\id 1SA - Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 \ide UTF-8 \h 1 Samwiri \toc1 Ekitabo Ekiyitibwa Samwiri eky’Olubereberye \toc2 1 Samwiri \toc3 1Sa \mt2 Ekitabo Ekiyitibwa \mt1 Samwiri \mt2 eky’Olubereberye \c 1 \s1 Okuzaalibwa kwa Samwiri \p \v 1 Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’ayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu. \v 2 Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba. \p \v 3 Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri \nd Mukama\nd* ow’Eggye e Siiro\f + \fr 1:3 \fr*\fq Siiro \fq*\ft Essanduuko ya \+nd Mukama\+nd* ne Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu (\+xt 3:3; Yos 18:1\+xt*) byali olugendo lwa kilomita amakumi asatu mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi. Era kyali kigwanidde Abayisirayiri bonna okulagangayo okusinzizaayo emirundi esatu buli mwaka (\+xt Ma 16:16-17; Kuv 23:14-19\+xt*)\ft*\f*. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba \nd Mukama\nd* Katonda. \v 4 Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama. \v 5 Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga \nd Mukama\nd* Katonda yali tamuwadde mwana. \v 6 Era kubanga \nd Mukama\nd* Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. \v 7 Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya \nd Mukama\nd*, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. \v 8 Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?” \p \v 9 Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu\f + \fr 1:9 \fr*\fq Yeekaalu \fq*\ft eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu\ft*\f*, Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga \nd Mukama\nd* Katonda. \v 10 Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba \nd Mukama\nd* Katonda. \v 11 Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri \nd Mukama\nd* Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.” \p \v 12 Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri \nd Mukama\nd* Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke. \v 13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde. \v 14 Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.” \p \v 15 Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira \nd Mukama\nd* Katonda mu mmeeme yange. \v 16 Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira \nd Mukama\nd* ennaku n’obuyinike bwange.” \p \v 17 Awo Eri n’amuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo ky’omusabye.” \v 18 N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. \v 19 Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza \nd Mukama\nd*, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, \nd Mukama\nd* Katonda n’amujjukira. \v 20 Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba \nd Mukama\nd* Katonda.” \s1 Kaana Awonga Samwiri \p \v 21 Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri \nd Mukama\nd* Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe. \v 22 Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere\f + \fr 1:22 \fr*\ft Abaana baavanga ku mabeere nga wayiseewo emyaka esatu oba oluusi n’okusingawo\ft*\f*, ndimutwala ne mulagayo eri \nd Mukama\nd* Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.” \p \v 23 Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; \nd Mukama\nd* Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere. \p \v 24 Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya \nd Mukama\nd* Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo. \v 25 Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri. \v 26 Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba \nd Mukama\nd* Katonda. \v 27 Namusaba omwana ono, era \nd Mukama\nd* Katonda ampadde kye namusaba. \v 28 Kaakano mmuwaayo eri \nd Mukama\nd*, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri \nd Mukama\nd* Katonda.” Omwana n’asinzizanga \nd Mukama\nd* Katonda eyo. \c 2 \s1 Okusaba kwa Kaana \p \v 1 Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti, \q1 “Omutima gwange gusanyukira \nd Mukama\nd*; \q2 amaanyi gange geenyumiririza mu \nd Mukama\nd* Katonda. \q1 Akamwa kange kasekerera abalabe bange, \q2 kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.” \b \q1 \v 2 Tewali mutukuvu nga \nd Mukama\nd* Katonda \q2 tewali mulala wabula ggwe; \q2 tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe. \b \q1 \v 3 Toyogera nate nga weewaanawaana \q2 wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala, \q1 kubanga \nd Mukama\nd* Katonda y’amanyi byonna, \q2 era y’apima ebikolwa. \b \q1 \v 4 Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa \q2 naye abanafu baweereddwa amaanyi. \q1 \v 5 Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere \q2 naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala. \q1 Eyali omugumba azadde abaana musanvu, \q2 n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa. \b \q1 \v 6 \nd Mukama\nd* Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; \q2 atwala emagombe ate n’azuukiza. \q1 \v 7 \nd Mukama\nd* Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; \q2 atoowaza ate n’agulumiza. \q1 \v 8 Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; \q2 asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu; \q1 n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa. \q2 Kubanga emisingi gy’ensi gya \nd Mukama\nd* Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi. \b \q1 \v 9 Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be, \q2 naye ababi balisirisibwa mu kizikiza; \q1 kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi. \q2 \v 10 Abalabe ba \nd Mukama\nd* Katonda balisaasaanyizibwa; \q1 alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu. \q2 \nd Mukama\nd* alisalira ensonda ez’ensi omusango; \q1 aliwa kabaka we amaanyi, \q2 era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta. \p \v 11 Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza \nd Mukama\nd* Katonda, ng’alabirirwa Eri. \s1 Batabani ba Eri \p \v 12 Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya \nd Mukama\nd* Katonda. \v 13 Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, \v 14 n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. \v 15 Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka\f + \fr 2:15 \fr*\ft Etteeka lyaweebwa ng’amasavu n’ennyama ensava byali byakwokeeranga ku kyoto (\+xt Lv 3:16; 4:8-10\+xt*).\ft*\f*.” \p \v 16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.” \p \v 17 Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga \nd Mukama\nd*, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya \nd Mukama\nd* Katonda. \p \v 18 Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga \nd Mukama\nd* Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. \v 19 Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. \v 20 Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “\nd Mukama\nd* Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri \nd Mukama\nd*.” N’oluvannyuma baddayo eka. \v 21 \nd Mukama\nd* n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga \nd Mukama\nd*. \p \v 22 Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. \v 23 N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. \v 24 Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba \nd Mukama\nd* si birungi n’akatono. \v 25 Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda\f + \fr 2:25 \fr*\ft oba abalamuzi\ft*\f* ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri \nd Mukama\nd*, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga \nd Mukama\nd* yali asazeewo okubazikiriza. \p \v 26 Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri \nd Mukama\nd* n’eri abantu. \s1 Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri \p \v 27 Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? \v 28 Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. \v 29 Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’ \p \v 30 “\nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano \nd Mukama\nd* agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. \v 31 Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, \v 32 olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. \v 33 Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’ \p \v 34 “ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. \v 35 Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. \v 36 Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ” \c 3 \s1 \nd Mukama\nd* Ayita Samwiri \p \v 1 Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga \nd Mukama\nd* ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya \nd Mukama\nd* kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe. \p \v 2 Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. \v 3 Ettabaaza\f + \fr 3:3 \fr*\ft Ettabaaza ya Katonda mu kifo ekitukuvu yali eteekeddwa okwaka ekiro kyonna (\+xt Kuv 27:20-21; 30:7-8\+xt*). Noolwekyo okwolesebwa okwo kwaliwo mu ssaawa ez’oku makya ennyo, ng’enjuba tennavaayo\ft*\f* ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu\f + \fr 3:3 \fr*\ft eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu\ft*\f* ya \nd Mukama\nd* ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. \v 4 Awo \nd Mukama\nd* n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!” \p N’addamu nti, “Nze nzuuno.” \v 5 N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.” \p \v 6 \nd Mukama\nd* n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.” \p \v 7 Samwiri yali tannategeera nga \nd Mukama\nd* y’amuyita, nga n’ekigambo kya \nd Mukama\nd* tekimubikkulirwanga. \p \v 8 \nd Mukama\nd* n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.” \p Awo Eri n’ategeera nti \nd Mukama\nd* y’ayita omuvubuka. \v 9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, \nd Mukama\nd*, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye. \p \v 10 \nd Mukama\nd* n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi \nd Mukama\nd* kubanga omuweereza wo awulira.” \p \v 11 Awo \nd Mukama\nd* n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. \v 12 Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. \v 13 Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. \v 14 Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ” \p \v 15 Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya \nd Mukama\nd*. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna, \v 16 naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.” \p \v 17 Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” \v 18 Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye \nd Mukama\nd*, akole nga bw’asiima.” \p \v 19 \nd Mukama\nd* n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. \v 20 Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa \nd Mukama\nd*. \v 21 \nd Mukama\nd* ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro. \c 4 \s1 Abafirisuuti Bawamba Essanduuko ya Katonda \p \v 1 Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna. \p Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki. \v 2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. \v 3 Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki \nd Mukama\nd* alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya \nd Mukama\nd* ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.” \p \v 4 Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano. \p \v 5 Essanduuko ya \nd Mukama\nd* ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. \v 6 Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?” \p Bwe baategeera nti essanduuko ya \nd Mukama\nd* ereeteddwa mu nkambi, \v 7 Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. \v 8 Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale\f + \fr 4:8 \fr*\ft Abafirisuuti bakkiririzanga mu bakatonda bangi.\ft*\f* bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. \v 9 Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.” \p \v 10 Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. \v 11 Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa. \s1 Okufa Kwa Eri \p \v 12 Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. \v 13 Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe. \p \v 14 Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?” \p Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. \v 15 Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. \v 16 Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.” \p Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” \v 17 Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.” \p \v 18 Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. \p \v 19 Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako. \v 20 Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo. \p \v 21 N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. \v 22 N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.” \c 5 \s1 Abafirisuuti n’Essanduuko ya \nd Mukama\nd* mu Asudodi ne Ekuloni \p \v 1 Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; \v 2 ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni\f + \fr 5:2 \fr*\fq Dagoni \fq*\ft ye yali lubaale omukulu ow’Abafirisuuti (laba \+xt Bal 16\+xt*. 23)\ft*\f*, okuliraana Dagoni. \v 3 Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya \nd Mukama\nd*. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. \v 4 Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya \nd Mukama\nd*, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. \v 5 Bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gw’essabo lye, ne leero. \p \v 6 Omukono gwa \nd Mukama\nd* ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. \v 7 Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” \v 8 Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri. \p \v 9 Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa \nd Mukama\nd* ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. \v 10 Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni. \p Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.” \v 11 Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa. \v 12 Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu. \c 6 \s1 Essanduuko Ezzibwayo mu Isirayiri \p \v 1 Awo essanduuko ya \nd Mukama\nd* bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi y’Abafirisuuti, \v 2 Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya \nd Mukama\nd*? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.” \p \v 3 Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa kyeyavudde ababonereza.” \p \v 4 Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olw’omusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu bitaano n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bitaano\f + \fr 6:4 \fr*\ft Ebibumbe ebyo byali bya kusanyusa balubaale\ft*\f*, ng’omuwendo gwa bakulembeze b’Abafirisuuti bwe guli. \p “Mwabonerezebwa mu ngeri y’emu ng’abakulembeze bammwe n’ensi yammwe. \v 5 Noolwekyo mukole ebibumbe eby’ebizimba n’eby’emmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe n’ensi yammwe. \v 6 Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ng’Abamisiri ne Falaawo bwe baakola? Bwe yabamala\f + \fr 6:6 \fr*\ft Katonda ye yabamala amaanyi\ft*\f* amaanyi, tebakkiriza Bayisirayiri kugenda era ne bagenda? \p \v 7 “Kale nno, muteeketeeke ekigaali ekipya, n’ente bbiri ezaakazaala, ezitateekebwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye ennyana zaazo muziziggyeeko. \v 8 Muddire essanduuko ya \nd Mukama\nd* mugiteeke ku kigaali, ate muddire n’ekisanduuko mwe munaateeka ebintu ebya zaabu olw’ekiweebwayo olw’ekibi, mukiteeke ku mabbali g’essanduuko ya \nd Mukama\nd*. Mugisindike, egende yokka. \v 9 Naye mugitunuulire; bw’eneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga \nd Mukama\nd* ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ng’omukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.” \p \v 10 Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali. \v 11 Ne bateeka essanduuko ya \nd Mukama\nd* ku kigaali n’ekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu n’ebibumbe eby’ebizimba okugiriraana. \v 12 Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi. \p \v 13 Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba. \v 14 Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi ne kiyimirira omwo okumpi n’awali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ez’ekigaali, ente ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri \nd Mukama\nd*. \v 15 Abaleevi\f + \fr 6:15 \fr*\fq Besusemesi \fq*\ft kyali kibuga ky’Abaleevi (\+xt Yos 21:16\+xt*). Abaleevi bokka be baali bakkirizibwa okutambuza Essanduuko ya \+nd Mukama\+nd* (\+xt Ma 10:8\+xt*)\ft*\f* ne batwala essanduuko ya \nd Mukama\nd*, n’ekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu b’e Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri \nd Mukama\nd*. \v 16 Abakulembeze abataano ab’Abafirisuuti olwalaba ebyo, ne baddayo mu Ekuloni ku lunaku olwo. \p \v 17 Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri \nd Mukama\nd* byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni; \v 18 era n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bwe byali, ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti ebyali eby’Abakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera n’ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya \nd Mukama\nd* mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi, ne libeera kijjukizo n’okutuusa leero. \p \v 19 Naye nsanvu ku basajja ab’e Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya \nd Mukama\nd*. Abantu ne banakuwala nnyo olw’ekibonerezo ekinene \nd Mukama\nd* kye yabawa, \v 20 era abantu b’e Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga \nd Mukama\nd*, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya \nd Mukama\nd* tugiweereze ani?” \p \v 21 Ne batuma ababaka eri abatuuze b’e Kiriyasuyalimu n’obubaka nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya \nd Mukama\nd*. Muserengete, mujje mugiddukire mugitwale ewammwe.” \c 7 \p \v 1 Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya \nd Mukama\nd*, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya \nd Mukama\nd*\f + \fr 7:1 \fr*\ft Essanduuko ya \+nd Mukama\+nd* yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (\+xt 2Sa 6:2-3\+xt*)\ft*\f*. \s1 Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa \p \v 2 Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya \nd Mukama\nd*. \v 3 Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri \nd Mukama\nd* n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri \nd Mukama\nd* gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” \v 4 Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga \nd Mukama\nd* yekka. \p \v 5 Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri \nd Mukama\nd*.” \v 6 Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga \nd Mukama\nd*, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri \nd Mukama\nd*.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa. \p \v 7 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. \v 8 Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri \nd Mukama\nd* Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” \v 9 Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri \nd Mukama\nd*, n’akaabirira \nd Mukama\nd* ku lwa Isirayiri, \nd Mukama\nd* n’amuddamu. \p \v 10 Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri \nd Mukama\nd*, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye \nd Mukama\nd* n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. \v 11 Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali. \p \v 12 Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri\f + \fr 7:12 \fr*\fq Ebenezeri \fq*\ft kitegeeza ejjinja ery’obuyambi\ft*\f*, ng’agamba nti, “\nd Mukama\nd* atuyambye okutuusa kaakano.” \v 13 Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa \nd Mukama\nd* ne gunyigiriza Abafirisuuti. \v 14 Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli\f + \fr 7:14 \fr*\ft Erinnya Abamoli likozesebwa okutegeeza Abakanani bonna\ft*\f*. \p \v 15 Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. \v 16 Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa\f + \fr 7:16 \fr*\ft Beseri, ne Girugaali ne Mizupa bye bibuga ebisatu mu ssaza lya Benyamini ebifo awaasinzizibwanga (laba \+xt Yos 4:19\+xt*)\ft*\f* mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna. \v 17 N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo \nd Mukama\nd* ekyoto. \c 8 \s1 Abayisirayiri Basaba Kabaka \p \v 1 Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. \v 2 Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. \v 3 Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya. \p \v 4 Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, \v 5 ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.” \p \v 6 Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri \nd Mukama\nd*. \v 7 Awo \nd Mukama\nd* n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. \v 8 Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. \v 9 Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.” \p \v 10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna \nd Mukama\nd* bye yamugamba. \v 11 N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. \v 12 Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. \v 13 Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. \v 14 Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. \v 15 Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. \v 16 Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. \v 17 Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. \v 18 Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye \nd Mukama\nd* talibafaako ku lunaku olwo.” \p \v 19 Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, \v 20 naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.” \p \v 21 Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu \nd Mukama\nd*. \v 22 \nd Mukama\nd* n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.” \p Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.” \c 9 \s1 Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta \p \v 1 Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini. \v 2 Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna. \p \v 3 Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.” \v 4 Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula. \p \v 5 Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.” \v 6 Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.” \v 7 Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?” \p \v 8 Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.” \v 9 (Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi). \p \v 10 Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali. \v 11 Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?” \v 12 Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu. \v 13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira\f + \fr 9:13 \fr*\ft Ebijjulo byabeerangawo oluvannyuma lw’emikolo egimu egy’okuwaayo ssaddaaka\ft*\f* mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.” \p \v 14 Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu. \v 15 Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, \nd Mukama\nd* yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti, \v 16 “Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.” \p \v 17 Awo Samwiri olwalengera Sawulo, \nd Mukama\nd* n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.” \v 18 Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?” \v 19 Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo. \v 20 Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?” \v 21 Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?” \v 22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu. \p \v 23 Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.” \p \v 24 Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. \v 25 Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu. \v 26 Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga. \v 27 Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.” \c 10 \p \v 1 Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “\nd Mukama\nd* akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. \v 2 Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’ \p \v 3 “Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. \v 4 Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize. \p \v 5 “Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. \v 6 Omwoyo wa \nd Mukama\nd* anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya. \v 7 Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe. \p \v 8 “Serengeta onsookeyo e Girugaali\f + \fr 10:8 \fr*\fq Girugaali \fq*\ft kye kifo mu Kanani eyasokerwa okuzimbibwa awasinzibwa (\+xt Yos 4:19-24\+xt*).\ft*\f*. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.” \s1 Sawulo Afuulibwa Kabaka \p \v 9 Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. \v 10 Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo. \v 11 Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” \v 12 Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?” \v 13 Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu. \p \v 14 Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.” \v 15 Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.” \v 16 Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka. \p \v 17 Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri \nd Mukama\nd* e Mizupa\f + \fr 10:17 \fr*\fq Mizupa \fq*\ft kye kifo abantu gye baasisinkananga okuteesa ku nsonga enkulu (\+xt Bal 20:1; 21:1\+xt*)\ft*\f*. \v 18 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd*, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. \v 19 Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga \nd Mukama\nd* mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.” \p \v 20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu\f + \fr 10:20 \fr*\ft Akalulu kaakubibwanga okusinziira ku wurimu ne Sumimu\ft*\f*. \v 21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. \v 22 Ne beeyongera okwebuuza ku \nd Mukama\nd* nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?” \p Awo \nd Mukama\nd* n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.” \p \v 23 Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu. \v 24 Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja \nd Mukama\nd* gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.” \p \v 25 Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga \nd Mukama\nd*. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe. \p \v 26 Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. \v 27 Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega. \c 11 \s1 Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi \p \v 1 Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni\f + \fr 11:1 \fr*\ft Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (\+xt Lub 19:38; Ma 2:19\+xt*). Baali baagezaako dda okulumba Isirayiri ku mirembe gy’abalamuzi (\+xt Bal 3:13; 11:4-33\+xt*)\ft*\f* n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” \v 2 Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” \v 3 Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.” \p \v 4 Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. \v 5 Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese. \p \v 6 Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. \v 7 N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya \nd Mukama\nd* n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. \v 8 Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu. \p \v 9 Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. \v 10 Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” \v 11 Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne. \s1 Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka \p \v 12 Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.” \p \v 13 Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero \nd Mukama\nd* alokodde Isirayiri.” \v 14 Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” \v 15 Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga \nd Mukama\nd* ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga \nd Mukama\nd*, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi. \c 12 \s1 Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula \p \v 1 Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. \v 2 Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. \v 3 Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga \nd Mukama\nd* ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.” \p \v 4 Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.” \p \v 5 Awo Samwiri n’abaddamu nti, “\nd Mukama\nd* ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.” \p \v 6 Samwiri n’agamba abantu nti, “\nd Mukama\nd* ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. \v 7 Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga \nd Mukama\nd*, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu \nd Mukama\nd* bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe. \p \v 8 “Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira \nd Mukama\nd*; \nd Mukama\nd* yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino. \p \v 9 “Naye ne beerabira \nd Mukama\nd* Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. \v 10 Abayisirayiri ne bakaabirira \nd Mukama\nd*, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku \nd Mukama\nd* ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ \v 11 \nd Mukama\nd* n’alyoka atuma Yerubbaali\f + \fr 12:11 \fr*\fq Yerubbaali \fq*\ft ye Gidyoni\ft*\f*, ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. \v 12 Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga \nd Mukama\nd* Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ \v 13 Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba \nd Mukama\nd* ataddewo kabaka okubafuga. \v 14 Bwe munaatyanga \nd Mukama\nd* ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga \nd Mukama\nd* Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. \v 15 Naye bwe mutaagonderenga \nd Mukama\nd*, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe. \p \v 16 “Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu \nd Mukama\nd* kyagenda okukola mu maaso gammwe. \v 17 Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba \nd Mukama\nd*, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga \nd Mukama\nd*.” \p \v 18 Awo Samwiri n’asaba \nd Mukama\nd*, \nd Mukama\nd* n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo \nd Mukama\nd* ne Samwiri. \v 19 Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri \nd Mukama\nd* Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.” \p \v 20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku \nd Mukama\nd*, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. \v 21 Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. \v 22 \nd Mukama\nd* tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga \nd Mukama\nd* yasiima okubafuula ababe. \v 23 Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri \nd Mukama\nd* ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. \v 24 Kyokka mutyenga \nd Mukama\nd* era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. \v 25 Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.” \c 13 \s1 Samwiri Anenya Sawulo \p \v 1 Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. \v 2 Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. \v 3 Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” \v 4 Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali. \p \v 5 Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. \v 6 Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. \v 7 Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi. \p Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. \v 8 N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. \v 9 Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. \v 10 Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza. \p \v 11 Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, \v 12 ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa \nd Mukama\nd*, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ” \p \v 13 Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya \nd Mukama\nd* Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, \nd Mukama\nd* yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. \v 14 Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. \nd Mukama\nd* anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya \nd Mukama\nd*.” \v 15 Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga. \s1 Ebbula ly’Ebyokulwanyisa mu Isirayiri \p \v 16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. \v 17 Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, \v 18 n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu. \p \v 19 Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” \v 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. \v 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda. \p \v 22 Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani\f + \fr 13:22 \fr*\ft Abayisirayiri baalwanyisanga mitego na busaale\ft*\f*. \v 23 Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi. \c 14 \s1 Yonasaani Alumba Abafirisuuti \p \v 1 Lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende ku ludda luli mu nkambi ey’Abafirisuuti.” Kyokka n’atabuulira kitaawe. \p \v 2 Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi w’omukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga; \v 3 ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu ey’obwakabona\f + \fr 14:3 \fr*\ft Ekkanzu ey’Obwakabona (Efodi) yalingamu Wurimu ne Sumimu ebyakozesebwanga okwebuuza ku Katonda\ft*\f* nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa \nd Mukama\nd* mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze. \p \v 4 Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. \v 5 Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. \v 6 Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo \nd Mukama\nd* anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza \nd Mukama\nd* kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono. \p \v 7 Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.” \v 8 Yonasaani n’alyoka ayogera nti, “Kale, tusomoke tugende eri abasajja, tubeerage. \v 9 Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali. \v 10 Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti \nd Mukama\nd* abagabudde mu mukono gwaffe.” \p \v 11 Awo bombi ne beeraga eri olusiisira lw’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne boogera nti, “Mulabe, Abaebbulaniya batandise okuva mu binnya mwe baali beekwese.” \v 12 Abasajja ab’omu nkambi ne bakoowoola Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.” \p Awo Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga \nd Mukama\nd* abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.” \p \v 13 Yonasaani n’alinnyalinnya, ng’ayavula nga n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bw’amuvaako emabega. Yonasaani n’atta Abafirisuuti, n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ng’amuvaako emabega naye n’atta abo abaali bawonyeewo. \v 14 Mu lulumba olwo olwasooka, Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye, batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi ekyenkana ekitundu kya eka. \s1 Isirayiri Atta Abafirisuuti bangi \p \v 15 Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna ery’Abafirisuuti abo abaali mu nkambi n’abaali ku ttale; era n’ab’omu bibinja ebirala n’ebibondo ebirumba n’ettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda. \p \v 16 Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna. \v 17 Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo. \p \v 18 Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. \v 19 Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.” \v 20 Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala. \v 21 Abaebbulaniya abaabeeranga n’Abafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. \v 22 Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe. \v 23 \nd Mukama\nd* n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni. \s1 Yonasaani Alya Omubisi gw’Enjuki \p \v 24 Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu. \p \v 25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gw’enjuki ku ttaka. \v 26 Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola. \v 27 Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi. \v 28 Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.” \v 29 Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki. \v 30 Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?” \p \v 31 Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo. \v 32 Ne badda ku munyago, ne baddira endiga n’ente n’ennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama n’omusaayi gwayo. \v 33 Awo omuntu omu n’ategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku \nd Mukama\nd* kubanga balya ennyama erimu omusaayi.” \p N’ayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.” \v 34 Sawulo n’agamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku \nd Mukama\nd* nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo n’aleeta ente ye ekiro ekyo n’agisalira awo. \v 35 Sawulo n’azimbira \nd Mukama\nd* ekyoto, era ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira \nd Mukama\nd*. \p \v 36 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.” \p Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.” \v 37 Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku olwo. \p \v 38 Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero. \v 39 Nga \nd Mukama\nd* alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula. \p \v 40 Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.” \p \v 41 Sawulo n’asaba \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we. \v 42 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa. \p \v 43 Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?” \v 44 Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!” \v 45 Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga \nd Mukama\nd* bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa. \v 46 Ne Sawulo n’alekeraawo okugoberera Abafirisuuti, nabo ne beddirayo mu nsi yaabwe. \p \v 47 Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula. \v 48 N’alwana n’obuzira bungi n’awangula Abamaleki, n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga. \s1 Enju ya Sawulo \p \v 49 Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali. \v 50 Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi w’eggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto. \v 51 Kiisi kitaawe wa Sawulo ne Neeri kitaawe wa Abuneeri baali batabani ba Abiyeeri. \v 52 Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okw’amaanyi n’Abafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira n’amuyingiza mu magye. \c 15 \p \v 1 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “\nd Mukama\nd* nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri \nd Mukama\nd* Katonda. \v 2 Bw’ati bw’ayogera \nd Mukama\nd* Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri. \v 3 Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ” \p \v 4 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya abasajja, n’ababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale ab’ebigere emitwalo amakumi abiri, n’abalala omutwalo gumu okuva mu Yuda. \v 5 Sawulo n’asemberera ekibuga kya Amaleki n’abateegera mu kiwonvu. \v 6 N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki. \p \v 7 Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. \v 8 N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. \v 9 Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala. \p \v 10 Awo ekigambo kya \nd Mukama\nd* ne kijjira Samwiri nti, \v 11 “Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira \nd Mukama\nd* ekiro kyonna. \p \v 12 Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.” \p \v 13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “\nd Mukama\nd* akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya \nd Mukama\nd*.” \v 14 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” \v 15 Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri \nd Mukama\nd* Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.” \p \v 16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze \nd Mukama\nd* kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” \v 17 Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? \nd Mukama\nd* yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. \v 18 Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ \v 19 Lwaki tewagondedde ddoboozi lya \nd Mukama\nd*? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga \nd Mukama\nd*?” \p \v 20 Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya \nd Mukama\nd*, era nagenze ku mulimu \nd Mukama\nd* gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. \v 21 Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri \nd Mukama\nd* Katonda wo e Girugaali.” \p \v 22 Naye Samwiri n’amugamba nti, \q1 “\nd Mukama\nd* asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, \q2 okusinga okugondera eddoboozi lya \nd Mukama\nd*? \q1 Okugonda kusinga ssaddaaka, \q2 era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume. \q1 \v 23 Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira, \q2 era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala. \q1 Kubanga ojeemedde ekigambo kya \nd Mukama\nd*, \q2 naye akugaanye okuba kabaka.” \p \v 24 Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya \nd Mukama\nd* era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. \v 25 Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza \nd Mukama\nd*.” \p \v 26 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya \nd Mukama\nd*, ne \nd Mukama\nd* akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.” \v 27 Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye, ne kiyulika. \v 28 Samwiri n’amugamba nti, “\nd Mukama\nd* akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga. \v 29 Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.” \p \v 30 Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze \nd Mukama\nd* Katonda wo.” \v 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’asinza \nd Mukama\nd*. \p \v 32 Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.” \p Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.” \p \v 33 Naye Samwiri n’ayogera nti, \q1 “Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana, \q2 ne nnyoko talibeera na mwana.” \m Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga \nd Mukama\nd* e Girugaali. \p \v 34 Samwiri n’alyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye n’agenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo. \v 35 Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. \nd Mukama\nd* n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri. \c 16 \s1 Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi \p \v 1 Awo \nd Mukama\nd* n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.” \p \v 2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” \nd Mukama\nd* n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri \nd Mukama\nd*.’ \v 3 Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.” \p \v 4 Samwiri n’akola ekyo \nd Mukama\nd* kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” \v 5 N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri \nd Mukama\nd*. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka. \p \v 6 Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima \nd Mukama\nd* ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga \nd Mukama\nd*.” \v 7 Naye \nd Mukama\nd* n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. \nd Mukama\nd* tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye \nd Mukama\nd* atunuulira bya mu mutima.” \p \v 8 Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye \nd Mukama\nd* si gw’alonze.” \v 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo \nd Mukama\nd* si gw’alonze.” \v 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu \nd Mukama\nd* gw’alonze.” \v 11 N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.” \p \v 12 N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo \nd Mukama\nd* n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” \v 13 Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa \nd Mukama\nd* n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama. \s1 Dawudi Aweereza Sawulo \p \v 14 Awo Omwoyo wa \nd Mukama\nd* Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri \nd Mukama\nd* ne gumucoccanga. \p \v 15 Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. \v 16 Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.” \p \v 17 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” \v 18 Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate \nd Mukama\nd* Katonda ali wamu naye.” \v 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” \v 20 Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo. \p \v 21 Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. \v 22 Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.” \p \v 23 Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako. \c 17 \s1 Dawudi ne Goliyaasi \p \v 1 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka. \v 2 Sawulo n’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti. \v 3 Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olw’olusozi, n’Abayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olw’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu. \p \v 4 Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi\f + \fr 17:4 \fr*\fq Goliyaasi \fq*\ft yali muzzukulu w’Abanakimu abaali kumpi okuzikirizibwa bamalibwewo Yoswa. Kyokka abamu ku bo baasigalawo mu Gaaza, ne Asukulooni, ne Gaasi, era eyo Goliyaasi gye yava.\ft*\f*, ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo. \v 5 Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu. \v 6 Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo. \v 7 N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu. \p \v 8 Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. \v 9 Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.” \v 10 Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.” \v 11 Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo. \p \v 12 Dawudi yali mutabani wa Yese Omwefulasi ow’e Besirekemu mu Yuda. \v 13 Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo. \p Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma. \v 14 Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo, \v 15 naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo. \p \v 16 Omufirisuuti n’amala ennaku amakumi ana ng’asoomooza Abayisirayiri enkya n’akawungeezi. \v 17 Yese n’agamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ez’eŋŋaano ensiike n’emigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe. \v 18 Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi\f + \fr 17:18 \fr*\fq Kiizi \fq*\ft akolebwa mu mata agakute, nga yeefaananyiriza amata agakutte aga bongo, naye ye kiizi ng’akaluba\ft*\f*) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya. \v 19 Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.” \p \v 20 Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo. \v 21 Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo. \v 22 Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be. \v 23 Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira. \v 24 Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okw’ekitalo. \v 25 Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.” \p \v 26 Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?” \v 27 Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.” \p \v 28 Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.” \p \v 29 Dawudi n’ayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.” \v 30 N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose. \v 31 Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya. \p \v 32 Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” \v 33 Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.” \p \v 34 Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, \v 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. \v 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” \v 37 Dawudi n’ayogera nti, “\nd Mukama\nd* eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.” \p Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era \nd Mukama\nd* abeere naawe.” \v 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. \v 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. \v 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti. \p \v 41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. \v 42 Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. \v 43 N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. \v 44 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.” \p \v 45 Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya \nd Mukama\nd* ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. \v 46 Olwa leero \nd Mukama\nd* anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. \v 47 Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga \nd Mukama\nd* talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa \nd Mukama\nd* era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.” \p \v 48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. \v 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. \v 50 Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte. \p \v 51 Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo. \p Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka. \v 52 Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni. \v 53 Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lw’Abafirisuuti. \v 54 Dawudi n’asitula omutwe gw’Omufirisuuti n’aguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye. \p \v 55 Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” \v 56 Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.” \v 57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. \v 58 Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.” \c 18 \s1 Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi \p \v 1 Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. \v 2 Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. \v 3 Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. \v 4 Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi. \p \v 5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo. \s1 Sawulo Akwatirwa Dawudi Obuggya \p \v 6 Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli. \v 7 Baazinanga ate nga bwe bayimba nti, \q1 “Sawulo asse enkumi ze \q2 Dawudi n’atta emitwalo gye.” \p \v 8 Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?” \v 9 Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya. \p \v 10 Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, \v 11 n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri. \p \v 12 Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga \nd Mukama\nd* yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. \v 13 Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. \v 14 Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga \nd Mukama\nd* yali wamu naye. \v 15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. \v 16 Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi. \p \v 17 Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za \nd Mukama\nd*.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” \v 18 Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” \v 19 Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa. \p \v 20 Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira. \v 21 Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.” \p \v 22 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ” \v 23 Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” \v 24 Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi. \v 25 Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti. \p \v 26 Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo, \v 27 Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase. \p \v 28 Naye Sawulo bwe yategeera nga \nd Mukama\nd* ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi, \v 29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo. \p \v 30 Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo. \c 19 \s1 Sawulo Agezaako Okutta Dawudi \p \v 1 Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi, \v 2 bw’atyo n’amulabula ng’agamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bw’anaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo. \v 3 Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.” \p \v 4 Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso. \v 5 Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; \nd Mukama\nd* n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?” \p \v 6 Sawulo n’awuliriza Yonasaani, era n’amulayirira ng’agamba nti, “\nd Mukama\nd* nga bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.” \p \v 7 Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye. \v 8 Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka. \p \v 9 Awo omwoyo omubi okuva eri \nd Mukama\nd* ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli. \v 10 Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona. \p \v 11 Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” \v 12 Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. \v 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo. \p \v 14 Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” \v 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.” \v 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi. \p \v 17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ” \p \v 18 Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo. \v 19 Sawulo n’ategeezebwa nti, “Dawudi ali Nayosi mu Laama;” \v 20 n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali. \v 21 Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, n’atuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo n’atuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali. \v 22 Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, n’atuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.” \v 23 Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa \nd Mukama\nd* n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi. \v 24 Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?” \c 20 \s1 Dawudi ne Yonasaani \p \v 1 Awo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama n’agenda eri Yonasaani, n’amubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?” \v 2 Yonasaani n’addamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina ky’akola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.” \p \v 3 Naye Dawudi n’amulayirira ng’ayogera nti, “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala, era alowooza mu mutima gwe nti, ‘Yonasaani tateekwa kumanya nsonga eyo, kubanga ajja kunakuwala.’ \nd Mukama\nd* nga bw’ali omulamu, era naawe ng’oli mujulirwa, ndi wakati mu kufa.” \p \v 4 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Buli ky’oyagala nkukolere, nnaakikukolera.” \p \v 5 Dawudi n’agamba Yonasaani nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese era nsubirwa okuliira awamu ne kabaka, naye nzikiriza ŋŋende ne kweke mu nnimiro okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi nga wayiseewo ennaku bbiri. \v 6 Kitaawo bw’anambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lw’ennyumba ye yonna.’ \v 7 Bw’anaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bw’anaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi. \v 8 Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga \nd Mukama\nd*. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?” \p \v 9 Yonasaani n’ayogera nti, “Tekiribaawo! Singa nnali ntegedde nga kitange amaliridde okukukola akabi, sandikubuulidde?” \p \v 10 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ng’akuzzeemu n’obusungu?” \p \v 11 Yonasaani n’amugamba nti, “Jjangu tulage mu nnimiro.” Awo bombi ne balaga mu nnimiro. \p \v 12 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “\nd Mukama\nd*, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bw’anaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa? \v 13 Naye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale \nd Mukama\nd* ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. \nd Mukama\nd* abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange. \v 14 Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya \nd Mukama\nd* ekitakoma, ennaku zonna ez’obulamu bwange, nneme okuttibwa, \v 15 tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, \nd Mukama\nd* ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.” \p \v 16 Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “\nd Mukama\nd* abonereze abalabe ba Dawudi.” \v 17 Yonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala. \p \v 18 Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere. \v 19 Okwosa enkya, obudde nga bunaatera okuziba, genda mu kifo mwe weekweka luli, ebizibu bino bwe byatandika, obeere awali ejjinja Ezeri. \v 20 Nnaalasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, ng’ateeba ssabbaawa. \v 21 N’oluvannyuma nzija kutuma omulenzi nga mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe naamugamba nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi gy’oli, buleete,’ kale onojja, kubanga \nd Mukama\nd* nga bw’ali omulamu, onoolama, era tewaabeewo kabi. \v 22 Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo \nd Mukama\nd* ng’akugambye ogende. \v 23 Era ne ku bigambo bye twayogerako, \nd Mukama\nd* abeere naffe ennaku zonna.” \p \v 24 Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka n’atuula okulya. \v 25 N’atuula mu kifo kye ekya bulijjo okumpi n’ekisenge okwolekera Yonasaani. Abuneeri n’atuula okuliraana Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere. \v 26 Sawulo n’atabaako kyayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti, “Waliwo ekituuse ku Dawudi ne kimufuula atali mulongoofu; ddala si mulongoofu.” \v 27 Olunaku olwaddirira, omwezi nga gumaze okuboneka, ekifo kya Dawudi ne kisigala nga kyereere. Awo Sawulo n’abuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekyalobedde mutabani wa Yese okujja ku kijjulo, olunaku lwa jjo newaakubadde leero?” \p \v 28 Yonasaani n’addamu nti, “Dawudi yanneegayiridde mukkirize agende e Besirekemu, \v 29 ng’ayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka ey’okuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.” \p \v 30 Awo Sawulo n’annyiigira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti, “Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi? \v 31 Mutabani wa Yese ng’akyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.” \p \v 32 Awo Yonasaani n’addamu kitaawe Sawulo nti, “Kiki ekimugwanyiza okuttibwa? Akoze ki?” \v 33 Naye Sawulo n’amukasuukirira effumu amutte. Awo Yonasaani we yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi. \p \v 34 Yonasaani n’asituka ku mmeeza mu busungu obungi, era n’atalya mmere ku lunaku olwokubiri olw’omwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe eky’obuswavu eri Dawudi. \p \v 35 Ku makya Yonasaani n’alaga mu nnimiro okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. Yalina akalenzi ke yagenda nako, \v 36 n’akagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani n’alasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo. \v 37 Awo akalenzi bwe kaatuuka mu kifo akasaale we kaali kagudde, Yonasaani n’akakoowoola ng’agamba nti, “Akasaale tekali mu maasoko?” \v 38 N’akangula ku ddoboozi, n’amugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako. \v 39 Naye akalenzi ne katabaako kye kategeera. Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya enteekateeka eyo. \v 40 Awo Yonasaani n’akwasa akalenzi ebyokulwanyisa bye, n’akagamba nti, “Genda, obizzeeyo mu kibuga.” \v 41 Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba. \p \v 42 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya \nd Mukama\nd* nga twogera nti, ‘\nd Mukama\nd* ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga. \c 21 \s1 Dawudi ng’ali e Nobu \p \v 1 Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?” \v 2 Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana. \v 3 Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.” \p \v 4 Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.” \v 5 Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?” \v 6 Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga \nd Mukama\nd*, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo. \p \v 7 Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga \nd Mukama\nd* okutukuzibwa. \v 8 Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.” \v 9 Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.” \p Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.” \s1 Dawudi Addukira e Gaasi \p \v 10 Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi. \v 11 Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti, \q1 “ ‘Sawulo asse enkumi ze \q2 ne Dawudi emitwalo gye?’ ” \p \v 12 Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi. \v 13 Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye. \p \v 14 Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde? \v 15 Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?” \c 22 \s1 Dawudi ng’ali Adulamu n’e Mizupe \p \v 1 Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. \v 2 N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye. \p \v 3 Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu\f + \fr 22:3 \fr*\ft Omu ku bajjajja ba Dawudi yali Mumowaabu (\+xt Lus 1:22; 4:17-22\+xt*).\ft*\f* nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” \v 4 N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo. \p \v 5 Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi. \s1 Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu \p \v 6 Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. \v 7 Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? \v 8 Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.” \p \v 9 Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. \v 10 Akimereki yamubuuliza eri \nd Mukama\nd*, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.” \p \v 11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. \v 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.” \p N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.” \p \v 13 Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?” \p \v 14 Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? \v 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.” \p \v 16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.” \p \v 17 Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba \nd Mukama\nd*, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.” \p Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba \nd Mukama\nd*. \p \v 18 Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. \v 19 N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona. \p \v 20 Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. \v 21 Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba \nd Mukama\nd*. \v 22 Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. \v 23 Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.” \c 23 \s1 Dawudi Awonya Keyira \p \v 1 Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,” \v 2 ne yeebuuza ku \nd Mukama\nd* nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” \nd Mukama\nd* n’amuddamu nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye Keyira.” \v 3 Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?” \p \v 4 Dawudi n’addayo nate okwebuuza ku \nd Mukama\nd*. \nd Mukama\nd* n’amuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.” \v 5 Awo Dawudi n’abasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana n’Abafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi n’awonya abatuuze b’e Keyira. \v 6 Mu biro ebyo Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yaddukira eri Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. \s1 Sawulo Ayigga Dawudi \p \v 7 Sawulo n’ategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, n’ayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bw’ayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki ow’emitayimbwa.” \v 8 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, n’aserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be. \p \v 9 Dawudi n’ategeera nga Sawulo ateekateeka okumukola akabi, n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi wano.” \v 10 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ayi \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awuliridde ddala Sawulo bw’ateekateeka okujja okusaanyaawo ekibuga Keyira ku lwange. \v 11 Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi \nd Mukama\nd*, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” \p \nd Mukama\nd* n’amugamba nti, “Aliserengeta.” \p \v 12 Dawudi n’addamu n’abuuza nti, “Abasajja b’e Keyira balimpaayo nze n’abasajja bange eri Sawulo?” \p \nd Mukama\nd* n’amuddamu nti, “Balibawaayo gy’ali.” \v 13 Awo Dawudi n’abasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, n’atagendayo. \p \v 14 Dawudi n’abeera mu bifo eby’eddungu, mu nsi ey’ensozi mu ddungu ery’e Zifu. Sawulo n’anoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda n’atamuwaayo mu mukono gwe. \v 15 Dawudi ng’ali mu ddungu ery’e Zifu mu kibira ky’e Kolesi, n’ategeera nga Sawulo amunoonya okumutta. \v 16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu \nd Mukama\nd*. \v 17 N’amugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.” \v 18 Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga \nd Mukama\nd*, n’oluvannyuma Yonasaani n’addayo ewuwe, Dawudi n’asigala mu kibira. \p \v 19 Awo ab’e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibea ne bamutegeeza nti, “Okimanyi nga Dawudi yeekwese mu ffe mu kibira ky’e Kolesi, ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni? \v 20 Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna ly’onoosiima, tujja kumuwaayo gy’oli.” \p \v 21 Sawulo n’abaddamu nti, “\nd Mukama\nd* abawe omukisa, olw’okunkwatirwa ekisa. \v 22 Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe n’ebifo gy’atera okutambulira, n’abamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo. \v 23 Noolwekyo munoonye mu bifo mwe yeekweka munkomezeewo amawulire amakakafu. Bw’anaabeera mu kitundu ekyo eky’ensi nnaagenda nammwe munoonye mu bika byonna ebya Yuda.” \p \v 24 Awo ne bagolokoka ne bakulemberamu Sawulo ne bagenda e Zifu. Mu biro ebyo Dawudi n’abasajja be baali mu ddungu ery’e Mawoni mu Alaba ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni. \v 25 Awo Sawulo n’abasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi n’akiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu ery’e Mawoni n’abeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira n’agenda mu ddungu ery’e Mawoni okumunoonya. \p \v 26 Sawulo n’ayambukira ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi n’abasajja be, \v 27 ne wajja omubaka eri Sawulo ng’agamba nti, “Yanguwako! Abafirisuuti balumbye ensi.” \v 28 Awo Sawulo n’alekayo okunoonya Dawudi, n’agenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi. \v 29 Awo Dawudi n’avaayo n’agenda n’abeera mu bifo ebya Engedi. \c 24 \s1 Dawudi Asaasira Sawulo n’atamutta \p \v 1 Awo Sawulo bwe yakomawo ng’ava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.” \v 2 Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga. \p \v 3 Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo. \v 4 Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku \nd Mukama\nd* lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. \p \v 5 Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. \v 6 N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga \nd Mukama\nd* yamufukako amafuta.” \v 7 N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda. \p \v 8 Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka. \v 9 Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’ \v 10 Leero okirabye n’amaaso go, \nd Mukama\nd* bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga \nd Mukama\nd* yamufukako amafuta.’ \v 11 Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita. \v 12 \nd Mukama\nd* alamule wakati wange naawe. \nd Mukama\nd* akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe. \v 13 Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange. \v 14 Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi? \v 15 \nd Mukama\nd* atulamule, asalewo wakati wo nange. \nd Mukama\nd* atunuulire ensonga yange andokole mu mukono gwo.” \p \v 16 Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe. \v 17 N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi. \v 18 Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga \nd Mukama\nd* yampaddeyo mu mukono gwo. \v 19 Omuntu bw’asiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale \nd Mukama\nd* akusasule bulungi olw’ekikolwa ky’onkoze leero. \v 20 Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo. \v 21 Kale nno ndayirira eri \nd Mukama\nd*, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.” \p \v 22 Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese. \c 25 \s1 Dawudi, Nabali ne Abbigayiri \p \v 1 Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama. \p Awo Dawudi n’avaayo n’aserengeta mu ddungu Palani. \v 2 Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina eby’obugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu n’embuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya eby’endiga ze, e Kalumeeri. \v 3 Erinnya ly’omusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bw’omutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye. \p \v 4 Nabali yali ng’asala ebyoya by’endiga ze, Dawudi n’akiwulira. \v 5 Dawudi n’atuma abavubuka kkumi, n’abagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange. \v 6 Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe n’ennyumba yo, ne ku bintu byo byonna. \p \v 7 “Mpulira nti ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era n’ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula. \v 8 Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera eky’okukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna ky’olinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.” \p \v 9 Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira. \v 10 Nabali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe. \v 11 Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?” \p \v 12 Awo abasajja ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo ne bamutegeeza buli kigambo nga bwe bategeezebbwa. \v 13 Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa. \p \v 14 Omu ku baddu ba Nabali n’agamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ng’ali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye n’abavuma; \v 15 ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu n’ekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo. \v 16 Baaberanga ng’ekisenge okutwetooloola emisana n’ekiro, ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. \v 17 Kaakano kifumiitirizeeko, olabe ky’oyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe n’ennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.” \p \v 18 Awo amangwago Abbigayiri n’ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri, n’ebita bibiri ebya wayini, n’ennyama ey’endiga ttaano ennongoose obulungi, n’ebigero bitaano eby’eŋŋaano ensiike, n’ebitole kikumi eby’ezabbibu enkalu, n’ebitole ebikumi bibiri eby’ettiini, n’abiteeka ku ndogoyi. \v 19 N’agamba abaweereza be nti, “Munkulemberemu, nange nzija.” Naye n’atabuulirako bba Nabali. \p \v 20 Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, n’ayita kumpi n’olusozi nga lumukweka. N’asisinkana Dawudi n’abasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera. \v 21 Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bw’atyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi. \v 22 Kale Katonda akole bw’atyo abalabe ba Dawudi n’okukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we n’omu anaasigala nga mulamu.” \p \v 23 Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, n’ayanguwa okuva ku ndogoyi ye, n’avuunama mu maaso ga Dawudi. \v 24 N’agwa ku bigere bye n’ayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo ky’anaayogera. \v 25 Mukama wange aleme okussa omwoyo ku musajja omusirusiru oyo Nabali, kubanga n’erinnya lye litegeeza musirusiru, atambulira mu busirusiru bwe. Naye nze omuweereza wo, ssaalabye bavubuka mukama wange be watumye. \p \v 26 “Kale nno mukama wange, nga \nd Mukama\nd* bw’ali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga n’omukono gwo, era naawe bw’oli omulamu, abalabe bo, n’abo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali. \v 27 Era n’ekirabo kino omuweereza wo ky’aleetedde mukama wange kiweebwe abavubuka abatambula ne mukama wange. \v 28 Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era \nd Mukama\nd* talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za \nd Mukama\nd*. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo. \v 29 Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga \nd Mukama\nd* Katonda wo mu lulyo olw’abalamu. Naye obulamu bw’abalabe bo alibuvuumuula ng’ejjinja bwe liva mu nvuumuulo. \v 30 Awo \nd Mukama\nd* bw’alikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era n’amufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri, \v 31 mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era \nd Mukama\nd* bw’alikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.” \p \v 32 Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “\nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero. \v 33 Akuwe omukisa oyo akubedde okusalawo obulungi, era akubedde okundabula obutayiwa musaayi leero n’obuteewalanira ggwanga. \v 34 Kubanga mazima ddala nga \nd Mukama\nd* Katonda wa Isirayiri bw’ali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja n’omu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.” \p \v 35 Awo Dawudi n’akkiriza okutwala Abbigayiri bye yaleeta, n’ayogera nti, “Genda ewuwo mirembe. Mpulidde ebigambo byo, era nzikkirizza okwegayirira kwo.” \p \v 36 Awo Abbigayiri bwe yaddayo eri Nabali, n’amusanga ng’ali mu nnyumba, era ng’akoze embaga, ng’eya kabaka. Yali asanyuukiridde nnyo, era ng’atamidde, kyeyava tamunyega ku olwo, okutuusa enkeera. \v 37 Awo bwe bwakya, Nabali omwenge nga gumuweddeko, mukyala we n’amutegeeza ebigambo ebyo byonna, naye omutima gwe ne gukakanyala, ne guba ng’ejjinja. \v 38 Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, Nabali n’afa ekikutuko. \p \v 39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng’afudde, n’ayogera nti, “\nd Mukama\nd* yeebazibwe anwaniridde, Nabali olw’obubi bwe yankola. \nd Mukama\nd* ambedde, era akuumye omuweereza we obutakola kikyamu, n’ateeka ebikolwa bya Nabali ebibi ku mutwe ggwe.” \p Awo Dawudi n’atumira Abbigayiri, n’amusaba afuuke mukazi we ng’amusaba okumuwasa. \v 40 Abaweereza ba Dawudi ne bagenda e Kalumeeri ne bagamba Abbigayiri nti, “Dawudi atutumye tukutwale omufumbirwe.” \p \v 41 N’avuunama amaaso ge n’ayogera nti, “Laba omuweereza wo mweteefuteefu okunaazanga ebigere by’abaweereza ba mukama wange.” \v 42 Awo Abbigayiri n’ayanguwa okwebagala endogoyi, ng’awerekeddwako abaweereza bataano, n’agenda n’ababaka ba Dawudi, n’amufumbirwa. \v 43 Dawudi yali awasizza ne Akinoamu\f + \fr 25:43 \fr*\fq Akinoamu \fq*\ft ye yali mukyala wa Dawudi eyasooka (27:3) era ye nnyina wa mutabani we omukulu ayitibwa Amunooni\ft*\f* ow’e Yezuleeri, era bombi ne baba bakyala be. \v 44 Kyokka Sawulo yali agabidde muwala we Mikali, eyali mukyala wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow’e Galimu. \c 26 \s1 Dawudi Agaana Omulundi Ogwokubiri Okutta Sawulo \p \v 1 Awo ab’e Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olw’ebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?” \p \v 2 Awo Sawulo n’abasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu ery’e Zifu, okunoonya Dawudi. \v 3 Sawulo n’asiisira ku mabbali g’ekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi n’asigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ng’amugoberedde mu ddungu, \v 4 n’atuma abakessi okukakasiza ddala obanga Sawulo yali atuuse. \p \v 5 Dawudi n’agolokoka n’agenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N’alaba Sawulo ne Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w’eggye, we baali beebase. Sawulo yali yeebase wakati mu lusiisira, ng’eggye limwetoolodde. \p \v 6 Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya\f + \fr 26:6 \fr*\fq Zeruyiya \fq*\ft ye yali mwannyina Dawudi omukulu (\+xt 1By 2:16\+xt*). Noolwekyo Abisaayi, ne Yowaabu (eyafuuka omuduumizi w’eggye kya Dawudi) ne Asakeri baali batabani be (\+xt 2Sa 2:18\+xt*).\ft*\f* nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.” \p \v 7 Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri n’abaserikale baali beebase okumwetooloola. \p \v 8 Abisaayi n’agamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo n’effumu. Siimufumite gwakubiri.” \p \v 9 Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango? \v 10 \nd Mukama\nd* nga bw’ali omulamu, \nd Mukama\nd* yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka n’afa, oba aligenda mu lutalo n’azikiririra eyo. \v 11 Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu n’eccupa ey’amazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.” \p \v 12 Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna \nd Mukama\nd* yali abeebasiza otulo tungi nnyo. \p \v 13 N’oluvannyuma Dawudi n’asomoka n’agenda emitala, n’ayimirira walako ku ntikko ey’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene. \v 14 N’akoowoola eggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng’ayogera nti, “Tonziremu gwe Abuneeri?” Abuneeri n’addamu nti, “Ggwe ani alangiriza kabaka?” \p \v 15 Awo Dawudi n’agamba Abuneeri nti, “Oli musajja muzira, si bwe kiri? Ani akwenkana mu Isirayiri? Kiki ekyakulobedde okukuuma obulungi mukama wo kabaka? Kubanga waabaddewo omuntu eyazze okuzikiriza mukama wo kabaka. \v 16 Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga \nd Mukama\nd* bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?” \p \v 17 Sawulo n’ategeera nga ddoboozi lya Dawudi, n’abuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi n’addamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.” \v 18 Dawudi n’amubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza? \v 19 Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga \nd Mukama\nd* ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga \nd Mukama\nd*, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa \nd Mukama\nd* nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’ \v 20 Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala \nd Mukama\nd* gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.” \p \v 21 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.” \p \v 22 Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire. \v 23 \nd Mukama\nd* asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. \nd Mukama\nd* yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo \nd Mukama\nd* gwe yafukako amafuta. \v 24 Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga \nd Mukama\nd*, era andokole mu bizibu byonna.” \p \v 25 Awo Sawulo n’addamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.” \p Awo Dawudi n’agenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe. \c 27 \s1 Dawudi Asenga mu Bafirisuuti \p \v 1 Dawudi n’afumiitiriza mu mutima gwe ng’agamba nti, “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi y’Abafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.” \p \v 2 Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki ow’e Gaasi. \v 3 Dawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali. \v 4 Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi n’alekeraawo okumunoonya. \p \v 5 Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?” \p \v 6 Awo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero. \v 7 Dawudi n’abeera mu nsi ey’Abafirisuuti okumala omwaka gumu n’emyezi ena. \v 8 Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri. \v 9 Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi. \p \v 10 Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri\f + \fr 27:10 \fr*\fq Abayerameeri \fq*\ft baali bazzukulu ba Yuda nga bava mu Kezulooni (\+xt 1By 2:9, 25\+xt*, 26)\ft*\f*,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni\f + \fr 27:10 \fr*\ft Laba mu \+xt Bal 4:11\+xt*\ft*\f*.” \v 11 Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti. \v 12 Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.” \c 28 \s1 Sawulo n’Omulabi w’e Endoli \p \v 1 Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.” \v 2 Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.” \p \v 3 Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi. \p \v 4 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu, ate Sawulo ye n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna ne basiisira e Girubowa. \v 5 Awo Sawulo bwe yalaba eggye ery’Abafirisuuti, n’atya, emmeeme n’emutyemuka. \v 6 Ne yeebuuza ku \nd Mukama\nd*, naye \nd Mukama\nd* n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi. \v 7 Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.” \p Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.” \p \v 8 Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.” \p \v 9 Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?” \p \v 10 Sawulo n’amulayirira eri \nd Mukama\nd* ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga \nd Mukama\nd* bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.” \p \v 11 Awo omukazi n’amubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” N’addamu nti, “Nyimusiza Samwiri.” \p \v 12 Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!” \p \v 13 Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.” \v 14 Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka. \p \v 15 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?” \p Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.” \p \v 16 Samwiri n’amubuuza nti, “Ombuuliza ki, \nd Mukama\nd* ng’amaze okukuvaako n’okufuuka omulabe wo? \v 17 \nd Mukama\nd* atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. \nd Mukama\nd* akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi. \v 18 Kubanga tewagondera \nd Mukama\nd* newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, \nd Mukama\nd* kyavudde akukola kino leero. \v 19 \nd Mukama\nd* alikuwaayo gwe n’Abayisirayiri eri Abafirisuuti, era enkya ggwe ne batabani bo munaaba nange eno gye ndi. Era \nd Mukama\nd* anaawaayo eggye lya Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.” \p \v 20 Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo. \p \v 21 Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye. \v 22 Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.” \p \v 23 N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.” \p Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda. \p \v 24 Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse. \v 25 N’alyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. N’oluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira. \c 29 \s1 Abafirisuuti Bagaana Dawudi Okubeegattako mu Lutalo \p \v 1 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna e Afeki, n’Abayisirayiri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. \v 2 Abakulembeze b’Abafirisuuti bwe baali nga bakumba n’ebibinja byabwe eby’ebikumi n’eby’enkumi, Dawudi n’abasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi. \v 3 Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?” \p Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.” \v 4 Naye abaduumizi b’Abafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bw’amutwalira emitwe gy’abasajja baffe? \v 5 Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti, \q1 “ ‘Sawulo asse enkumi ze, \q2 ne Dawudi asse emitwalo gye?’ ” \p \v 6 Awo Akisi n’ayita Dawudi n’amugamba nti, “Amazima ddala nga \nd Mukama\nd* bw’ali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi n’okutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye. \v 7 Noolwekyo ddayo kaakano, ogende mirembe oleme okwemulugunyizisa abafuzi b’Abafirisuuti.” \p \v 8 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gy’olabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n’okutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?” \p \v 9 Akisi n’amuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga n’emu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi b’Abafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’ \v 10 Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu n’abasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.” \p \v 11 Awo Dawudi ne basajja be ne bagolokoka ku makya nnyo ne baddayo mu nsi ey’Abafirisuuti, Abafirisuuti bo ne bambuka e Yezuleeri. \c 30 \s1 Dawudi Azikiriza Abamaleki \p \v 1 Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro. \v 2 Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala. \p \v 3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa. \v 4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba. \v 5 Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte. \v 6 Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri \nd Mukama\nd* Katonda we. \p \v 7 Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera. \v 8 Dawudi ne yeebuuza ku \nd Mukama\nd* nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.” \p \v 9 Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, \v 10 kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye. \p \v 11 Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya, \v 12 ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi. \p \v 13 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano. \v 14 Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi\f + \fr 30:14 \fr*\fq Abakeresi \fq*\ft baali baganda b’Abafirisuuti. Oluvannyuma beegatta ku Dawudi ne balwanira wamu naye mu lutalo (\+xt 2Sa 15:18; 20:7; 1Bk 1:38\+xt*)\ft*\f*, n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.” \v 15 Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.” \p \v 16 N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda. \v 17 Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. \v 18 Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa. \v 19 Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu. \v 20 N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.” \p \v 21 Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa. \v 22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.” \p \v 23 Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, \nd Mukama\nd* by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye. \v 24 Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.” \v 25 Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero. \p \v 26 Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba \nd Mukama\nd*.” \p \v 27 Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri, \v 28 ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa; \v 29 n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni; \v 30 n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki; \v 31 n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga. \c 31 \s1 Okufa kwa Sawulo \p \v 1 Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balwana ne Isirayiri. Abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. \v 2 Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa. \v 3 Olutalo Sawulo ne lumuba bubi, abalasi ab’obusaale ne bamuzingiza era ne bamuleetako ekiwundu kinene. \p \v 4 Awo Sawulo n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya n’okunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye n’atya era n’agaana okukikola. \p Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta. \v 5 Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, n’asowola ekitala kye naye ne yetta. \v 6 Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu. \p \v 7 Awo Abayisirayiri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. \p \v 8 Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa. \v 9 Ne batemako omutwe gwe ne bamwambulamu ebyokulwanyisa bye, ne batuma ababaka mu nsi yonna ey’Abafirisuuti okulangirira mu ssabo lyabwe, n’eri abantu baabwe. \v 10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya Baasutoleesi, n’ekiwudduwuddu kye ne bakiwanika ku bbugwe ow’e Besusani. \p \v 11 Naye abatuuze b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo, \v 12 abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, n’egya batabani be ku bbugwe ow’e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo. \v 13 N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.