v 12 Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi. \p \v 13 “Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. \v 14 Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri \nd Mukama\nd*. \p \v 15 “Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo, \v 16 era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu. \v 17 Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga. \v 18 Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga. \v 19 Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri. \v 20 Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga. \p \v 21 “Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo. \v 22 Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini. \b \li4 \v 23 “N’ebika ebirala birigabana bwe biti: \b \li1 “Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini. \li1 \v 24 N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni. \li1 \v 25 N’okuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali. \li1 \v 26 N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni. \li1 \v 27 N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi. \li1 \v 28 N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani. \b \li4 \v 29 “Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera \nd Mukama\nd* Katonda. \s1 Emiryango egy’Ekibuga \li4 \v 30 “Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu: \b \li1 “Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, \v 31 emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi. \li1 \v 32 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani. \li1 \v 33 Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni. \li1 \v 34 Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali. \b \li4 \v 35 “Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu. \b \p “N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘\nd Mukama\nd* Katonda ali omwo.’ ”